< Joshua 19 >
1 The second lot came out for Simeon, even for the tribe of the children of Simeon according to their families. Their inheritance was in the middle of the inheritance of the children of Judah.
N’akalulu akookubiri kaagwa ku Simyoni, kye kika ky’abaana ba Simyoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali n’omugabo gwabwe bwe gwali mu makkati g’omugabo gw’ekika kya Yuda.
2 They had for their inheritance Beersheba (or Sheba), Moladah,
Kyali kitwaliramu Beeruseba, oba Seba, ne Molada,
3 Hazar Shual, Balah, Ezem,
ne Kazalusuwali ne Bala, ne Ezemu,
4 Eltolad, Bethul, Hormah,
ne Erutoladi ne Besuli, ne Koluma,
5 Ziklag, Beth Marcaboth, Hazar Susah,
ne Zikulagi ne Besumalukabosi, ne Kazalususa
6 Beth Lebaoth, and Sharuhen; thirteen cities with their villages;
ne Besulebaosi ne Salukeni ebibuga kkumi na bisatu n’ebyalo byabyo.
7 Ain, Rimmon, Ether, and Ashan; four cities with their villages;
Ayini ne Limmoni ne Eseri, ne Asani ebibuga bina n’ebyalo byabyo,
8 and all the villages that were around these cities to Baalath Beer, Ramah of the South. This is the inheritance of the tribe of the children of Simeon according to their families.
n’ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, ye Laama ekiri mu bukiikaddyo. Ebyo bye bitundu abaana ba Simyoni bye baagabana ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
9 Out of the part of the children of Judah was the inheritance of the children of Simeon; for the portion of the children of Judah was too much for them. Therefore the children of Simeon had inheritance in the middle of their inheritance.
Ettaka abaana ba Simyoni lye baagabana lyali wamu n’ery’abaana ba Yuda. Kubanga omugabo gw’abaana ba Yuda gwabasukkirira obunene; abaana ba Simyoni kyebaava bagabana wakati mu bitundu by’omugabo gwabwe.
10 The third lot came up for the children of Zebulun according to their families. The border of their inheritance was to Sarid.
Akakulu akookusatu ne kagwa ku kika kya Zebbulooni, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. Era n’omugabo gwabwe ne gutuukira ddala ku Salidi.
11 Their border went up westward, even to Maralah, and reached to Dabbesheth. It reached to the brook that is before Jokneam.
Ensalo yaabwe n’eraga ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka e Malala, n’etuuka n’e Dabbesesi; ng’egendera ku kagga akali ku buvanjuba bwa Yokuneamu.
12 It turned from Sarid eastward toward the sunrise to the border of Chisloth Tabor. It went out to Daberath, and went up to Japhia.
Okuva ebuvanjuba wa Salidi ne yeeyongerayo enjuba gy’eva ng’egendera ku nsalo y’e Kisulosutaboli, ne Daberasi, ne yeebalama Yafiya.
13 From there it passed along eastward to Gath Hepher, to Ethkazin; and it went out at Rimmon which stretches to Neah.
Okuva eyo n’edda ebuvanjuba e Gasukeferi, okudda e Esukazini; ne yeeyongerayo e Limmoni, n’edda ku luuyi oluliko Nea.
14 The border turned around it on the north to Hannathon; and it ended at the valley of Iphtah El;
Ne yeebungulula mu bukiikakkono n’etuuka ku Kannasoni n’ekoma mu Kiwonvu kya Ifutakeri;
15 Kattath, Nahalal, Shimron, Idalah, and Bethlehem: twelve cities with their villages.
ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu, ebibuga kkumi na bibiri, n’ebyalo byabyo.
16 This is the inheritance of the children of Zebulun according to their families, these cities with their villages.
Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Zebbulooni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.
17 The fourth lot came out for Issachar, even for the children of Issachar according to their families.
Akalulu akookuna ne kagwa ku Isakaali, lye zadde lya Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali:
18 Their border was to Jezreel, Chesulloth, Shunem,
Omugabo gwabwe gwalimu Yezuleeri ne Kesulosi ne Sunemu,
19 Hapharaim, Shion, Anaharath,
ne Kafalaimu ne Sioni ne Anakalasi,
20 Rabbith, Kishion, Ebez,
ne Labbisi ne Kisioni ne Ebezi,
21 Remeth, Engannim, En Haddah, and Beth Pazzez.
ne Lemesi ne Engannimu ne Enkadda ne Besupazzezi.
22 The border reached to Tabor, Shahazumah, and Beth Shemesh. Their border ended at the Jordan: sixteen cities with their villages.
Ensalo n’ekwata ku Taboli ne Sakazuma ne Besusemesi n’ekoma ku mugga Yoludaani. Ebibuga byonna awamu byali kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.
23 This is the inheritance of the tribe of the children of Issachar according to their families, the cities with their villages.
Ogwo gwe mugabo gw’ekika ky’abaana ba Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
24 The fifth lot came out for the tribe of the children of Asher according to their families.
N’akalulu akookutaano ne kagwa ku kika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
25 Their border was Helkath, Hali, Beten, Achshaph,
Ekitundu kyabwe kyalimu Kerukasi ne Kali ne Beteni ne Akusafu,
26 Allammelech, Amad, Mishal. It reached to Carmel westward, and to Shihorlibnath.
ne Alammereki ne Amadi ne Misali ne kituuka ku Kalumeeri ku luuyi olw’ebuvanjuba ne ku Sikolulibunasi,
27 It turned toward the sunrise to Beth Dagon, and reached to Zebulun, and to the valley of Iphtah El northward to Beth Emek and Neiel. It went out to Cabul on the left hand,
ne kidda ebuvanjuba ne kyeyongerayo ku Besudagoni ne kituuka ku Zebbulooni ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw’omu bukiikakkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri ne kikoma ku Kabuli mu bukiikakkono.
28 and Ebron, Rehob, Hammon, and Kanah, even to great Sidon.
Ne kyeyongerayo ku Ebuloni ne Lekobu ne Kammoni ne Kana okutuuka ku Sidoni Ekinene.
29 The border turned to Ramah, to the fortified city of Tyre; and the border turned to Hosah. It ended at the sea by the region of Achzib;
Ensalo n’edda ku Laama n’ekibuga ekiriko ekigo ekya Tuulo ne kyeyongerayo e Kosa n’eryoka ekoma ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu,
30 Ummah also, and Aphek, and Rehob: twenty-two cities with their villages.
ne Uma ne Afiki ne Lekobu byonna awamu ebibuga amakumi abiri n’ebyalo byabyo.
31 This is the inheritance of the tribe of the children of Asher according to their families, these cities with their villages.
Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
32 The sixth lot came out for the children of Naphtali, even for the children of Naphtali according to their families.
Akalulu akoomukaaga ne kagwa ku Nafutaali, be baana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
33 Their border was from Heleph, from the oak in Zaanannim, Adami-nekeb, and Jabneel, to Lakkum. It ended at the Jordan.
N’ensalo yaabwe n’eva ku mwera oguli mu Zaanannimu e Kerefu ne Adaminekebu ne Yabuneeri okutuuka ku Lakkumu n’eryoka ekoma ku mugga Yoludaani.
34 The border turned westward to Aznoth Tabor, and went out from there to Hukkok. It reached to Zebulun on the south, and reached to Asher on the west, and to Judah at the Jordan toward the sunrise.
N’ewetera ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku Azunnosutaboli ne yeeyongerayo ku Kukkoki, ne yeeyongerayo e Zebbulooni mu bukiikaddyo, n’ekwata ku Aseri mu bugwanjuba, ne ku Yuda ekiri ku Yoludaani ebuvanjuba.
35 The fortified cities were Ziddim, Zer, Hammath, Rakkath, Chinnereth,
N’ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, ne Zeri, ne Kammasi, ne Lakkasi, ne Kinneresi,
ne Adama ne Laama ne Kazoli,
37 Kedesh, Edrei, En Hazor,
ne Kasedi ne Ederei, ne Enkazoli,
38 Iron, Migdal El, Horem, Beth Anath, and Beth Shemesh; nineteen cities with their villages.
ne Ironi ne Migudaleri, ne Kolemu ne Besuanasi ne Besusemesi, ebibuga kkumi na mwenda n’ebyalo byabyo.
39 This is the inheritance of the tribe of the children of Naphtali according to their families, the cities with their villages.
Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
40 The seventh lot came out for the tribe of the children of Dan according to their families.
Akalulu akoomusanvu kaagwa ku kika ky’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
41 The border of their inheritance was Zorah, Eshtaol, Irshemesh,
N’ekitundu ky’omugabo gwabwe ne kitwaliramu Zola ne Esutaoli ne Irusemesi
42 Shaalabbin, Aijalon, Ithlah,
ne Saalabbini ne Ayalooni ne Isula
ne Eroni ne Timuna ne Ekuloni
44 Eltekeh, Gibbethon, Baalath,
ne Eruteke ne Gibbesoni ne Baalasi
45 Jehud, Bene Berak, Gath Rimmon,
ne Yekudi ne Beneberaki ne Gasulimmoni
46 Me Jarkon, and Rakkon, with the border opposite Joppa.
ne Meyalakoni ne Lakoni n’ensalo etunuulidde Yafo.
47 The border of the children of Dan went out beyond them; for the children of Dan went up and fought against Leshem, and took it, and struck it with the edge of the sword, and possessed it, and lived therein, and called Leshem, Dan, after the name of Dan their forefather.
Naye abaana ba Ddaani baalina obuzibu okutwala omugabo gwabwe ne bagenda ne balumba Lesemu ne bakiwangula ne batta abantu baamu n’ekitala ne babeera omwo, ne bakituuma Ddaani ly’erinnya lya jjajjaabwe.
48 This is the inheritance of the tribe of the children of Dan according to their families, these cities with their villages.
Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
49 So they finished distributing the land for inheritance by its borders. The children of Israel gave an inheritance to Joshua the son of Nun among them.
Nga bamaze okugabana ensi mu bitundu eby’enjawulo abaana ba Isirayiri ne bawa Yoswa mutabani wa Nuuni omugabo mu bo
50 According to Yahweh’s commandment, they gave him the city which he asked, even Timnathserah in the hill country of Ephraim; and he built the city, and lived there.
ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, Timunasusera mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. Omwo mwe yazimba ekibuga mwe yabeera.
51 These are the inheritances, which Eleazar the priest, Joshua the son of Nun, and the heads of the fathers’ houses of the tribes of the children of Israel, distributed for inheritance by lot in Shiloh before Yahweh, at the door of the Tent of Meeting. So they finished dividing the land.
Bino bye bitundu Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu b’ebika bya Isirayiri bye bagabana okuyita mu kalulu e Siiro nga beebuuza ku Mukama mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.