< Isaiah 60 >

1 “Arise, shine; for your light has come, and the LORD’s glory has risen on you!
“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
2 For behold, darkness will cover the earth, and thick darkness the peoples; but the LORD will arise on you, and his glory shall be seen on you.
Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna, naye ggwe Mukama alikwakirako era ekitiibwa kye kikulabikeko.
3 Nations will come to your light, and kings to the brightness of your rising.
Amawanga galijja eri omusana gwo ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.
4 “Lift up your eyes all around, and see: they all gather themselves together. They come to you. Your sons will come from far away, and your daughters will be carried in arms.
“Yimusa amaaso go olabe; abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli batabani bo abava ewala ne bawala bo abasituliddwa mu mikono.
5 Then you shall see and be radiant, and your heart will thrill and be enlarged; because the abundance of the sea will be turned to you. The wealth of the nations will come to you.
Kino oli wakukirabako ojjule essanyu, omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza. Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe, era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.
6 A multitude of camels will cover you, the dromedaries of Midian and Ephah. All from Sheba will come. They will bring gold and frankincense, and will proclaim the praises of the LORD.
Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe, eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa. Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane okulangirira ettendo lya Katonda.
7 All the flocks of Kedar will be gathered together to you. The rams of Nebaioth will serve you. They will be accepted as offerings on my altar; and I will beautify my glorious house.
N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa, endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza. Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.
8 “Who are these who fly as a cloud, and as the doves to their windows?
“Bano baani abaseyeeya nga ebire, ng’amayiba agadda mu bisu byago?
9 Surely the islands will wait for me, and the ships of Tarshish first, to bring your sons from far away, their silver and their gold with them, for the name of the LORD your God, and for the Holy One of Israel, because he has glorified you.
Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze; ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde bireete batabani bammwe okubaggya ewala awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza, olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri, kubanga akufudde ow’ekitiibwa.
10 “Foreigners will build up your walls, and their kings will serve you; for in my wrath I struck you, but in my favour I have had mercy on you.
“Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo, era bakabaka baabwe bakuweereze; Olw’obusungu bwange, nakukuba, naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
11 Your gates also shall be open continually; they shall not be shut day nor night, that men may bring to you the wealth of the nations, and their kings led captive.
Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo, emisana n’ekiro tegiggalwenga, abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.
12 For that nation and kingdom that will not serve you shall perish; yes, those nations shall be utterly wasted.
Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira. Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.
13 “The glory of Lebanon shall come to you, the cypress tree, the pine, and the box tree together, to beautify the place of my sanctuary; and I will make the place of my feet glorious.
“Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, emiti egy’ettendo egy’enfugo, omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange, ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.
14 The sons of those who afflicted you will come bowing to you; and all those who despised you will bow themselves down at the soles of your feet. They will call you the LORD’s City, the Zion of the Holy One of Israel.
Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira; era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo. Balikuyita kibuga kya Katonda, Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.
15 “Whereas you have been forsaken and hated, so that no one passed through you, I will make you an eternal excellency, a joy of many generations.
“Wadde nga wali olekeddwa awo ng’okyayibbwa, nga tewali n’omu akuyitamu, ndikufuula ow’ettendo, essanyu ery’emirembe gyonna.
16 You will also drink the milk of the nations, and will nurse from royal breasts. Then you will know that I, the LORD, am your Saviour, your Redeemer, the Mighty One of Jacob.
Olinywa amata ag’amawanga. Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga, era olimanyira ddala nti, Nze, nze Mukama, nze Mulokozi wo era Omununuzi wo, ow’Amaanyi owa Yakobo.
17 For bronze I will bring gold; for iron I will bring silver; for wood, bronze, and for stones, iron. I will also make peace your governor, and righteousness your ruler.
Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu, mu kifo ky’ekyuma ndireeta effeeza, mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky’amayinja ndeete ekyuma. Emirembe gye girifuuka omufuzi wo n’obutuukirivu ne buba omukulembeze wo.
18 Violence shall no more be heard in your land, nor desolation or destruction within your borders; but you will call your walls Salvation, and your gates Praise.
Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo, wadde okwonoona n’okuzikiriza munda mu nsalo zo. Ebisenge byo olibiyita Bulokozi, Era n’enzigi zo, Kutendereza.
19 The sun will be no more your light by day, nor will the brightness of the moon give light to you, but the LORD will be your everlasting light, and your God will be your glory.
Enjuba si yeenekumulisizanga emisana, oba omwezi okukumulisizanga ekiro. Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe, era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.
20 Your sun will not go down any more, nor will your moon withdraw itself; for the LORD will be your everlasting light, and the days of your mourning will end.
Enjuba yo terigwa nate, n’omwezi gwo tegulibula; Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.
21 Then your people will all be righteous. They will inherit the land forever, the branch of my planting, the work of my hands, that I may be glorified.
Abantu bo babeere batuukirivu, ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe. Ekisimbe kye nnesimbira; omulimu gw’emikono gyange, olw’okulaga ekitiibwa kyange.
22 The little one will become a thousand, and the small one a strong nation. I, the LORD, will do this quickly in its time.”
Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi, n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi. Nze Mukama, ndikyanguya mu biseera byakyo.”

< Isaiah 60 >