< Ezekiel 43 >
1 Afterward he brought me to the gate, [even] the gate that looketh towards the east:
Awo omusajja n’antwala ku mulyango ogwolekera Obuvanjuba,
2 And behold, the glory of the God of Israel came from the way of the east: and his voice [was] like a noise of many waters: and the earth shined with his glory.
ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri nga kiva Ebuvanjuba, n’eddoboozi lye lyali ng’okuwuuma okw’amazzi amangi, n’ensi n’emasamasa olw’ekitiibwa kye.
3 And [it was] according to the appearance of the vision which I saw, [even] according to the vision that I saw when I came to destroy the city: and the visions [were] like the vision that I saw by the river Kebar; and I fell upon my face.
Okwolesebwa kwe nalaba kwali nga kuli kwe nalaba bwe najja okuzikiriza ekibuga, era ng’okwolesebwa kwe nalaba ku lubalama lw’omugga Kebali; ne nvuunama.
4 And the glory of the LORD came into the house by the way of the gate whose prospect [is] towards the east.
Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu yeekaalu nga kiyita mu luggi olwolekera Obuvanjuba,
5 So the spirit took me up, and brought me into the inner court; and behold, the glory of the LORD filled the house.
Omwoyo n’ansitula, n’andeeta mu luggya olw’omunda, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula yeekaalu.
6 And I heard [him] speaking to me out of the house; and the man stood by me.
Awo omusajja ng’ayimiridde okunninaana, ne mpulira omuntu ayogera nange ng’asinziira munda mu yeekaalu;
7 And he said to me, Son of man, the place of my throne, and the place of the soles of my feet, where I will dwell in the midst of the children of Israel for ever, and my holy name, shall the house of Israel no more defile, [neither] they, nor their kings, by their lewd deeds, nor by the carcasses of their kings in their high places.
n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kino kye kifo eky’entebe ey’obwakabaka bwange, era ekifo eky’ebigere byange mwe nnaabeeranga wakati mu bantu ba Isirayiri emirembe gyonna. Ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo kuvvoola linnya lyange ettukuvu, bo newaakubadde bakabaka baabwe, nga basinza emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu.
8 In their setting of their threshhold by my threshholds, and their post by my posts, and the wall between me and them, they have even defiled my holy name by their abominations that they have committed: wherefore I have consumed them in my anger.
Bwe baliraanya omulyango gwabwe okumpi n’ogwange, era n’emifuubeeto gyabwe okumpi n’egyange, ekisenge ekyereere nga kye kyawula nze nabo, bavvoola erinnya lyange ettukuvu n’emizizo gyabwe. Kyennava mbazikiriza n’obusungu bwange.
9 Now let them put away their lewd deeds, and the carcasses of their kings, far from me, and I will dwell in the midst of them for ever.
Kaakano baggyewo eby’obugwagwa byabwe, n’okusinza emirambo gya bakabaka baabwe, era babiteeke wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.
10 Thou son of man, show the house to the house of Israel, that they may be ashamed of their iniquities: and let them measure the pattern.
“Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bannyonnyole endabika ya yeekaalu, bakwatibwe ensonyi olw’ebibi byabwe.
11 And if they shall be ashamed of all that they have done, show them the form of the house, and the fashion of it, and its goings out, and its comings in, and all its forms, and all its ordinances, and all its forms, and all its laws: and write [it] in their sight, that they may keep the whole form of it, and all its ordinances, and do them.
Bwe balikwatirwa ensonyi olw’ebyo byonna bye baakola olibategeeza eyeekaalu bw’efaanana, okutegekebwa kwayo, awafulumirwa n’awayingirirwa, n’ekifaananyi kyayo yonna, era n’ebiragiro byamu n’amateeka gaamu. Obiwandiikire mu maaso gaabwe babeere beesigwa okukuuma ebiragiro byamu.
12 This [is] the law of the house; Upon the top of the mountain, the whole limit of it around [shall be] most holy. Behold, this [is] the law of the house.
“Etteeka lya yeekaalu lye lino: Ekifo kyonna ekyetoolodde ku ntikko ey’olusozi kinaabeeranga kitukuvu nnyo. Era eryo lye tteeka erya yeekaalu.
13 And these [are] the measures of the altar after the cubits: The cubit [is] a cubit and a hand-breadth; even the bottom [shall be] a cubit, and the breadth a cubit, and the border of it by its edge around [shall be] a span: and this [shall be] the higher place of the altar.
“Bino bye bipimo by’ekyoto: Entobo yaakyo eriba okukka sentimita amakumi ataano mu munaana n’obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, n’omugo gwakyo ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa sentimita amakumi abiri mu bbiri. Obugulumivu bw’ekyoto buliba:
14 And from the bottom [upon] the ground [even] to the lower settle [shall be] two cubits, and the breadth one cubit; and from the lesser settle [even] to the greater settle [shall be] four cubits, and the breadth [one] cubit.
okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi, waliba obugulumivu mita emu ne desimoolo kkumi na mukaaga, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, ate okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene, obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana.
15 So the altar [shall be] four cubits; and from the altar and upward [shall be] four horns.
Entobo ey’ekyoto eriba obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, n’okuva ku ntobo ey’ekyoto okwambuka waliba amayembe ana.
16 And the altar [shall be] twelve [cubits] long, twelve broad, square in the four squares of it.
Entobo ey’ekyoto eriba ya nsonda nnya, nga zenkanankana, obuwanvu mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga, n’obugazi mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga.
17 And the settle [shall be] fourteen [cubits] long and fourteen broad in its four squares; and the border about it [shall be] half a cubit; and the bottom of it [shall be] a cubit about; and its stairs shall look towards the east.
Omugo ogwa waggulu guliba gwa nsonda nnya ezenkanankana obuwanvu mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri n’obugazi mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri, n’omugo ogugwetooloola guliba obugazi sentimita amakumi abiri mu mwenda, n’entobo yaagwo eriba sentimita ataano mu munaana okugwetooloola. Amadaala ag’ekyoto galitunuulira Ebuvanjuba.”
18 And he said to me, Son of man, thus saith the Lord GOD; These [are] the ordinances of the altar in the day when they shall make it, to offer burnt-offerings upon it, and to sprinkle blood upon it.
N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Bino bye biriba ebiragiro bye munaagobereranga nga muwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’okumansira omusaayi ku Kyoto, nga kiwedde okuzimbibwa.
19 And thou shalt give to the priests the Levites that are of the seed of Zadok, who approach to me, to minister to me, saith the Lord GOD, a young bullock for a sin-offering.
Muliwaayo ente ennume ento ng’ekiweebwayo olw’ekibi eri bakabona Abaleevi ab’ennyumba ya Zadooki, abampeereza bw’ayogera Mukama Katonda.
20 And thou shalt take of his blood, and put [it] on the four horns of it, and on the four corners of the settle, and upon the border around: thus shalt thou cleanse and purge it.
Oliddira omusaayi ogumu okuva mu nte eyo n’oguteeka ku mayembe ana ag’ekyoto, ne ku nsonda ennya ez’omugo ogwa waggulu ne ku mugo ogwa kamwa kaakyo okwetooloola, ne mutukuza ekyoto era ne mu kitangirira.
21 Thou shalt take the bullock also of the sin-offering, and he shall burn it in the appointed place of the house, without the sanctuary.
Muliddira ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, ne mugyokera mu kifo ekyalondebwa ekya yeekaalu ebweru w’Awatukuvu.
22 And on the second day thou shalt offer a kid of the goats without blemish for a sin-offering; and they shall cleanse the altar, as they cleansed [it] with the bullock.
“Ku lunaku olwokubiri muliwaayo embuzi ennume eteriiko kamogo okuba ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyoto kiritukuzibwa mu ngeri y’emu nga bwe kyatukuzibwa n’ente ennume.
23 When thou hast made an end of cleansing [it], thou shalt offer a young bullock without blemish, and a ram out of the flock without blemish.
Bwe mulimala okukitukuza, muliwaayo akalume k’ente akato, n’endiga ennume okuva mu kisibo nga teriiko kamogo.
24 And thou shalt offer them before the LORD, and the priests shall cast salt upon them, and they shall offer them [for] a burnt-offering to the LORD.
Mulizireeta mu maaso ga Mukama, bakabona ne bamansira omunnyo ku nnyama yaazo, ne baziwaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.
25 Seven days shalt thou prepare every day a goat [for] a sin-offering: they shall also prepare a young bullock, and a ram out of the flock, without blemish.
“Mulimala ennaku musanvu nga muwayo embuzi ennume emu buli lunaku ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Era muliwaayo n’ente ennume n’endiga ennume, byombi nga tebiriiko kamogo.
26 Seven days shall they purge the altar and purify it; and they shall consecrate themselves.
Balimala ennaku musanvu nga batangirira ekyoto era nga bakitukuza; bwe batyo ne bakiwaayo eri Katonda.
27 And when these days have expired, it shall be, [that] upon the eighth day, and [so] forward, the priests shall make your burnt-offerings upon the altar, and your peace-offerings: and I will accept you, saith the Lord GOD.
Oluvannyuma lw’ennaku ezo, okutandika n’olunaku olw’omunaana, bakabona baliwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe ku kyoto. Kale ndibasembeza, bw’ayogera Mukama Katonda.”