< 2 Chronicles 19 >
1 And Jehoshaphat the king of Judah returned to his house in peace to Jerusalem.
Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akomawo mirembe mu lubiri lwe mu Yerusaalemi.
2 And Jehu the son of Hanani the seer went out to meet him, and said to king Jehoshaphat, Shouldst thou help the ungodly, and love them that hate the LORD? therefore [is] wrath upon thee from before the LORD.
Yeeku, Omulabi, mutabani wa Kanani n’agenda okumusisinkana, n’agamba Yekosafaati nti, “Kituufu ggwe okuyamba ababi, ate n’okukolagana n’abo abakyawa Mukama? Olw’ekikolwa ekyo, obusungu bwa Mukama kyebuvudde bukubuubukirako.
3 Nevertheless, there are good things found in thee, in that thou hast taken away the groves out of the land, and hast prepared thy heart to seek God.
Kyokka mu ggwe mulimu ebirungi, kubanga wazikiriza Baaserosi n’obaggya mu nsi, n’omalirira mu mutima gwo okunoonya Katonda.”
4 And Jehoshaphat dwelt at Jerusalem: and he went out again through the people from Beer-sheba to mount Ephraim, and brought them back to the LORD God of their fathers.
Awo Yekosafaati n’abeeranga mu Yerusaalemi, n’addayo eri abantu okuva e Beeruseba okutuuka mu Efulayimu mu nsi ey’ensozi, bonna n’abakomyawo eri Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.
5 And he set judges in the land throughout all the fortified cities of Judah, city by city,
N’alonda abalamuzi mu nsi, ne mu buli kibuga kya Yuda ekiriko Bbugwe.
6 And said to the judges, Take heed what ye do: for ye judge not for man, but for the LORD, who [is] with you in the judgment.
N’abategeeza nti, “Mufumiitirize nnyo ku bye mukola, kubanga temulamula ku bw’abantu wabula ku bwa Mukama, abeera nammwe buli bwe musala omusango.
7 Wherefore now let the fear of the LORD be upon you; take heed and do [it]: for [there is] no iniquity with the LORD our God, nor respect of persons, nor taking of gifts.
Noolwekyo entiisa ya Mukama ebeere mu mmwe, musale omusango nga mugwekanyizza bulungi, kubanga Mukama Katonda waffe takkiriziganya na butali butuukirivu, era tewali kusosola mu bantu wadde okulya enguzi.”
8 Moreover, in Jerusalem did Jehoshaphat set of the Levites, and [of] the priests, and of the chief of the fathers of Israel, for the judgment of the LORD, and for controversies, when they returned to Jerusalem.
Ate ne mu Yerusaalemi Yekosafaati yalonda abamu ku Baleevi, ne bakabona, n’emitwe gy’ennyumba za Isirayiri okulamulanga ku bwa Mukama, n’okusalangawo ensonga enzibu.
9 And he charged them, saying, Thus shall ye do in the fear of the LORD, faithfully, and with a perfect heart.
N’abakuutira ng’agamba nti, “Mukole nga mutya Mukama, n’obwesigwa era n’omutima gumu.
10 And whatever cause shall come to you of your brethren that dwell in their cities, between blood and blood, between law and commandment, statutes and judgments, ye shall even warn them that they trespass not against the LORD, and [so] wrath come upon you, and upon your brethren: this do, and ye shall not trespass.
Bwe wanaabangawo ensonga evudde eri baganda bammwe okuva mu bibuga byabwe, ng’ekwata ku kuyiwa omusaayi, oba ku nsonga endala yonna ekwata ku kiragiro, ku mateeka oba ku biragiro, munaabalabulanga obutayonoona Mukama, obusungu bwe muleme okubatuukako mmwe ne baganda bammwe. Bwe mutyo bwe munaakolanga muleme okubaako omusango.
11 And behold, Amariah the chief priest [is] over you in all matters of the LORD; and Zebadiah the son of Ishmael, the ruler of the house of Judah, for all the king's matters: also the Levites [shall be] officers before you. Deal courageously, and the LORD will be with the good.
“Era Amaliya kabona asinga obukulu y’anaababeerangako n’obuvunaanyizibwa mu nsonga zonna eza Mukama, ate Zebadiya mutabani wa Isimayiri omukulu ow’ekika kya Yuda ye n’avunaanyizibwanga mu nsonga zonna eza kabaka, era n’Abaleevi banaaweerezanga ng’abaami mu maaso gammwe. Mube n’obuvumu, era Mukama abeere n’abo abakola obutuukirivu.”