< 1 Chronicles 14 >

1 Now Hiram king of Tyre sent messengers to David, and timber of cedars, with masons and carpenters, to build him a house.
Kabaka Kiramu ow’e Ttuulo n’atuma ababaka ne batwala emivule, ne bagenda n’abazimbi b’amayinja, n’ababazzi eri Dawudi okumuzimbira olubiri.
2 And David perceived that the LORD had confirmed him king over Israel, for his kingdom was exalted on high, because of his people Israel.
Awo Dawudi n’ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isirayiri, era nga n’obwakabaka bwe bwagulumizibwa nnyo olw’abantu ba Mukama Isirayiri.
3 And David took more wives at Jerusalem: and David begat more sons and daughters.
Dawudi ne yeeyongera okuwasa abakazi abalala mu Yerusaalemi, ne bamuzaalira abaana abalala bangi aboobulenzi n’aboobuwala.
4 Now these [are] the names of [his] children which he had in Jerusalem; Shammua, and Shobab, Nathan, and Solomon,
Amannya g’abaana abaamuzaalirwa ge gaano: Sammuwa, ne Sobabu, ne Nasani, ne Sulemaani,
5 And Ibhar, and Elishua, and Elpalet,
ne Ibukali, ne Eriswa, ne Erupereti,
6 And Nogah, and Nepheg, and Japhia,
ne Noga, ne Nefegi, ne Yafiya,
7 And Elishama, and Beeliada, and Eliphalet.
ne Erisaama, ne Beeriyadda, ne Erifereti.
8 And when the Philistines heard that David was anointed king over all Israel, all the Philistines went up to seek David. And David heard [of it], and went out against them.
Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulirako era n’agenda okubatabaala.
9 And the Philistines came and spread themselves in the valley of Rephaim.
Abafirisuuti baali bazze nga bazinze ekiwonvu Lefayimu;
10 And David inquired of God, saying, Shall I go up against the Philistines? and wilt thou deliver them into my hand? And the LORD said to him, Go up; for I will deliver them into thy hand.
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende ntabaale Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”
11 So they came up to Baal-perazim; and David smote them there. Then David said, God hath broken in upon my enemies by my hand like the breaking forth of waters: therefore they called the name of that place Baal-perazim.
Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu.
12 And when they had left their gods there, David gave a commandment, and they were burned with fire.
Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’alagira okwokya balubaale abo.
13 And the Philistines yet again spread themselves abroad in the valley.
Abafirisuuti ne badda, ne bazinda ekiwonvu.
14 Therefore David inquired again of God: and God said to him, Go not up after them; turn away from them, and come upon them over against the mulberry trees.
Awo Dawudi n’addamu ne yeebuuza ku Mukama, Mukama n’amuddamu nti, “Tobatabaalirawo, naye beetooloole, obalumbe ng’obafuluma mu maaso g’emitugunda.
15 And it shall be, when thou shalt hear a sound of going in the tops of the mulberry trees, then thou shalt go out to battle: for God hath gone forth before thee to smite the host of the Philistines.
Awo bw’onoowulira eddoboozi ery’okukumba waggulu mu mitugunda, onootabaala, kubanga ekyo kinaategeeza nti Katonda akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.”
16 David therefore did as God commanded him: and they smote the host of the Philistines from Gibeon even to Gazer.
Dawudi n’akola nga Mukama bwe yamulagira, ne bazikiriza eggye ly’Abafirisuuti, okuva e Gibyoni okutuuka e Gezeri.
17 And the fame of David went out into all lands; and the LORD brought the fear of him upon all nations.
Awo ettutumo lya Dawudi ne libuna ensi zonna, Mukama n’aleetera amawanga gonna okutya Dawudi.

< 1 Chronicles 14 >