< Ezekiel 45 >
1 When you cast lots to divide up the land as an inheritance, you must make an offering to Yahweh; this offering will be a holy part of the land, twenty-five thousand cubits in length, and ten thousand cubits in width. It will be holy, all its area round about.
“‘Bwe muligabana ensi ng’omugabo gwammwe, musalangako ekitundu ekya Mukama ku nsi eyo, ky’ekifo ekitukuvu, obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo mukaaga era ekifo kyonna kinaabanga kitukuvu.
2 From this there will be a five hundred cubits by five hundred cubits square surrounding the holy place, with a surrounding border fifty cubits in width.
Ku ttaka eryo kunaasalibwangako ekifo eky’Awatukuvu ekyenkana mita ebikumi bibiri mu nkaaga buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi, n’oluggya okukyetooloola luliba lwa mita amakumi abiri mu mukaaga.
3 From this area you will measure a portion that is twenty-five thousand cubits in length and ten thousand in width; it will be the sanctuary, the most holy place.
Mu kifo ekitukuvu olipima ekigera obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo ssatu, era omwo mwe muliba awatukuvu, Ekifo Ekitukuvu Ennyo.
4 It will be a holy place in the land for the priests who serve Yahweh, who come near Yahweh to serve him. It will be a place for their houses and a holy area for the holy place.
Ekyo kye kiriba ekifo ekitukuvu ekya bakabona abaweereza mu watukuvu, era abasemberera Mukama okumuweereza. Kye kiriba ekifo eky’ennyumba zaabwe n’ekigo ekitukuvu eky’Awatukuvu.
5 So it will be twenty-five thousand cubits in length and ten thousand in width, and it will be for towns for the Levites who serve in the house.
Ekifo ekirala obuwanvu mayilo musanvu n’obugazi mayilo ssatu kye kiriba eky’Abaleevi, abaweereza mu yeekaalu, era baliba n’ebisenge amakumi abiri eby’okubeeramu ng’ebyo bye bikola ebibuga byabwe.’
6 You will designate an area for the city, five thousand cubits in width and twenty-five thousand in length, that will be next to the area reserved for the holy place; this city will belong to all the house of Israel.
“‘Muteekeddwa okuwa ekibuga obutaka bwakyo: obugazi mayilo emu n’ekitundu, n’obuwanvu mayilo musanvu okuliraana ekifo eky’omugabo omutukuvu, era kiriba kya nnyumba yonna eya Isirayiri.’
7 The prince's land will be on both sides of the area reserved for the holy place and the city. It will be to their west and to their east. The length will correspond to the length of one of those portions, from the west to the east.
“‘Omulangira alifuna ettaka ku nsalo eri wakati w’omugabo omutukuvu n’ettaka ery’ekibuga, ku luuyi olw’Ebugwanjuba ne ku luuyi olw’ebuvanjuba, mu buwanvu nga buva Ebugwanjuba ne butuuka Ebuvanjuba okuliraana n’omugabo ogw’ekika ekimu.
8 This land will be property for the prince in Israel. My princes will no longer oppress my people; instead, they will give the land to the house of Israel, for their tribes.
Ettaka eryo lye linaabanga omugabo gwe mu Isirayiri so n’abalangira tebaajoogenga bantu bange naye balikkiriza ennyumba ya Isirayiri okufuna omugabo mu nsi ng’ebika byabwe bwe biri.’
9 The Lord Yahweh says this: It is enough for you, princes of Israel! Remove violence and strife; do justice and righteousness! Quit your evictions of my people!—this is the Lord Yahweh's declaration.
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Kye mukoze kimala, mmwe abalangira ba Isirayiri! Temukuluusanya abantu bange n’okubanyigiriza, mutuukirize eby’ensonga era ebituufu. Temubagobaganya, bw’ayogera Mukama Katonda.
10 You must have accurate scales, accurate ephahs, and accurate baths!
Munaakozesanga minzaani entuufu okupima ebikalu era n’ebitali bikalu ebiyiika.
11 The ephah and the bath will be the same amount, so that a bath will be a tenth of a homer; the ephah will be a tenth of a homer. Their measure will be corresponding to the homer.
Efa n’ensuwa binaabanga bya kigera kimu, ensuwa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, n’efa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, ng’ekomeri kye kigera ekikozesebwa.
12 The shekel will be twenty gerahs; sixty shekels will make a mina for you.
Sekeri eriba gera amakumi abiri, era sekeri amakumi abiri n’ogattako sekeri amakumi abiri mu ttaano, n’oyongerako sekeri kkumi na ttaano, n’ewera maane emu, ekyo kye kiriba ekigera kyammwe.
13 This is the contribution that you must present: A sixth of an ephah for every homer of wheat, and you will give a sixth of an ephah for every homer of barley.
“‘Kino kye kirabo eky’enjawulo kye muliwaayo: kilo biri n’obutundu musanvu n’ekitundu ez’eŋŋaano, ne kilo bbiri n’obutundu bubiri n’ekitundu eza sayiri.
14 The regulation offering of oil will be a tenth of a bath for every cor (which is ten baths), or for every homer, since a homer is also ten baths.
Omugabo ogw’amafuta, ogupimibbwa n’ensuwa, guliba lita bbiri n’obutundu bubiri.
15 One sheep or goat from the flock for every two hundred animals from the watered regions of Israel will be used for any burnt offering or peace offering to make atonement for the people—this is the Lord Yahweh's declaration.
Era muliwaayo endiga emu okuva mu kisibo ekimu, buli kisibo nga kirimu endiga ebikumi bibiri, ezirundibwa ku malundiro amagimu aga Isirayiri. Ebyo bye biriba ebiweebwayo eby’obutta n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okubatangiriranga, bw’ayogera Mukama Katonda.
16 All the people of the land will give this contribution to the prince in Israel.
Abantu bonna ab’omu nsi banaawangayo ekirabo ekyo eri omulangira mu Isirayiri.
17 It will be the prince's responsibility to furnish animals for the burnt offerings, the grain offerings, and the drink offerings at the festivals and the new moon celebrations, and on the Sabbath days—all the fixed festivals of the house of Israel. He will provide for the sin offerings, the grain offerings, the burnt offerings, and the peace offerings for atonement on behalf of the house of Israel.
Omulangira anavunaanyizibwanga okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo eby’okunywa ku mbaga ez’emyezi egyakaboneka n’eza Ssabbiiti, ne ku mbaga zonna ezaalagirwa ez’ennyumba ya Isirayiri; y’anaagabulanga ebiweebwayo olw’ebibi, n’ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, okutangiriranga ennyumba ya Isirayiri.
18 The Lord Yahweh says this: In the first month, on the first day of the month, you will take an unblemished bull from the herd and perform a sin offering for the sanctuary.
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, oliddira ente ennume nga nto eteriiko kamogo, n’ogiwaayo okutukuza awatukuvu.
19 The priest will take some of the blood of the sin offering and place it on the doorposts of the house and on the four corners of the border of the altar, and on the doorposts of the gate to the inner court.
Kabona anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mifuubeeto gy’enzigi za yeekaalu, ne ku nsonda ennya ez’ekyoto ne ku mifuubeeto egy’omulyango ogw’oluggya olw’omunda.
20 You will do this on the seventh of the month for each person's sin by accident or ignorance; in this way you will atone for the temple.
Bwe mutyo bwe munaakolanga ku lunaku olw’omusanvu olw’omwezi ku lw’omuntu yenna aliba ayonoonye mu butali bugenderevu n’oyo aliba ayonoonye olw’obutamanya; bwe mutyo bwe munaatangiriranga eyeekaalu.
21 In the first month on the fourteenth day of the month, there will be for you a festival, a seven-day festival. You will eat unleavened bread.
“‘Mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mukwatenga Okuyitako, era ku mbaga eyo munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu.
22 On that day, the prince will prepare for himself and for all the people of the land a bull as a sin offering.
Ku lunaku olwo omulangira alireeta ku lulwe ne ku lw’abantu bonna ab’omu nsi ente ennume nga nto okuba ekiweebwayo olw’ekibi.
23 For the seven days of the festival, the prince will prepare a burnt offering for Yahweh: Seven bulls and seven unblemished rams each day for seven days, and a male goat each day as a sin offering.
Buli lunaku mu nnaku omusanvu ez’embaga, anaawangayo ente ennume nga nto musanvu n’endiga ennume musanvu nga teziriiko kamogo, okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.
24 Then the prince will perform a food offering of an ephah for each bull and an ephah for each ram with a hin of oil for each ephah.
Anaagabanga n’ekiweebwayo eky’obutta, kilo mwenda ku lwa buli nte nto ennume, n’efa ku lwa buli ndiga ennume, ne lita nnya ez’amafuta buli efa.
25 In the seventh month on the fifteenth day of the month, at the festival, the prince will perform offerings on these seven days: Sin offerings, burnt offerings, food offerings, and offerings of oil.
“‘Mu mwezi ogw’omusanvu, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi, anaateekwa okugabanga ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’obutta n’amafuta okumala ennaku musanvu ez’embaga.’