< Luke 3 >
1 Now, in the fifteenth year of the supremacy of Tiberius Caesar, —Pontius Pilate being governor of Judaea, and Herod being tetrarch of Galilee, and, Philip his brother, tetrarch of Ituraea and the country of Trachonitis, and Lysanius, tetrarch of Abylene, —
Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’okufuga kwa Kayisaali Tiberiyo, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, Kerode nga y’afuga Ggaliraaya, muganda we Firipo nga y’afuga Italiya ne Tirakoniti, ne Lusaniya nga y’afuga Abireene,
2 in the High-priesthood of Annas and Caiaphas, came a word of God unto John the son, of Zechariah, in rue desert;
Ana ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ng’ali mu ddungu, n’afuna obubaka obuva eri Katonda.
3 and he came into all the country about the Jordan, proclaiming an immersion of repentance into remission of sins:
Yokaana n’atambulanga ng’agenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ng’ategeeza abantu obubaka obw’okubatizibwa obw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi,
4 as it is written in the book of the discourses of Isaiah the prophet: A voice of one crying aloud! In the desert, prepare ye the way of the Lord, straight, be making his paths;
nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti, “Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti, Mulongoose ekkubo lya Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge;
5 Every chasm, shall be filled up, and, every mountain and hill, be made low; and the, crooked, places shall become, straight, and the, rugged, places, smooth ways; —
Buli kiwonvu kirijjuzibwa, na buli lusozi n’akasozi birisendebwa, na buli ekyakyama kirigololwa, n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe.
6 And all flesh shall see the salvation of God.
Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”
7 He was saying, therefore, unto the multitudes who were going forth to be immersed by him—Broods of vipers! who suggested to you, to flee from the coming wrath?
Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?
8 Bring forth, therefore, fruits worthy of repentance, and do not begin to be saying within yourselves, As our father, we have, Abraham; for, I say unto you—God is able, out of these stones, to raise up children unto Abraham.
Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu.
9 And, already, even the axe, unto the root of the trees is being laid; every tree, therefore, not bringing forth [good] fruit, is to be hewn down, and, into fire, to be cast.
Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”
10 And the multitude began to question him saying—What, then, shall we do?
Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”
11 And, answering, he said unto them—He that hath two tunics, let him share with him that hath none, and, he that hath food, in like manner, let him be doing.
Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”
12 And there came, even tax-collectors, to be immersed; and they said unto him—Teacher! what, shall we, do?
Awo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”
13 And, he, said unto them, Nothing more than what is appointed you, exact ye.
Yokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”
14 Then were questioning him, soldiers also, saying—What shall, even we, do? And he said unto them—Molest ye, no one, neither accuse falsely; and be content with your supplies.
Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?” Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.”
15 Now, as the people were in expectation, and all were deliberating in their hearts, concerning John, —whether by any means, he, might be, the Christ,
Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo.
16 John answered, saying unto all—I, indeed, in water, am immersing you, but he that is mightier than I, cometh, the thong of whose sandals I am not worthy to unloose, —he, will immerse you in Holy Spirit and fire:
Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu;
17 whose fan is in his hand, to clear out his threshing-floor, and to gather the wheat into his granary; but, the chaff, will he burn up with fire unquenchable.
n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.”
18 So then indeed, as to many things and various, he exhorted, and continued telling his glad-message unto the people.
Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.
19 But, Herod the tetrarch, being reproved by him concerning Herodias, the wife of his brother, and concerning all the wicked things Herod had done,
Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olw’okutwala Kerodiya eyali muka muganda we, n’olw’ebibi ebirala Kerode bye yali akoze,
20 added this also unto all, —he locked up John in prison.
ate ku ebyo byonna Kerode n’ayongerako na kino: n’akwata Yokaana n’amuggalira mu kkomera.
21 Now it came to pass, when one and all the people were immersed, Jesus also, having been immersed, and being at prayer, heaven was opened;
Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa. Yesu n’asaba, eggulu ne libikkuka,
22 and the Holy Spirit descended, in bodily appearance, as a dove, upon him, —and, a voice out of heaven, came—Thou, art my Son, the Beloved, in thee, I delight.
Mwoyo Mutukuvu n’amukkako mu kifaananyi eky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
23 And, Jesus himself, was, when he began, about thirty years of age, being the son, as was supposed—of Joseph, of Heli:
Yesu yali awezezza emyaka ng’amakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu: ne Yusufu nga mwana wa Eri,
24 of Matthat, of Levi, of Melchi, —of Jannai, of Joseph:
Eri nga mwana wa Mattati, ne Mattati nga mwana wa Leevi, ne Leevi nga mwana wa Mereki, ne Mereki nga mwana wa Yanayi, ne Yanayi nga mwana wa Yusufu,
25 of Mattathias, of Amos, of Nahum, —of Esli, of Naggai:
ne Yusufu nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Amosi, ne Amosi nga mwana wa Nakkumu, ne Nakkumu nga mwana wa Esuli, ne Esuli nga mwana wa Naggayi,
26 of Maath, of Mattathias, of Semein, —of Josech, of Joda:
ne Naggayi nga mwana wa Maasi, ne Maasi nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Semeyini, ne Semeyini nga mwana wa Yoseki, ne Yoseki nga mwana wa Yoda,
27 of Joanan, of Rhesa, of Zerubbabel, —of Salathiel, of Neri:
ne Yoda nga mwana wa Yokanaani, ne Yokanaani nga mwana wa Lesa, ne Lesa nga mwana wa Zerubbaberi, ne Zerubbaberi nga mwana wa Seyalutyeri, ne Seyalutyeri nga mwana wa Neeri,
28 of Melchi, of Addi, of Cosam, —of Elmadam, of Er:
ne Neeri nga mwana wa Mereki, ne Mereki nga mwana wa Addi, ne Addi nga mwana wa Kosamu, ne Kosamu nga mwana wa Erumadamu, ne Erumadamu nga mwana wa Eri,
29 of Jesus, of Eliezer, of Jorim, —of Matthat, of Levi:
ne Eri nga mwana wa Yoswa, ne Yoswa nga mwana wa Eryeza, ne Eryeza nga mwana wa Yolimu, ne Yolimu nga mwana wa Mattati, ne Mattati nga mwana wa Leevi,
30 of Symeon, of Judas, of Joseph, —of Jonam, of Eliakim:
ne Leevi nga mwana wa Simyoni, ne Simyoni nga mwana wa Yuda, ne Yuda nga mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Yonamu, ne Yonamu nga mwana wa Eriyakimu,
31 of Melea, of Menna, of Mattatha, —of Natham, of David:
ne Eriyakimu nga mwana wa Mereya, ne Mereya nga mwana wa Menna, ne Menna nga mwana wa Mattasa, ne Mattasa nga mwana wa Nasani, ne Nasani nga mwana wa Dawudi,
32 of Jesse, of Obed, of Boaz, —of Salmon, of Nashon:
ne Dawudi nga mwana wa Yese, ne Yese nga mwana wa Obedi, ne Obedi nga mwana wa Bowaazi, ne Bowaazi nga mwana wa Salumooni, ne Salumooni nga mwana wa Nakusoni,
33 of Amminadab, of Arni, of Hezron, —of Perez, of Judah:
ne Nakusoni nga mwana wa Amminadaabu, ne Aminadaabu nga mwana wa Aluni, ne Aluni nga mwana wa Kezulooni, ne Kezulooni nga mwana wa Pereezi, ne Pereezi nga mwana wa Yuda,
34 of Jacob, of Isaac, of Abraham, —of Terah, of Nahor:
ne Yuda nga mwana wa Yakobo, ne Yakobo nga mwana wa Isaaka, ne Isaaka nga mwana wa lbulayimu, ne Ibulayimu nga mwana wa Teera, ne Teera nga mwana wa Nakoli,
35 of Serug, of Reu, of Peleg, —of Eber, of Shelah:
ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu, ne Lewu nga mwana wa Peregi, ne Peregi nga mwana wa Eberi, ne Eberi nga mwana wa Seera,
36 of Cainan, of Arphaxad, of Shem, —of Noah, of Lamech:
ne Sera nga mwana wa Kayinaani, ne Kayinaani nga mwana wa Alupakusaadi, ne Alupakusaadi nga mwana wa Seemu, ne Seemu nga mwana wa Nuuwa, ne Nuuwa nga mwana wa Lameka,
37 of Methuselah, of Enoch, of Jared, —of Mahalaleel, of Cainan:
ne Lameka nga mwana wa Mesuseera, ne Mesuseera nga mwana wa Enoki, ne Enoki nga mwana wa Yaledi, ne Yaledi nga mwana wa Makalaleri, ne Makalaleri nga mwana wa Kayinaani,
38 of Enos, of Seth, —of Adam; of God.
ne Kayinaani nga mwana wa Enosi, ne Enosi nga mwana wa Seezi, ne Seezi nga mwana wa Adamu, ne Adamu nga mwana wa Katonda.