< Joshua 5 >

1 And it came to pass, when all the kings of the Amorites, which were beyond Jordan westward, and all the kings of the Canaanites, which were by the sea, heard how that the LORD had dried up the waters of Jordan from before the children of Israel, until we were passed over, that their heart melted, neither was there spirit in them any more, because of the children of Israel.
Awo bakabaka ba ab’Amoli abaali emitala ebugwanjuba bw’omugga Yoludaani, ne bakabaka b’Abakanani abaliraanye ennyanja bwe baawulira nga Mukama yakaliza amazzi g’omugga Yoludaani Abayisirayiri basobole okusomoka, ne batekemuka omwoyo olw’Abayisirayiri.
2 At that time the LORD said unto Joshua, Make thee knives of flint, and circumcise again the children of Israel the second time.
Mu kiseera ekyo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Weekolere obwambe obw’amayinja amoogi, okomole abasajja bonna Abayisirayiri abatakomolwanga.”
3 And Joshua made him knives of flint, and circumcised the children of Israel at the hill of the foreskins.
Bw’atyo Yoswa n’akola obwambe mu mayinja amoogi n’akomolera abasajja Abayisirayiri ku lusozi oluyitibwa Gibeyakalaloosi.
4 And this is the cause why Joshua did circumcise: all the people that came forth out of Egypt, that were males, even all the men of war, died in the wilderness by the way, after they came forth out of Egypt.
Ensonga Yoswa kyeyava abakomola y’eno: abasajja Abayisirayiri abaava e Misiri nga mwe muli n’abalwanyi bonna, baafiira mu ddungu.
5 For all the people that came out were circumcised: but all the people that were born in the wilderness by the way as they came forth out of Egypt, they had not circumcised.
Abaava e Misiri bonna baali bamaze okukomolebwa, kyokka abaana baabwe abaazaalirwa mu ddungu tebaali bakomole.
6 For the children of Israel walked forty years in the wilderness, till all the nation, even the men of war which came forth out of Egypt, were consumed, because they hearkened not unto the voice of the LORD: unto whom the LORD sware that he would not let them see the land which the LORD sware unto their fathers that he would give us, a land flowing with milk and honey.
Abayisirayiri baamala emyaka amakumi ana nga batambula mu ddungu okutuusa bonna, nga mwe muli n’abalwanyi, lwe baafa ne baggwaawo, kubanga baagaana okugondera eddoboozi lya Mukama. Mukama kyeyava abalayirira nti talibaganya kutuuka mu nsi eyo gye yasuubiza bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.
7 And their children, whom he raised up in their stead, them did Joshua circumcise: for they were uncircumcised, because they had not circumcised them by the way.
Kale mu bifo byabwe Mukama yazzaawo baana baabwe era abo Yoswa be yakomola kubanga tebaakomolerwa mu kkubo.
8 And it came to pass, when they had done circumcising all the nation, that they abode in their places in the camp, till they were whole.
Bonna nga bamaze okukomolwa tebaava mu weema zaabwe mu lusiisira, okutuusa nga bamaze okuwona.
9 And the LORD said unto Joshua, This day have I rolled away the reproach of Egypt from off you. Wherefore the name of that place was called Gilgal, unto this day.
Mukama n’agamba Yoswa nti, “Okuva olwa leero mbaggyeeko ekivume ky’e Misiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Girugaali n’okutuusa kaakano.
10 And the children of Israel encamped in Gilgal; and they kept the passover on the fourteenth day of the month at even in the plains of Jericho.
Awo Abayisirayiri bwe baali bakyasiisidde e Girugaali embaga ey’Okuyitako n’etuuka era ne bagirya akawungeezi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, mu lusenyi lw’e Yeriko.
11 And they did eat of the old corn of the land on the morrow after the passover, unleavened cakes and parched corn, in the selfsame day.
Enkeera ne balya emmere ey’omu nsi y’e Kanani: emigaati egitali mizimbulukuse n’empeke ensiike.
12 And the manna ceased on the morrow, after they had eaten of the old corn of the land; neither had the children of Israel manna any more; but they did eat of the fruit of the land of Canaan that year.
Okuva ku lunaku olwo lwe baalya ku mmere y’omu Kanani tebaddamu kufuna Maanu; olwo ne batandika kulyanga mmere ya mu nsi eyo.
13 And it came to pass, when Joshua was by Jericho, that he lifted up his eyes and looked, and, behold, there stood a man over against him with his sword drawn in his hand: and Joshua went unto him, and said unto him, Art thou for us, or for our adversaries?
Awo Yoswa bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko bwe yayimusa amaaso n’alaba omusajja akutte ekitala ekisowole ng’amwolekedde. Yoswa kyeyava amusemberera n’amubuuza nti, “Oli ku ludda lwaffe oba ku lwa balabe baffe?” Ye n’amuddamu nti,
14 And he said, Nay; but [as] captain of the host of the LORD am I now come. And Joshua fell on his face to the earth, and did worship, and said unto him, What saith my lord unto his servant?
“Siriiko ludda. Nze mukulu w’eggye lya Mukama era ntuuse.” Yoswa n’agwa wansi, n’avuunama n’amusinza era n’amubuuza nti, “Mukama wange, oŋŋamba ki omuddu wo?”
15 And the captain of the LORD’S host said unto Joshua, Put off thy shoe from off thy foot; for the place whereon thou standest is holy. And Joshua did so.
Naye omukulu w’eggye lya Mukama n’amuddamu nti, “Yambulamu engatto zo kubanga ekifo kino mw’oli kitukuvu.” Ne Yoswa naye n’akola nga bwe yalagirwa.

< Joshua 5 >