< Isaiah 47 >
1 Come down, and sit in the dust, O virgin daughter of Babylon; sit on the ground without a throne, O daughter of the Chaldeans: for thou shalt no more be called tender and delicate.
“Omuwala wa Babulooni embeerera, kakkana wansi otuule mu nfuufu, tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w’Abakaludaaya. Ekibuga ekitawangulwangako. Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.
2 Take the millstones, and grind meal: remove thy veil, strip off the train, uncover the leg, pass through the rivers.
Ddira olubengo ose obutta. Ggyako akatimba ku maaso, situla ku ngoye z’oku magulu oyite mu mazzi.
3 Thy nakedness shall be uncovered, yea, thy shame shall be seen: I will take vengeance, and will accept no man.
Obwereere bwo bulibikkulwa; obusungu bwo bulyeraga. Nzija kuwoolera eggwanga; tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”
4 Our redeemer, the LORD of hosts is his name, the Holy One of Israel.
Omununuzi waffe Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye, ye Mutukuvu wa Isirayiri.
5 Sit thou silent, and get thee into darkness, O daughter of the Chaldeans: for thou shalt no more be called The lady of kingdoms.
“Tuula mu kasirise yingira mu kizikiza ggwe omuwala w’Abakaludaaya, tebakyakuyita kabaka omukazi afuga obwakabaka obungi.
6 I was wroth with my people, I profaned mine inheritance, and gave them into thine hand: thou didst shew them no mercy; upon the aged hast thou very heavily laid thy yoke.
Nnali nsunguwalidde abantu bange, ne nyonoonesa omugabo gwange. Nabawaayo mu mikono gyo, n’otobasaasira n’akatono. N’abakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.
7 And thou saidst, I shall be a lady for ever: so that thou didst not lay these things to thy heart, neither didst remember the latter end thereof.
Wayogera nti, ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’ naye n’otolowooza ku bintu bino wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.
8 Now therefore hear this, thou that art given to pleasures, that dwellest carelessly, that sayest in thine heart, I am, and there is none else beside me; I shall not sit as a widow, neither shall I know the loss of children:
“Kale nno kaakano wuliriza kino, ggwe awoomerwa amasanyu ggwe ateredde mu mirembe gyo, ng’oyogera mu mutima gwo nti, ‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze. Siribeera nnamwandu wadde okufiirwa abaana.’
9 but these two things shall come to thee in a moment in one day, the loss of children, and widowhood: in their full measure shall they come upon thee, despite of the multitude of thy sorceries, and the great abundance of thine enchantments.
Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu, eky’okufiirwa abaana n’okufuuka nnamwandu. Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu, newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira, n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.
10 For thou hast trusted in thy wickedness; thou hast said, None seeth me; thy wisdom and thy knowledge, it hath perverted thee: and thou hast said in thine heart, I am, and there is none else beside me.
Weesiga obutali butuukirivu bwo, n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’ Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya, bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’
11 Therefore shall evil come upon thee; thou shalt not know the dawning thereof: and mischief shall fall upon thee; thou shalt not be able to put it away: and desolation shall come upon thee suddenly, which thou knowest not.
Kyokka ensasagge erikujjira era tolimanya ngeri yakugyeggyako; n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi; akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.
12 Stand now with thine enchantments, and with the multitude of thy sorceries, wherein thou hast laboured from thy youth; if so be thou shalt be able to profit, if so be thou mayest prevail.
“Weeyongere nno n’obulogo bwo n’obufumu bwo obwayinga obungi, bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo. Oboolyawo olibaako kyoggyamu, oboolyawo olikolawo ekyobulabe.
13 Thou art wearied in the multitude of thy counsels: let now the astrologers, the stargazers, the monthly prognosticators, stand up, and save thee from the things that shall come upon thee.
Amagezi ago g’ofuna gakukooya bukooya. Abalagulira ku munyeenye basembera, n’abo abakebera emmunyeenye, era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.
14 Behold, they shall be as stubble; the fire shall burn them; they shall not deliver themselves from the power of the flame: it shall not be a coal to warm at, nor a fire to sit before.
Laba, bali ng’ebisusunku era omuliro gulibookya! Tebalyewonya maanyi ga muliro. Tewaliiwo manda ga kukubugumya wadde omuliro ogw’okwota!
15 Thus shall the things be unto thee wherein thou hast laboured: they that have trafficked with thee from thy youth shall wander every one to his quarter; there shall be none to save thee.
Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka; b’obonyeebonye nabo b’oteganidde okuva mu buto bwo. Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye era tewali n’omu ayinza okukulokola.”