< 1 Chronicles 2 >
1 These are the sons of Israel; Reuben, Simeon, Levi, and Judah, Issachar and Zebulun;
Bano be baali batabani ba Isirayiri: Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni,
2 Dan, Joseph and Benjamin, Naphtali, Gad and Asher.
ne Ddaani, ne Yusufu, ne Benyamini, ne Nafutaali, ne Gaadi ne Aseri.
3 The sons of Judah; Er, and Onan, and Shelah: which three were born unto him of Bath-shua the Canaanitess. And Er, Judah’s firstborn, was wicked in the sight of the LORD; and he slew him.
Batabani ba Yuda baali Eri, ne Onani ne Seera, era nnyabwe ye yali Basusuwa Omukanani. Eri, eyali mutabani wa Yuda omukulu n’akola ebibi mu maaso ga Mukama, era Mukama n’amutta.
4 And Tamar his daughter in law bare him Perez and Zerah. All the sons of Judah were five.
Tamali muka mwana wa Yuda, n’azaalira Yuda Pereezi, ne Zeera. Batabani ba Yuda bonna awamu baali bataano.
5 The sons of Perez; Hezron and Hamul.
Batabani ba Perezi baali Kezulooni ne Kamuli.
6 And the sons of Zerah; Zimri, and Ethan, and Heman, and Calcol, and Dara: five of them in all.
Batabani ba Zeera baali Zimuli, ne Esani, ne Kemani, ne Kalukoli, ne Dala, bonna awamu bataano.
7 And the sons of Carmi; Achar, the troubler of Israel, who committed a trespass in the devoted thing.
Mutabani wa Kalumi ye yali Akali, eyaleetera Isirayiri emitawaana kubanga yayonoona mu ebyo ebyawongebwa.
8 And the sons of Ethan; Azariah.
Mutabani wa Esani ye yali Azaliya.
9 The sons also of Hezron, that were born unto him; Jerahmeel, and Ram, and Chelubai.
Batabani ba Kezulooni baali Yerameeri, ne Laamu ne Kerubayi.
10 And Ram begat Amminadab; and Amminadab begat Nahshon, prince of the children of Judah;
Laamu n’azaala Amminadaabu, Amminadaabu n’aba kitaawe n’azaala Nakusoni, eyali omukulu w’ekika kya Yuda.
11 and Nahshon begat Salma, and Salma begat Boaz;
Nakusoni n’azaala Saluma, ne Saluma n’azaala Bowaazi,
12 and Boaz begat Obed, and Obed begat Jesse;
Bowaazi ye n’azaala Obedi ate Obedi n’azaala Yese.
13 and Jesse begat his firstborn Eliab, and Abinadab the second, and Shimea the third;
Yese n’azaala Eriyaabu, eyali mutabani we omukulu; Abinadaabu nga ye wookubiri, Simeeyi nga ye wookusatu,
14 Nethanel the fourth, Raddai the fifth;
Nesaneeri nga ye wookuna, Laddayi nga ye wookutaano,
15 Ozem the sixth, David the seventh:
Ozemu n’aba ow’omukaaga, Dawudi nga ye wa musanvu.
16 and their sisters were Zeruiah and Abigail. And the sons of Zeruiah; Abishai, and Joab, and Asahel, three.
Bannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri. Batabani ba Zeruyiya baali basatu nga be ba Abisaayi, Yowaabu ne Asakeri.
17 And Abigail bare Amasa: and the father of Amasa was Jether the Ishmaelite.
Abbigayiri yali nnyina wa Amasa, ne Amasa n’azaala Yeseri Omuyisimayiri.
18 And Caleb the son of Hezron begat [children] of Azubah [his] wife, and of Jerioth: and these were her sons; Jesher, and Shobab, and Ardon.
Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi. Yeseri, ne Sobabu, ne Aludoni be baali abaana ba Azuba.
19 And Azubah died, and Caleb took unto him Ephrath, which bare him Hur.
Azuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.
20 And Hur begat Uri, and Uri begat Bezalel.
Kuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri.
21 And afterward Hezron went in to the daughter of Machir the father of Gilead; whom he took [to wife] when he was threescore years old; and she bare him Segub.
Oluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, n’amuzaalira Segubu.
22 And Segub begat Jair, who had three and twenty cities in the land of Gilead.
Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.
23 And Geshur and Aram took the towns of Jair from them, with Kenath, and the villages thereof, even threescore cities. All these were the sons of Machir the father of Gilead:
Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga. Abo bonna be baali abazzukulu ba Makiri, kitaawe wa Gireyaadi.
24 And after that Hezron was dead in Caleb-ephrathah, then Abijah Hezron’s wife bare him Ashhur the father of Tekoa.
Kezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa.
25 And the sons of Jerahmeel the firstborn of Hezron were Ram the firstborn, and Bunah, and Oren, and Ozem, Ahijah.
Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba Laamu, mutabani we omukulu, ne Buna, ne Oleni, ne Ozemu ne Akiya.
26 And Jerahmeel had another wife, whose name was Atarah; she was the mother of Onam.
Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ng’erinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu.
27 And the sons of Ram the firstborn of Jerahmeel were Maaz, and Jamin, and Eker.
Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali Maazi, ne Yamuni ne Ekeri.
28 And the sons of Onam were Shammai, and Jada: and the sons of Shammai; Nadab, and Abishur.
Batabani ba Onamu be baali Sammayi ne Yada, ate batabani ba Sammayi nga be ba Nadabu ne Abisuli.
29 And the name of the wife of Abishur was Abihail; and she bare him Ahban, and Molid.
Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era n’amuzaalira Abani ne Molidi.
30 And the sons of Nadab; Seled, and Appaim: but Seled died without children.
Batabani ba Nadabu be baali Seredi ne Appayimu, naye Seredi n’afa nga tazadde mwana.
31 And the sons of Appaim; Ishi. And the sons of Ishi; Sheshan. And the sons of Sheshan; Ahlai.
Mutabani wa Appayimu yali Isi, ate nga Isi ye kitaawe wa Akulayi.
32 And the sons of Jada the brother of Shammai; Jether, and Jonathan: and Jether died without children.
Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali Yeseri ne Yonasaani, naye Yeseri n’afa nga tazadde mwana.
33 And the sons of Jonathan; Peleth, and Zaza. These were the sons of Jerahmeel.
Batabani ba Yonasaani be baali Peresi ne Zaza. Abo bonna be baali bazzukulu ba Yerameeri.
34 Now Sheshan had no sons, but daughters. And Sheshan had a servant, an Egyptian, whose name was Jarha.
Sesani ye yalina baana ba buwala bokka, ng’alina n’omuddu Omumisiri, erinnya lye Yala.
35 Sheshan gave his daughter to Jarha his servant to wife; and she bare him Attai.
Sesani n’awaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala n’azaala Attayi.
36 And Attai begat Nathan, and Nathan begat Zabad;
Attayi n’azaala Nasani, ne Nasani n’azaala Zabadi.
37 and Zabad begat Ephlal, and Ephlal begat Obed;
Zabadi n’azaala Efulali, ne Efulali n’azaala Obedi.
38 and Obed begat Jehu, and Jehu begat Azariah;
Obedi n’azaala Yeeku, ne Yeeku n’azaala Azaliya.
39 and Azariah begat Helez, and Helez begat Eleasah;
Azaliya n’azaala Kerezi, ne Kerezi n’azaala Ereyaasa.
40 and Eleasah begat Sismai, and Sismai begat Shallum;
Ereyaasa n’azaala Sisumaayi, ne Sisumaayi n’azaala Sallumu.
41 and Shallum begat Jekamiah, and Jekamiah begat Elishama.
Sallumu n’azaala Yekamiya, ne Yekamiya n’azaala Erisaama.
42 And the sons of Caleb the brother of Jerahmeel were Mesha his firstborn, which was the father of Ziph; and the sons of Mareshah the father of Hebron.
Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri, ye yali Mesa, ate Mesa n’azaala Zifu. Zifu n’azaala Malesa, Malesa n’azaala Kebbulooni.
43 And the sons of Hebron; Korah, and Tappuah, and Rekem, and Shema.
Batabani ba Kebbulooni baali Koola, ne Tappua, ne Lekemu, ne Sema.
44 And Shema begat Raham, the father of Jorkeam; and Rekem begat Shammai.
Sema n’azaala Lakamu, ne Lakamu n’azaala Yolukeyaamu. Lekemu n’azaala Sammayi.
45 And the son of Shammai was Maon; and Maon was the father of Beth-zur.
Mutabani wa Sammayi n’azaala Manoni, ne Mawoni n’azaala Besuzuli.
46 And Ephah, Caleb’s concubine, bare Haran, and Moza, and Gazez: and Haran begat Gazez.
Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira Kalani, ne Moza ne Gazezi. Ate Kalani n’azaala omulenzi gwe yatuuma Gazezi.
47 And the sons of Jahdai; Regem, and Jotham, and Geshan, and Pelet, and Ephah, and Shaaph.
Batabani ba Yadayi baali Legemu, ne Yosamu, ne Gesani, ne Pereti, ne Efa ne Saafu.
48 Maacah, Caleb’s concubine, bare Sheber and Tirhanah.
Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira Seberi ne Tirukaana.
49 She bare also Shaaph the father of Madmannah, Sheva the father of Machbena, and the father of Gibea; and the daughter of Caleb was Achsah.
Mukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna. Seva n’azaala Makubena ne Gibea. Muwala wa Kalebu ye yali Akusa.
50 These were the sons of Caleb; the son of Hur, the firstborn of Ephrathah, Shobal the father of Kiriath-jearim;
Abo be baali bazzukulu ba Kalebu. Batabani ba Kuuli baali Efulaasa omuggulanda, Sobali n’azaala Kiriyasuyalimu,
51 Salma the father of Beth-lehem, Hareph the father of Beth-gader.
Saluma n’azaala Besirekemu, ne Kalefu n’azaala Besugaderi.
52 And Shobal the father of Kiriath-jearim had sons; Haroeh, half of the Menuhoth.
Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba Kalowe, ne kimu kyakubiri eky’Abamenukosi,
53 And the families of Kiriath-jearim; the Ithrites, and the Puthites, and the Shumathites, and the Mishraites; of them came the Zorathites and the Eshtaolites.
n’ebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, n’Abapusi, n’Abasumasi, n’Abamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi n’Abayesutawooli.
54 The sons of Salma; Beth-lehem, the Netophathites, Atroth-beth-Joab, and half of the Manahathites, the Zorites.
Batabani ba Saluma baali Besirekemu, n’Abanetufa, Atulosubesuyowabu, ne kimu kyakubiri eky’Abamanakasi, Abazooli,
55 And the families of scribes which dwelt at Jabez; the Tirathites, the Shimeathites, the Sucathites. These are the Kenites that came of Hammath, the father of the house of Rechab.
n’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.