< Jeremiah 37 >

1 Zedekiah the son of Josiah reigned as king, instead of Coniah the son of Jehoiakim, whom Nebuchadnezzar king of Babylon made king in the land of Judah.
Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’afuula Zeddekiya mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda okuba kabaka wa Yuda mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu.
2 But neither he, nor his servants, nor the people of the land, listened to the words of the LORD, which he spoke by the prophet Jeremiah.
Wabula ye wadde abakungu be wadde abantu ab’omu nsi tebaafaayo ku bigambo Mukama bye yali ayogedde ng’ayita mu nnabbi Yeremiya.
3 Zedekiah the king sent Jehucal the son of Shelemiah, and Zephaniah the son of Maaseiah, the priest, to the prophet Jeremiah, saying, "Pray now to the LORD our God for us."
Wabula kabaka Zeddekiya n’atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, bamutegeeze nti, “Tusabire eri Mukama Katonda waffe.”
4 Now Jeremiah came in and went out among the people; for they had not put him into prison.
Awo Yeremiya yali alina eddembe okujja nga bw’ayagala mu bantu, kubanga yali tannaba kuteekebwa mu kkomera.
5 Pharaoh's army had come forth out of Egypt; and when the Chaldeans who were besieging Jerusalem heard news of them, they broke up from Jerusalem.
Eggye lya Falaawo lyali livudde e Misiri era Abakaludaaya abaali balumbye Yerusaalemi bwe baakiwulira, ne bava e Yerusaalemi.
6 Then came the word of the LORD to the prophet Jeremiah, saying,
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kigamba nti,
7 "Thus says the LORD, the God of Israel, 'You shall tell the king of Judah, who sent you to me to inquire of me: "Look, Pharaoh's army, which has come forth to help you, shall return to Egypt into their own land.
“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okunnebuuzako nti, ‘Eggye lya Falaawo erizze okubayambako, lijja kuddayo mu nsi yaalyo e Misiri.
8 The Chaldeans shall come again, and fight against this city; and they shall take it, and burn it with fire."
Abakaludaaya bakomewo balumbe ekibuga kino; bajja kukiwamba bakyokye.’
9 Thus says the LORD, "Do not deceive yourselves, saying, 'The Chaldeans shall surely depart from us'; for they shall not depart.
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Temwerimbarimba nga mulowooza nti, ‘Abakaludaaya ddala baakutuleka.’ Tebajja kubaleka.
10 For though you had struck the whole army of the Chaldeans who fight against you, and there remained but wounded men among them, yes would they rise up every man in his tent, and burn this city with fire."'"
Wadde nga mwandiwangudde, eggye lyonna erya Babulooni eribalumbye, abatuusiddwako ebisago bokka nga be basigadde mu weema zaabwe, bandivuddeyo ne bookya ekibuga kino.”
11 It happened that, when the army of the Chaldeans was broken up from Jerusalem for fear of Pharaoh's army,
Awo eggye ly’Abakaludaaya nga livudde mu Yerusaalemi olw’eggye lya Falaawo,
12 then Jeremiah went forth out of Jerusalem to go into the land of Benjamin, to receive his portion there, in the midst of the people.
Yeremiya n’ava mu kibuga agende mu bitundu bya Benyamini afune omugabo gwe ogw’ebintu mu bantu eyo.
13 When he was in the Benjamin Gate, a captain of the guard was there, whose name was Irijah, the son of Shelemiah, the son of Hananiah; and he laid hold on Jeremiah the prophet, saying, "You are falling away to the Chaldeans."
Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamini, Omukulu w’abaserikale eyali ayitibwa Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya n’amukwata n’agamba nti, “Ogenda kwegatta ku Bakaludaaya!”
14 Then Jeremiah said, "It is false; I am not falling away to the Chaldeans." But he did not listen to him; so Irijah laid hold on Jeremiah, and brought him to the officials.
Yeremiya n’amuddamu nti, “Ompayiriza! Sigenda kusenga Bakaludaaya.” Naye Iriya n’atamuwuliriza; n’akwata Yeremiya n’amutwala eri abakungu.
15 And the officials were angry with Jeremiah, and struck him, and put him in prison in the house of Jonathan the scribe; for they had made that the prison.
Baanyiigira Yeremiya ne bamukuba ne bamusibira mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, gye baali bafudde ekkomera.
16 When Jeremiah had come into the dungeon house, and into the cells, and Jeremiah had remained there many days;
Yeremiya yateekebwa mu kasenge akaali mu kkomera mwe yamala ebbanga eddene.
17 Then Zedekiah the king sent, and fetched him: and the king asked him secretly in his house, and said, "Is there any word from the LORD?" Jeremiah said, "There is." He said also, "You shall be delivered into the hand of the king of Babylon."
Awo kabaka Zeddekiya n’amutumya n’amuleeta mu lubiri gye yamubuuliza mu kyama nti, “Olinayo ekigambo kyonna okuva eri Mukama?” Yeremiya n’addamu nti, “Weewaawo, ojja kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni.”
18 Moreover Jeremiah said to king Zedekiah, "Wherein have I sinned against you, or against your servants, or against this people, that you have put me in prison?
Awo Yeremiya n’agamba Kabaka Zeddekiya nti, “Musango ki gwe nzizizza gy’oli oba eri abakungu bo oba abantu bano; mulyoke munteeke mu kkomera?
19 Where now are your prophets who prophesied to you, saying, The king of Babylon shall not come against you, nor against this land?
Bannabbi bo baluwa abakulagula nti, ‘Kabaka w’e Babulooni tajja kukulumba ggwe wadde ensi eno?
20 Now please hear, my lord the king: please let my petition be presented before you, that you not cause me to return to the house of Jonathan the scribe, lest I die there."
Naye kaakano mukama wange kabaka nsaba owulirize, nkwegayirira, tonzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, kuba nandifiira eyo.’”
21 Then Zedekiah the king commanded, and they committed Jeremiah into the court of the guard; and they gave him daily a loaf of bread out of the bakers' street, until all the bread in the city was spent. Thus Jeremiah remained in the court of the guard.
Kabaka Zeddekiya n’alyoka alagira Yeremiya okuteekebwa mu luggya lw’abakuumi n’aweebwanga omugaati buli lunaku okuva ew’omufumbi waagyo mu Yerusaalemi, okutuusa emigaati lwe gyaggwa mu kibuga. Awo Yeremiya n’asigala mu luggya lw’abaserikale abakuumi.

< Jeremiah 37 >