< Numbers 24 >

1 When Balaam saw that it pleased Jehovah to bless Israel, he did not go, as at the other times, to meet with omens, but he set his face toward the wilderness.
Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu.
2 Balaam lifted up his eyes, and he saw Israel dwelling according to their tribes; and the Spirit of God came on him.
Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda,
3 He took up his parable, and said, "Balaam the son of Beor says, the man whose eye was closed says;
n’alagula nti, “Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli, okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
4 he says, who hears the words of God, who sees the vision of Shaddai, falling down, and having his eyes open:
okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna, eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula:
5 How goodly are your tents, Jacob, and your tents, Israel.
“Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo, ebifo byo mw’obeera, Ayi Isirayiri!
6 As valleys they are spread forth, as gardens by the riverside, as aloes which Jehovah has planted, as cedar trees beside the waters.
“Byeyaliiridde ng’ebiwonvu, ng’ennimiro ku mabbali g’omugga, ng’emigavu egisimbiddwa Mukama ng’emivule egiri okumpi n’amazzi.
7 Water shall flow from his buckets. His seed shall be in many waters. His king shall be higher than Agag. His kingdom shall be exalted.
Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi. “Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.
8 God brings him out of Egypt. He has as it were the strength of the wild ox. He shall eat up the nations his adversaries, shall break their bones in pieces, and pierce them with his arrows.
“Katonda ye yabaggya mu Misiri balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko. Basaanyaawo amawanga g’abalabe ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu, ne babalasa n’obusaale bwabwe.
9 He couched, he lay down as a lion, as a lioness; who shall rouse him up? Everyone who blesses you is blessed. Everyone who curses you is cursed."
Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi, ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa? “Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa n’oyo akukolimira akolimirwenga!”
10 Balak's anger was kindled against Balaam, and he struck his hands together; and Balak said to Balaam, "I called you to curse my enemies, and, look, you have altogether blessed them these three times.
Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule.
11 Therefore now flee you to your place. I thought to promote you to great honor; but, look, Jehovah has kept you back from honor."
Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”
12 Balaam said to Balak, "Did I not also tell your messengers who you sent to me, saying,
Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti,
13 'If Balak would give me his house full of silver and gold, I can't go beyond the word of Jehovah, to do either good or bad in my heart. I will say what God says'?
‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’
14 Now, look, I go to my people: come, I will inform you what this people shall do to your people in the latter days."
Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”
15 He took up his parable, and said, "Balaam the son of Beor says, the man whose eye was closed says;
N’alagula bw’ati nti, “Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli, okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
16 he says, who hears the words of God, knows the knowledge of the Most High, and who sees the vision of Shaddai, falling down, and having his eyes open:
okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda, aggya okutegeera eri oyo Ali Waggulu Ennyo alaba okulabikirwa kw’Ayinzabyonna eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula.
17 I see him, but not now. I see him, but not near. A star will come out of Jacob. A scepter will rise out of Israel, and will crush the forehead of Moab, and the crown of all the sons of tumult.
“Mmulaba, naye si kaakano; mmutunuulira, naye tali kumpi. Emmunyeenye eriva ewa Yakobo; omufuzi alisituka ng’ava mu Isirayiri. Alibetenta Mowaabu, obuwanga bw’abatabani ba Seezi.
18 Edom shall be a possession. Seir, his enemies, also shall be a possession, while Israel does valiantly.
Edomu aliwangulwa; Seyiri, omulabe we, aliwangulwa, naye Isirayiri alyeyongera amaanyi.
19 Out of Jacob shall one have dominion, and shall destroy the remnant from the city."
Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo n’azikiriza ab’omu kibuga abaliba bawonyeewo.”
20 He looked at Amalek, and took up his parable, and said, "Amalek was the first of the nations, But his latter end shall come to destruction."
Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti, “Amaleki ye yakulemberanga mu mawanga, naye ku nkomerero agenda kuzikirira.”
21 He looked at the Kenite, and took up his parable, and said, "Your dwelling place is strong. Your nest is set in the rock.
N’alaba Abakeeni, n’alagula nti: “Ekifo kyo w’obeera wagumu, ekisu kyo kiri mu lwazi
22 Nevertheless Kain shall be wasted, until Asshur carries you away captive."
naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa Asuli bw’alibatwala mu busibe.”
23 He took up his parable, and said, "Alas, who shall live when God does this?
Ate n’alagula nti, “Woowe! Ani aba omulamu nga Katonda asazeewo eky’okukola?
24 But ships shall come from the coast of Kittim. They shall afflict Asshur, and shall afflict Eber. He also shall come to destruction."
Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu; birifufuggaza Asuli ne Eberi, naye nabyo birizikirira.”
25 Balaam rose up, and went and returned to his place; and Balak also went his way.
Awo Balamu n’asituka n’addayo ewaabwe, ne Balaki n’akwata agage.

< Numbers 24 >