< Matthew 19 >

1 It happened when Jesus had finished these words, he departed from Galilee, and came into the borders of Judea beyond the Jordan.
Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n’ava e Ggaliraaya n’ajja mu bitundu bya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani.
2 Large crowds followed him, and he healed them there.
Ekibiina kinene ne bamugoberera era n’awonya abalwadde baabwe.
3 And Pharisees came to him, testing him, and saying to him, "Is it lawful for a man to divorce a wife for any reason?"
Abafalisaayo ne bajja gy’ali bamugezese nga bagamba nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we olw’ensonga n’emu?”
4 He answered, and said, "Have you not read that he who created them from the beginning made them male and female,
Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga nti, ‘Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja n’omukazi,’
5 and said, 'For this reason a man will leave his father and mother, and be joined to his wife; and the two will become one flesh?'
era nti, ‘Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu,
6 So that they are no more two, but one flesh. What therefore God has joined together, let no one separate."
nga tebakyali babiri naye omuntu omu.’ Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”
7 They asked him, "Why then did Moses command us to give her a certificate of divorce, and divorce her?"
Ne bamubuuza nti, “Kale lwaki Musa yalagira nti omusajja bw’abanga agoba mukazi we amuwenga ebbaluwa ey’okumugoba?”
8 He said to them, "Moses, because of the hardness of your hearts, allowed you to divorce your wives, but from the beginning it has not been so.
Yesu n’abaddamu nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, Musa kyeyava abakkiriza okugoba bakazi bammwe, naye nga okuva olubereberye tekyali bwe kityo.
9 I tell you that whoever divorces his wife, except for sexual immorality, and marries another, commits adultery. And he who marries her when she is divorced commits adultery."
Era mbagamba nti omuntu yenna anaagobanga mukazi we okuggyako olw’obwenzi, n’amala awasa omulala, anaabanga ayenze, n’oyo anaawasanga oyo agobeddwa anaabanga ayenze.”
10 The disciples said to him, "If this is the case of a husband with a wife, it is not expedient to marry."
Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Obanga bwe biri bwe bityo, ekisingako obulungi bwe butawasiza ddala!”
11 But he said to them, "Not everyone can receive this saying, but those to whom it is given.
Yesu n’abaddamu nti, “Abantu bonna tebayinza kutegeera kigambo kino okuggyako abo Katonda b’akiwa.
12 For there are eunuchs who were born that way from their mother's womb, and there are eunuchs who were made eunuchs by men; and there are eunuchs who made themselves eunuchs for the kingdom of heaven's sake. He who is able to receive it, let him receive it."
Kubanga abamu bazaalibwa nga tebasobola kuwasa abalala balaayibwa bantu bannaabwe ate abalala bagaana okuwasa ne beewaayo okukola omulimu ogw’obwakabaka obw’omu ggulu. Buli asobola okutegeera kino akitegeere.”
13 Then little children were brought to him, that he should lay his hands on them and pray; and the disciples rebuked them.
Yesu ne bamuleetera abaana abato abasseeko emikono gye abawe n’omukisa. Naye abayigirizwa ne bajunga abaabaleeta.
14 But Jesus said, "Allow the little children, and do not forbid them to come to me; for the kingdom of heaven belongs to ones like these."
Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu.”
15 He placed his hands on them, and departed from there.
N’abassaako emikono n’abawa omukisa n’alyoka avaayo.
16 And look, someone came to him and said, "Teacher, what good thing must I do, that I may have everlasting life?" (aiōnios g166)
Awo omuntu omu n’amusemberera n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?” (aiōnios g166)
17 He said to him, "Why do you ask me about what is good? No one is good but one. But if you want to enter into life, keep the commandments."
Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza ebikwata ku birungi? Omulungi ali omu, naye bw’obanga oyagala okuyingira mu bulamu, ggondera amateeka.”
18 He said to him, "Which ones?" And Jesus said, "'Do not murder.' 'Do not commit adultery.' 'Do not steal.' 'Do not offer false testimony.'
N’amuddamu nti, “Ge galuwa?” Yesu n’amugamba nti, “‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga,
19 'Honor your father and mother.' And, 'Love your neighbor as yourself.'"
ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko era yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’”
20 The young man said to him, "All these things I have kept. What do I still lack?"
Omuvubuka oyo n’amuddamu nti, “Ebyo byonna nabikwata dda, ate kiki ekimpeebuuseeko?”
21 Jesus said to him, "If you want to be perfect, go, sell what you have and give to the poor, and you will have treasure in heaven; and come, follow me."
Yesu n’amugamba nti, “Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
22 But when the young man heard the saying, he went away sad, for he was one who had great possessions.
Naye omuvubuka bwe yawulira ebyo n’agenda ng’anakuwadde kubanga yali mugagga.
23 Jesus said to his disciples, "Truly I say to you, it is difficult for a rich person to enter the kingdom of heaven.
Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ddala ddala mbagamba nti, kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu.
24 Again I tell you, it is easier for a camel to go through a needle's eye, than for a rich person to enter into the kingdom of God."
Era mbategeeza nti kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso, okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”
25 When the disciples heard it, they were exceedingly astonished, saying, "Who then can be saved?"
Ebigambo ebyo abayigirizwa be ne bibeewuunyisa nnyo, n’okugamba ne bagamba nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”
26 Looking at them, Jesus said, "With humans this is impossible, but with God all things are possible."
Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna.”
27 Then Peter answered, "Look, we have left everything, and followed you. What then will we have?"
Awo Peetero n’abuuza Yesu nti, “Ffe twaleka byonna ne tukugoberera. Kale ffe tulifuna ki?”
28 Jesus said to them, "Truly I tell you that you who have followed me, in the regeneration when the Son of Man will sit on the throne of his glory, you also will sit on twelve thrones, judging the twelve tribes of Israel.
Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana w’Omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa mu nsi empya, nammwe abangoberera mulituula ku ntebe ekkumi n’ebbiri nga mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.
29 Everyone who has left houses, or brothers, or sisters, or father, or mother, or wife, or children, or lands, for my name's sake, will receive one hundred times, and will inherit everlasting life. (aiōnios g166)
Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olw’erinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
30 But many will be last who are first; and first who are last.
Bangi aboolubereberye, abaliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma ne baba aboolubereberye.”

< Matthew 19 >