< James 3 >

1 Let not many of you be teachers, my brothers, knowing that we will receive heavier judgment.
Abooluganda, abayigiriza tebasaanye kubeera bangi mu mmwe, kubanga mukimanyi nga ffe tulisalirwa omusango munene okusinga abalala.
2 For in many things we all stumble. If anyone does not stumble in word, this one is a perfect person, able to bridle the whole body also.
Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna.
3 Now if we put bits into the horses' mouths so that they may obey us, we guide their whole body.
Tuyinza okufuga embalaasi ne tugikozesa kye twagala olw’ebyuma bye tuba tutadde mu kamwa kaayo.
4 And look at the ships also, though they are so big and are driven by fierce winds, are yet guided by a very small rudder, wherever the pilot desires.
Era n’enkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo n’ekiraza omugoba waakyo gy’ayagala, newaakubadde ng’empewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi.
5 So the tongue is also a little member, and boasts great things. See how a small fire can spread to a large forest.
N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya.
6 And the tongue is a fire. The world of iniquity among our members is the tongue, which defiles the whole body, and sets on fire the course of nature, and is set on fire by Gihana. (Geenna g1067)
Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira. (Geenna g1067)
7 For all kinds of animals, and birds, of reptiles and sea creatures, are being tamed and have been tamed by humankind.
Abantu, ebisolo ebya buli ngeri n’ennyonyi, n’ebyekulula, era n’eby’omu nnyanja basobola okubiyigiriza ne babifuga,
8 But nobody can tame the tongue. It is a restless evil, full of deadly poison.
naye tewali muntu n’omu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo.
9 With it we bless our Lord and Father, and with it we curse people, who are made in the image of God.
Olulimi tulukozesa okutendereza Mukama era Kitaffe, ate era lwe tukolimiza abantu abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda.
10 Out of the same mouth comes forth blessing and cursing. My brothers, these things ought not to be so.
Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza n’okukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo!
11 Does a spring send out from the same opening fresh and bitter water?
Ensulo y’emu eyinza okuvaamu amazzi agawoomerera n’agakaawa?
12 Can a fig tree, my brothers, yield olives, or a vine figs? Nor is salt water able to produce sweet.
Abooluganda omutiini guyinza okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? Bw’etyo n’ensulo y’emu teyinza kuvaamu mazzi ga munnyo na gawoomerera.
13 Who is wise and understanding among you? Let him show by his good conduct that his deeds are done in gentleness of wisdom.
Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi.
14 But if you have bitter jealousy and selfish ambition in your heart, do not boast and do not lie against the truth.
Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima.
15 This wisdom is not that which comes down from above, but is earthly, sensual, and demonic.
Kubanga amagezi ng’ago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani.
16 For where jealousy and selfish ambition are, there is confusion and every evil deed.
Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.
17 But the wisdom that is from above is first pure, then peaceful, gentle, reasonable, full of mercy and good fruits, without partiality, without hypocrisy.
Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.
18 Now the fruit of righteousness is sown in peace by those who make peace.
Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.

< James 3 >