< Philemon 1 >
1 Paul, a prisoner of Christ Jesus, and Timotheus the brother, to Philemon our beloved and fellow-worker,
Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu, n’owooluganda Timoseewo, tuwandiikira ggwe Firemooni, mukozi munnaffe omwagalwa,
2 and Apphia the beloved, and Archippus our fellow-soldier, and the assembly in your house:
ne Apofiya mwannyinaffe, ne Alukipo mulwanyi munnaffe, n’Ekkanisa yonna ekuŋŋaanira mu nnyumba yo.
3 Grace to you and peace from God our Father and the Lord Jesus Christ!
Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.
4 I give thanks to my God, always making mention of you in my prayers,
Bulijjo bwe mba nga nkusabira neebaza Katonda,
5 hearing of your love and faith that you have to the Lord Jesus and toward all the holy ones,
kubanga buli kiseera mpulira nga bw’olina okwagala n’okukkiriza eri Mukama waffe Yesu n’eri abatukuvu bonna.
6 that the fellowship of your faith may become working in the full knowledge of every good thing that [is] in you toward Christ Jesus;
Nsaba nti nga bw’ogenda otegeeza abantu okukkiriza kwo, nabo kubanyweze mu bulamu bwabwe, nga bategeerera ddala ebirungi byonna ebiri mu ffe ku bwa Kristo.
7 for we have much joy and comfort in your love, because the yearnings of the holy ones have been refreshed through you, brother.
Nsanyuka nnyo era ne nziramu amaanyi olw’okwagala kwo, kubanga emitima gy’abatukuvu giziddwa buggya ku lulwo owooluganda.
8 For this reason, having in Christ much boldness to command you that which is fit—
Noolwekyo newaakubadde era, nga nnina obuvumu mu Kristo, nga nandisobodde okukulagira okukola ekyo ky’osaanira okukola,
9 because of the love I rather plead, being such a one as Paul the aged, and now also a prisoner of Jesus Christ;
naye okwagala kwange gy’oli kumpaliriza okukusaba obusabi, nze, Pawulo, kaakano akaddiye, era ali mu kkomera olwa Kristo Yesu;
10 I beg you concerning my child—whom I begot in my bonds—Onesimus,
nkwegayirira ku bikwata ku mwana wange Onesimo gwe nayamba okukkiriza Mukama waffe nga ndi mu njegere, mu busibe,
11 who once was to you unprofitable, and now is profitable to me and to you,
Onesimo oyo, gye buvuddeko ataali wa mugaso gy’oli, naye kaakano nga wa mugaso nnyo gye tuli ffembi,
12 whom I sent again to you—he who is my own heart,
gwe naaweereza gy’oli nga n’omutima gwange gujjirako,
13 whom I intended to retain to myself, that in your behalf he might minister to me in the bonds of the good news,
oyo gwe nandyagadde okwesigaliza, ampeereze nga ndi mu busibe olw’enjiri, mu kifo kyo mwe wandibadde onnyambira,
14 but apart from your mind I willed to do nothing, so that your good deed may not be as of necessity, but of willingness,
naye ne saagala kukikola nga tonzikirizza. Saagala okole eky’ekisa olwokubanga oteekwa, wabula kikole lwa kweyagalira.
15 for perhaps because of this he departed for an hour, that you may have him continuously, (aiōnios )
Kiyinzika okuba nga Onesimo yakwawukanako okumala akaseera, oluvannyuma alyoke abeere naawe ebbanga lyonna, (aiōnios )
16 no longer as a servant, but above a servant—a beloved brother, especially to me, and how much more to you, both in the flesh and in the LORD!
nga takyali muddu buddu, naye ng’asingako awo, ng’afuuse owooluganda omwagalwa ennyo, na ddala gye ndi. Kaakano ajja kubeera wa mugaso nnyo gy’oli mu mubiri ne mu Mukama waffe.
17 If, then, you have fellowship with me, receive him as me,
Obanga ddala ndi munno, mwanirize mu ngeri y’emu nga bwe wandinnyanirizza singa nze mbadde nzize.
18 and if he did hurt to you, or owes anything, charge this to me;
Obanga waliwo ekintu ekibi kye yakukola, oba ekintu ky’omubanja, kimbalirweko.
19 I, Paul, wrote with my hand, I will repay; besides, that I may not say that you also owe to me yourself.
Kino nkiwandiika mu mukono gwange nze, Pawulo, nti ndikusasula. Sijja kukugamba nti olina ebbanja lyange.
20 Yes, brother, may I have profit of you in the LORD; refresh my yearnings in the LORD;
Munnange owooluganda, nkolera ekikolwa kino ekiraga okwagala, omutima gwange guddemu amaanyi mu Kristo.
21 I wrote to you having been confident in your obedience, having known that you will also do above what I may say;
Nkuwandiikidde ebbaluwa eno nga neesigira ddala nga kye nkusaba ojja kukikola n’okusingawo!
22 and at the same time also prepare for me a lodging, for I hope that through your prayers I will be granted to you.
Nninayo n’ekirala kye nkusaba; nkusaba ontegekere we ndisula, kubanga nnina essuubi, nga Katonda okusaba kwammwe ajja kukuddamu anzikirize nkomewo gye muli.
23 Epaphras greets you (my fellow-captive in Christ Jesus),
Epafula, musibe munnange olw’okubuulira Enjiri ya Kristo Yesu, abalamusizza.
24 Marcus, Aristarchus, Demas, Lucas, my fellow-workmen!
Ne bakozi bannange bano: Makko, ne Alisutaluuko, ne Dema, ne Lukka nabo babalamusizza.
25 The grace of our Lord Jesus Christ [is] with your spirit! Amen.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n’omwoyo gwammwe.