< Exodus 20 >

1 And God speaks all these words, saying,
Awo Katonda n’ayogera ebigambo bino, n’agamba nti:
2 “I [am] your God YHWH, who has brought you out of the land of Egypt, out of a house of servants.
“Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.
3 You have no other Gods before Me.
“Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.
4 You do not make a carved image for yourself, or any likeness which [is] in the heavens above, or which [is] in the earth beneath, or which [is] in the waters under the earth.
Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi.
5 You do not bow yourself to them, nor serve them: for I, your God YHWH, [am] a zealous God, charging iniquity of fathers on sons, on a third and on a fourth [generation] of those hating Me,
Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa.
6 and doing kindness to thousands, of those loving Me and keeping My commands.
Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.
7 You do not take up the Name of your God YHWH for a vain thing, for YHWH does not acquit him who takes up His Name for a vain thing.
Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa; kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.
8 Remember the Sabbath day to sanctify it;
Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga.
9 six days you labor and have done all your work,
Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga,
10 and the seventh day [is] a Sabbath to your God YHWH; you do not do any work, you, and your son, and your daughter, your manservant, and your handmaid, and your livestock, and your sojourner who is within your gates—
naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo.
11 for [in] six days YHWH has made the heavens and the earth, the sea, and all that [is] in them, and rests in the seventh day; therefore YHWH has blessed the Sabbath day and sanctifies it.
Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.
12 Honor your father and your mother, so that your days are prolonged on the ground which your God YHWH is giving to you.
Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
13 You do not murder.
Tottanga.
14 You do not commit adultery.
Toyendanga.
15 You do not steal.
Tobbanga.
16 You do not answer [with] a false testimony against your neighbor.
Towaayirizanga muntu munno.
17 You do not desire the house of your neighbor, you do not desire the wife of your neighbor, or his manservant, or his handmaid, or his ox, or his donkey, or anything which [is] your neighbor’s.”
Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
18 And all the people are seeing the voices, and the flames, and the sound of the horn, and the mountain smoking; and the people see, and move, and stand far off,
Awo abantu bwe baalaba okumyansa kw’eraddu, ne bawulira n’okubwatuka kw’eggulu awamu n’eddoboozi ly’akagombe, ne balaba n’olusozi nga lunyooka ne bakankana nga batidde nnyo. Ne bayimirira walako,
19 and say to Moses, “Speak with us, and we hear, and do not let God speak with us, lest we die.”
ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, tujja kubiwuliriza. Naye Katonda aleme kwogera naffe tuleme okufa.”
20 And Moses says to the people, “Do not fear, for God has come to try you, and in order that His fear may be before your faces—that you do not sin.”
Musa n’agamba abantu nti, “Temutya, kubanga Katonda azze kubagezesa, mumutyenga bulijjo, mulyoke muleme okwonoona.”
21 And the people stand far off, and Moses has drawn near to the thick darkness where God [is].
Abantu ne basigala nga bayimiridde walako, naye Musa n’asembera mu kizikiza ekikwafu Katonda mwe yali.
22 And YHWH says to Moses, “Thus you say to the sons of Israel: You have seen that I have spoken with you from the heavens;
Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oti bw’oba otegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mmwe bennyini mwerabiddeko nga njogera nammwe nga nsinziira mu ggulu.
23 you do not make gods of silver and gods of gold [to be] with Me—you do not make [any idol] for yourselves.
Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu.
24 You make an altar of earth for Me, and you have sacrificed on it your burnt-offerings and your peace-offerings, your flock and your herd; in every place where I cause My Name to be remembered I come to you, and have blessed you.
“‘Munkolere ekyoto eky’ettaka, muweereyo okwo ssaddaaka zammwe ezookebwa, n’essaddaaka olw’emirembe, ey’endiga zo n’ente zo. Mu buli kifo mwe nnaaleeteranga erinnya lyange okuweebwa ekitiibwa, nnajjanga ne mbaweera omwo omukisa.
25 And if you make an altar of stones for Me, you do not build them of hewn work; when you have waved your tool over it, then you defile it;
Bwe munzimbiranga ekyoto eky’amayinja, temukizimbisanga mayinja mayooyoote, kubanga ekyuma bwe kirigakoonako kirigafuula agatasaanira kyoto kyange.
26 neither do you go up by steps on My altar, that your nakedness is not revealed on it.
Ekyoto kyange temukizimbangako madaala, muleme okukiweebuula nga mulinnya amadaala.’”

< Exodus 20 >