< Ephesians 6 >
1 The children: obey your parents in the LORD, for this is right;
Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu.
2 honor your father and mother,
“Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti:
3 which is the first command with a promise, “That it may be well with you, and you may live a long time on the land.”
Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi.
4 And the fathers: do not provoke your children, but nourish them in the instruction and admonition of the LORD.
Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.
5 The servants: obey the masters according to the flesh with fear and trembling, in the simplicity of your heart, as to the Christ;
Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu mubiri nga mubatya era nga mubawa ekitiibwa ng’omutima gwammwe mumalirivu, nga bwe mwamalirira mu Kristo.
6 not with eye-service as men-pleasers, but as servants of the Christ, doing the will of God out of [your] soul,
Ekyo temukikola lwa kulabibwa, abantu balyoke babasiime, wabula mukolenga ng’abaddu ba Kristo nga mukola n’omutima gwammwe gwonna, nga Katonda bw’ayagala.
7 serving with goodwill, as to the LORD, and not to men,
Muweerezenga n’omutima omulungi ng’abakolera Mukama waffe so si ng’abakolera abantu,
8 having known that whatever good thing each one may do, this he will receive from the LORD, whether servant or freeman.
nga mumanyi ng’ekirungi kyonna omuntu ky’akola, oba muddu oba wa ddembe, Mukama alimusasula empeera ennungi.
9 And the masters! Do the same things to them, letting threatening alone, having also known that your Master is in the heavens, and favor by appearance is not with Him.
Era nammwe bakama b’abaddu, muyisenga bulungi abaddu bammwe nga temubatiisatiisa, nga mumanyi nti Mukama waabwe, ye Mukama wammwe, ali mu ggulu era ye tasosola mu bantu.
10 As to the rest, my brothers, be strong in the LORD, and in the power of His might;
Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge.
11 put on the whole armor of God, so you are able to stand against the schemes of the Devil,
Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani.
12 because our wrestling is not with flesh and blood, but with the principalities, with the authorities, with the world-rulers of the darkness of this age, with the spiritual [forces] of evil in the heavenly [places]; (aiōn )
Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. (aiōn )
13 because of this take up the whole armor of God, that you may be able to resist in the day of the evil, and having done all things—to stand.
Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu.
14 Stand, therefore, having your loins girded around in truth, and having put on the breastplate of righteousness,
Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba,
15 and having the feet shod in the preparation of the good news of peace;
nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe.
16 in all, having taken up the shield of faith, in which you will be able to quench all the fiery darts of the evil one,
Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi.
17 and receive the helmet of the salvation, and the sword of the Spirit, which is the word of God,
Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo,
18 through all prayer and supplication praying at all times in the Spirit, and in this, watching in all perseverance and supplication for all the holy ones—
nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.
19 and in behalf of me, that to me may be given a word in the opening of my mouth, in freedom, to make known the secret of the good news,
Era nange munsabirenga bwe nnaabanga njogera mpeebwe eby’okwogera, era mbyogerenga n’obuvumu nga ntegeeza abantu ekyama ky’Enjiri.
20 for which I am an ambassador in a chain, that in it I may speak freely—as it is necessary for me to speak.
Ndi mubaka wa Njiri ali mu njegere. Munsabire ndyoke ngibuulire abantu n’obuvumu nga bwe kinsaanira.
21 And that you may know—you also—the things concerning me—what I do, Tychicus will make all things known to you, the beloved brother and faithful servant in the LORD,
Tukiko, owooluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe, alibategeeza byonna mulyoke mutegeere ebinfaako ne bye nkola.
22 whom I sent to you for this very thing, that you might know the things concerning us, and that he might comfort your hearts.
Mmutumye gye muli, mulyoke mumanye nga bwe tuli era abagumye emitima gyammwe.
23 Peace to the brothers, and love, with faith, from God the Father, and the Lord Jesus Christ!
Emirembe n’okwagala awamu n’okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga n’abooluganda.
24 The grace with all those loving our Lord Jesus Christ—undecayingly! Amen.
Ekisa kya Katonda kibeerenga n’abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo n’okwagala okutaggwaawo.