< Amos 9 >

1 I saw the Lord standing upon the altar; and he said, Smite the capital, that the sills may quake; and break them in pieces over the head of all of them; and their posterity will I slay with the sword: there shall not flee away from them one that fleeth, and there shall not escape from them one that is saved.
Bwe ntyo nate ne ndaba Mukama ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto, n’ayogera nti, “Mukube emitwe gy’empagi bya yeekaalu n’amaanyi mangi, emifuubeeto gikankane. Bisesebbuke bikube emitwe gy’abantu bonna, n’abo abaliba bawonyeewo ndibattisa ekitala. Tewaliba n’omu awona.
2 Though they were to creep down into the nether world, thence would my hand fetch them; and though they were to climb up to the heavens, thence would I bring them down; (Sheol h7585)
Ne bwe balisima ne baddukira emagombe, omukono gwange gulibaggyayo. Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu ndibawanulayo. (Sheol h7585)
3 And though they were to hide themselves on the top of Carmel, thence would I search and take them out; and though they were to conceal themselves from before my eyes in the bottom of the sea, thence would I command the serpent, that he should bite them;
Wadde balyekweka ku lusozi Kalumeeri, ndibanoonyaayo ne mbaggyayo. Ne bwe balyekweka wansi mu buziba bw’ennyanja ndiragira ogusota ne gubalumirayo.
4 And though they were to go into captivity before their enemies, thence would I command the sword, that it should slay them: and I will set my eye upon them for evil, and not for good.
Ne bwe balitwalibwa abalabe baabwe mu buwaŋŋanguse, era nayo ndiragira ekitala ne kibattirayo. Ndibasimba amaaso ne batuukibwako bibi so si birungi.”
5 And the Lord Eternal of hosts it is that toucheth the earth, and she melteth away, and all that dwell thereon shall mourn; and she riseth up like a stream wholly; and she sinketh like the stream of Egypt;
Era Mukama, Mukama ow’Eggye, akwata ku nsi n’esaanuuka, abantu baayo bonna abagibeeramu ne bakungubaga, ensi yonna n’etumbiira nga Kiyira ate n’ekka ng’amazzi g’omugga gw’e Misiri;
6 That buildeth in the heavens his steps, and hath founded his vault over the earth; that calleth for the waters of the sea, and poureth them out over the face of the earth: The Lord is his name.
oyo eyazimba olubiri lwe olulungi ennyo mu ggulu, omusingi gwalwo ne gubeera ku nsi, ayita amazzi g’ennyanja, n’agayiwa wansi ku lukalu, Mukama lye linnya lye.
7 Are ye not like the children of the Ethiopians unto me, O children of Israel? saith the Lord: have I not brought up Israel out of the land of Egypt? and the Philistines from Caphtor, and the Syrians from Kir?
Mukama ayongera n’agamba nti, “Mmwe abaana ba Isirayiri temuli ng’Abakuusi gye ndi? Ssabaggya mu nsi y’e Misiri nga bwe naggya Abafirisuuti e Katufoli, n’Abasuuli e Kiri?”
8 Behold, the eyes of the Lord Eternal are upon the sinful kingdom, and I will destroy it from off the face of the earth; save only that I will not utterly destroy the house of Jacob, saith the Lord.
“Ddala ddala amaaso ga Mukama Katonda, gatunuulidde nkaliriza obwakabaka obwonoonyi. Ndibuzikiriza ne mbusaasaanya okuva ku nsi. Kyokka sirizikiririza ddala ennyumba ya Yakobo okugimalawo,” bw’ayogera Mukama.
9 For, lo, I will give the command, and I will shake about among all the nations the house of Israel, as one shaketh things in a sieve, while not the least piece falleth down upon the earth.
“Kubanga ndiwa ekiragiro, ennyumba ya Isirayiri erinyeenyezebwa mu mawanga gonna, ng’emmere ey’empeke bwe kuŋŋutibwa mu kakuŋŋunta era tewaliba kayinja akaligwa wansi.
10 By the sword shall die all the sinners of my people, who say, The evil will not come near [us], nor hasten along for our sake.
Aboonoonyi bonna mu bantu bange, balifa kitala, abo bonna aboogera nti, ‘Akabi tekalitutuukako.’”
11 On that day will I raise up the tabernacle of David which is fallen; and I will close up its breaches; and its ruins will I raise up, and I will rebuild it as in days of old:
“Mu biro ebyo ndizzaawo ennyumba ya Dawudi eyagwa era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa, ne nzizaawo ebyali amatongo, ne biba nga bwe byabeeranga,
12 In order that they may take possession of the remnant of Edom, and of all the nations, which are called by my name, saith the Lord that doth this.
balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,” bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.
13 Behold, days are coming, saith the Lord, when the ploughman shall come close up to the harvester, and the treader of the grapes to the one that scattereth the seed: and the mountains shall drop with sweet new wine, and all the hills shall melt away.
“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama, “akungula lw’alisinga asiga, n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu. Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi, n’akulukuta okuva mu busozi.
14 And I will bring back the captivity of my people Israel, and they shall build the wasted cities, and dwell therein; and they shall plant vineyards, and drink their wine; and they shall lay out gardens, and eat their fruit.
Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse, ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu. Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu, era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
15 And I will plant them upon their own soil, and they shall not be pulled up any more out of their land which I have given unto them, saith the Lord thy God.
Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe, era tebaliggibwa nate mu nsi gye nabawa,” bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.

< Amos 9 >