< Amos 6 >

1 Woe to those that are free from care in Zion, and that are in safety on the mount of Samaria, who are named the chief of the nations, to whom the house of Israel come!
Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni, n’abo abawulira emirembe ku lusozi lw’e Samaliya. Mmwe abasajja abeekitiibwa ab’ensi enkulembeze, abantu ba Isirayiri gye beeyuna.
2 Pass ye over unto Calneh, and see; and go from there to Chamath-rabbah; then go down to Gath of the Philistines: whether they be better than these kingdoms? or whether their territory be greater than your territory?
Mugende mulabe e Kalune; muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu, ate era muserengete mu kibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gaasi. Basinga obwakabaka bwammwe obubiri? Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?
3 [Ye] that deem far away the evil day, and cause the seat of violence to come near;
Mulindiriza olunaku olw’ekibi, ate ne musembeza effugabbi.
4 That lie upon beds of ivory, and are stretched out upon their couches, and eat lambs out of the flock, and calves out of the midst of the stall;
Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga ne muwummulira mu ntebe ennyonvu nga muvaabira ennyama y’endiga n’ey’ennyana ensava.
5 That chant to the sound of the psaltery, and like David's do they imagine their instrument of music to be;
Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga, ne muyiiya n’ennyimba ku bivuga.
6 That drink out of wine-bowls, and anoint themselves with the costliest of ointments; but who feel no pain for the wound of Joseph.
Mwekatankira wayini, ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi, naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.
7 Therefore now shall they go into exile at the head of exiles, and the noisy banquet of those that were stretched out shall pass away.
Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse. Era embaga zammwe n’okwewummuza birikoma.
8 The Lord Eternal hath sworn by his own existence, saith the Lord the God of hosts, I abhor the pride of Jacob, and his palaces do I hate: therefore will I surrender up [to the enemy] the city with all that filleth it.
Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti, “Neetamiddwa amalala ga Yakobo, nkyawa ebigo bye, era nzija kuwaayo ekibuga ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”
9 And it shall come to pass, that if there remain ten men in one house, they shall die.
Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa.
10 And should a man's uncle or relative carry him forth, to bring out the bones out of the house, and say unto him that is in the recesses of the house, Is there yet any one with thee? he will say, There is no one left. Then will he say, Be silent; for we may not make mention of the name of the Lord.
Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”
11 For, behold, the Lord commandeth, and he will smite the great house with breaches, and the little house with clefts.
Laba Mukama alagidde, ennyumba ennene erimenyebwamenyebwa, n’ennyumba entono erimenyebwamenyebwa.
12 Do horses ever run upon the rock? or will one plough there with oxen? that ye have turned justice into poison, and the fruit of righteousness into wormwood;
Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja? Waali wabaddewo abalima ku mayinja n’enkumbi ezisikibwa ente? Naye obwenkanya mubufudde obutwa n’ekibala eky’obutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.
13 Ye who rejoice for a thing of naught, who say, Have we not through our own strength procured ourselves horns?
Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba. Mwogera nti, “Tetwawamba Kanayimu n’amaanyi gaffe?”
14 For, behold, I will raise up against you a nation, O house of Israel, saith the Lord the God of hosts, and they shall oppress you from the entrance of Chamath unto the brook of the wilderness.
Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti, “Ndibasindikira eggwanga libalumbe, mmwe ennyumba ya Isirayiri; liribajooga ebbanga lyonna okuva e Lebo Kamasi okutuuka mu kiwonvu kye Alaba.”

< Amos 6 >