< 1 Samuel 21 >

1 And David came to Nob to Achimelech the priest; and Achimelech hastened trembling to meet David, and said unto him, Why art thou alone, and no man is with thee?
Dawudi n’agenda e Nobu eri Akimereki kabona. Akimereki n’ajja ng’akankana okusisinkana Dawudi, n’amubuuza nti, “Lwaki oli wekka? Tewali muntu mulala ali wamu naawe?”
2 And David said unto Achimelech the priest, The king commanded me a business, and said unto me, Let not any man know the least of the business concerning which I send thee, and which I have commanded thee. And the young men have I appointed to such and such a place.
Dawudi n’addamu Akimereki kabona nti, “Kabaka alina ensonga gye yantumye, n’aŋŋamba nti, ‘Tewaba n’omu amanya ku nsonga eno, era n’ebiragiro bye nkuwadde.’ Abasajja bange mbagambye we banansisinkana.
3 And now what hast thou on hand: put five loaves of bread into my hand, or what else can be found.
Kale nno kiki ky’olina wo? Mpaayo emigaati etaano, oba kyonna ky’olinawo.”
4 And the priest answered David, and said, I have no common bread on hand, but there is hallowed bread; if the young men have only withheld themselves from women.
Kabona n’addamu Dawudi nti, “Sirinaawo migaati gya bulijjo okuggyako emigaati egyatukuzibwa, wabula nga abasajja bo beetukuza era nga beekuumye obuteetaba na bakazi.”
5 And David answered the priest and said to him, To a certainty women have been denied us yesterday and the day before, when I went forth, and the vessels of the young men were holy: and if this was the custom with unholy things, how much more will it remain this day holy in the vessels.
Dawudi n’amugamba nti, “Abakazi tebabeera naffe, era bulijjo bwe kitera okuba bwe tugenda ku mulimu. Emibiri gy’abasajja giba mitukuvu ne bwe baba ku ŋŋendo eza bulijjo. Kale obanga tutera okwekuuma, olowooza leero emibiri gyabwe tegisinga nnyo kuba mitukuvu?”
6 So the priest gave him hallowed bread; for there was no bread there except the showbread, that was removed from before the Lord, so as to put down hot bread on the day when it was taken away.
Awo kabona n’amuwa emigaati egyatukuzibwa kubanga tewaaliwo migaati mirala wabula emigaati egy’Okulaga egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, buli lunaku nga giwoze, egibuguma ne gissibwawo mu kifo kya gyo.
7 Now a certain man of the servants of Saul was there on that day, detained before the Lord; and his name was Doeg, the Edomite, the chief of the herdsmen that belonged to Saul.
Ku lunaku olwo omu ku baweereza ba Sawulo eyayitibwanga Dowegi Omwedomu, era nga ye mukulu w’abasumba ba Sawulo, yali asigadde mu maaso ga Mukama okutukuzibwa.
8 And David said unto Achimelech, Hast thou not also here at hand a spear or sword: for both my sword as also my other weapons have I not brought with me, because the king's business was urgent.
Dawudi n’abuuza Akimereki nti, “Tolinaawo ffumu newaakubadde ekitala awo? Ssaayise na kitala kyange newaakubadde ekyokulwanyisa n’ekimu, kubanga omulimu kabaka gwe yantumye gwabadde gwa kukolerawo.”
9 And the priest said, The sword of Goliath the Philistine, whom thou didst slay in the valley of Elah, behold, it is here wrapped up in a cloth behind the ephod: if thou wilt take that for thyself, take it; for there is no other save it here. And David said, There is none like that: give it to me.
Kabona n’amuddamu nti, “Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, weekiri wano; kisabikiddwa mu lugoye emabega w’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. Bw’oba ng’okyetaaga, kitwale. Tewaliwo kitala kirala wabula ekyo.” Dawudi n’ayogera nti, “Tewali kikyenkana; kimpe.”
10 And David arose, and fled on that day from before Saul, and came to Achish the king of Gath.
Ku lunaku olwo Dawudi n’adduka Sawulo n’agenda eri Akisi kabaka w’e Gaasi.
11 And the servants of Achish said unto him, Is not this David the king of the land? did they not of this man sing one to another in the dances, saying, Saul hath slain his thousands, and David his ten thousands?
Naye abaweereza ba Akisi ne bamugamba nti, “Oyo si ye Dawudi kabaka w’ensi? Si gwe bayimbako nga bazina, nga boogera nti, “‘Sawulo asse enkumi ze ne Dawudi emitwalo gye?’”
12 And David took these words to his heart, and was greatly afraid of Achish the king of Gath.
Dawudi n’akuuma ebigambo ebyo mu mutima gwe, era n’atya nnyo Akisi kabaka w’e Gaasi.
13 And he disguised his reason before their eyes, and played the madman in their hands, and scribbled on the doors of the gate, and let his spittle run down upon his beard.
Kyeyava yeefuula omulalu mu maaso gaabwe, n’aba ng’agudde eddalu, n’awandiika ebitategeerekeka ku wankaaki, nga bw’akulukusa amalusu ku birevu bye.
14 Then said Achish unto his servants, Lo, ye see, the man is mad: wherefore then will ye bring him to me?
Akisi n’agamba abaweereza be nti, “Mulabe! Omusajja mulalu! Lwaki mumundeetedde?
15 Have I lack of madmen, that ye have brought this man to play his pranks about me? shall this one come into my house?
Mbuliddwa abalalu, n’okuleeta ne mundeetera omusajja ono okukola ebifaanana bwe biti mu maaso gange? Omusajja ono asaana okuggya mu nnyumba yange?”

< 1 Samuel 21 >