< Psalms 97 >

1 The LORD reigneth; let the earth rejoice; let the multitude of isles be glad [thereof].
Mukama afuga; ensi esanyuke, n’embalama eziri ewala zijaguze.
2 Clouds and darkness [are] round about him: righteousness and judgment [are] the habitation of his throne.
Ebire n’ekizikiza bimwetooloola; obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
3 A fire goeth before him, and burneth up his enemies round about.
Omuliro gumukulembera ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
4 His lightnings enlightened the world: the earth saw, and trembled.
Okumyansa kwe kumulisa ensi; ensi n’ekulaba n’ekankana.
5 The hills melted like wax at the presence of the LORD, at the presence of the Lord of the whole earth.
Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama, mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6 The heavens declare his righteousness, and all the people see his glory.
Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe; n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.
7 Confounded be all they that serve graven images, that boast themselves of idols: worship him, all [ye] gods.
Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde, abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole. Mumusinze mwe mwenna bakatonda.
8 Zion heard, and was glad; and the daughters of Judah rejoiced because of thy judgments, O LORD.
Sayuuni akiwulira n’asanyuka, n’ebyalo bya Yuda bijaguza; kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
9 For thou, LORD, [art] high above all the earth: thou art exalted far above all gods.
Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi; ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10 Ye that love the LORD, hate evil: he preserveth the souls of his saints; he delivereth them out of the hand of the wicked.
Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi, akuuma obulamu bw’abamwesiga, n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.
11 Light is sown for the righteous, and gladness for the upright in heart.
Omusana gwe gwakira abatuukirivu, n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12 Rejoice in the LORD, ye righteous; and give thanks at the remembrance of his holiness.
Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu, era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.

< Psalms 97 >