< Psalms 59 >

1 To the chief Musician, Al-taschith, Michtam of David; when Saul sent, and they watched the house to kill him. Deliver me from mine enemies, O my God: defend me from them that rise up against me.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Dawudi, Sawulo bwe yatuma bakuume enju ya Dawudi bamutte. Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange; onnwanirire, abantu bwe bangolokokerako.
2 Deliver me from the workers of iniquity, and save me from bloody men.
Omponye abakola ebitali bya butuukirivu, era ondokole mu batemu.
3 For, lo, they lie in wait for my soul: the mighty are gathered against me; not [for] my transgression, nor [for] my sin, O LORD.
Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita. Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama, so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
4 They run and prepare themselves without [my] fault: awake to help me, and behold.
Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba. Tunuulira obuzibu bwange, osituke, onnyambe.
5 Thou therefore, O LORD God of hosts, the God of Israel, awake to visit all the heathen: be not merciful to any wicked transgressors. (Selah)
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, golokoka obonereze amawanga gonna; abo bonna abasala enkwe tobasaasira.
6 They return at evening: they make a noise like a dog, and go round about the city.
Bakomawo buli kiro, nga babolooga ng’embwa, ne batambulatambula mu kibuga.
7 Behold, they belch out with their mouth: swords [are] in their lips: for who, [say they], doth hear?
Laba, bwe bavuma! Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala, nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
8 But thou, O LORD, shalt laugh at them; thou shalt have all the heathen in derision.
Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera, era amawanga ago gonna oganyooma.
9 [Because of] his strength will I wait upon thee: for God [is] my defence.
Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga era nnaakutenderezanga, kubanga ggwe kigo kyange ekinywevu.
10 The God of my mercy shall prevent me: God shall let me see [my desire] upon mine enemies.
Katonda wange anjagala anankulemberanga, ne ndyoka neeyagalira ku balabe bange.
11 Slay them not, lest my people forget: scatter them by thy power; and bring them down, O Lord our shield.
Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe, abantu bange baleme kwerabira; mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange; n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
12 [For] the sin of their mouth [and] the words of their lips let them even be taken in their pride: and for cursing and lying [which] they speak.
Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe, n’ebigambo by’oku mimwa gyabwe leka byonna bibatege ng’omutego. Kubanga bakolima era ne boogera eby’obulimba.
13 Consume [them] in wrath, consume [them], that they [may] not [be: ] and let them know that God ruleth in Jacob unto the ends of the earth. (Selah)
Bamaleewo n’ekiruyi kyo, bamalirewo ddala; amawanga gonna galyoke gategeere nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.
14 And at evening let them return; [and] let them make a noise like a dog, and go round about the city.
Bakomawo nga buwungedde nga babolooga ng’embwa, ne batambulatambula mu kibuga.
15 Let them wander up and down for meat, and grudge if they be not satisfied.
Banoonya emmere buli wantu mu kibuga, ne bawowoggana bwe batakkuta.
16 But I will sing of thy power; yea, I will sing aloud of thy mercy in the morning: for thou hast been my defence and refuge in the day of my trouble.
Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go; mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
17 Unto thee, O my strength, will I sing: for God [is] my defence, [and] the God of my mercy.
Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.

< Psalms 59 >