< John 8 >

1 Jesus went unto the mount of Olives.
Awo Yesu n’alaga ku lusozi olwa Zeyituuni.
2 And early in the morning he came again into the temple, and all the people came unto him; and he sat down, and taught them.
Ku makya ennyo n’akomawo mu Yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy’ali, n’atuula n’abayigiriza.
3 And the scribes and Pharisees brought unto him a woman taken in adultery; and when they had set her in the midst,
Awo abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe baakwata ng’ayenda, ne bamuteeka wakati mu maaso g’ekibiina.
4 They say unto him, Master, this woman was taken in adultery, in the very act.
Ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, omukazi ono akwatibbwa ng’ayenda.
5 Now Moses in the law commanded us, that such should be stoned: but what say you?
Amateeka Musa ge yatulagira gagamba kubakuba mayinja abali ng’ono. Noolwekyo ggwe ogamba otya ku nsonga eyo?”
6 This they said, tempting him, that they might have to accuse him. But Jesus stooped down, and with his finger wrote on the ground, as though he heard them not.
Ekyo baakyogera nga bamugezesa, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira. Naye Yesu n’akutama n’awandiika ku ttaka n’olunwe.
7 So when they continued asking him, he lifted up himself, and said unto them, He that is without sin among you, let him first cast a stone at her.
Bwe beeyongera okumubuuza, n’akutaamulukuka, n’agamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako y’aba asooka okumukuba ejjinja.”
8 And again he stooped down, and wrote on the ground.
N’addamu okukutama, era n’awandiika ku ttaka n’olunwe.
9 And they which heard it, being convicted by their own conscience, went out one by one, beginning at the eldest, even unto the last: and Jesus was left alone, and the woman standing in the midst.
Bwe baawulira ebyo, ne baseebulukuka kinnoomu, abasinga obukulu nga be basoose, okutuusa Yesu n’omukazi bwe baasigalawo bokka mu maaso g’ekibiina.
10 When Jesus had lifted up himself, and saw none but the woman, he said unto her, Woman, where are those your accusers? has no man condemned you?
Awo Yesu n’akutaamulukuka ate, n’abuuza omukazi nti, “Abakuwawaabira baluwa?”
11 She said, No man, Lord. And Jesus said unto her, Neither do I condemn you: go, and sin no more.
Omukazi n’amuddamu nti, “Mukama wange, tewali n’omu.” Yesu n’amugamba nti, “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”
12 Then spoke Jesus again unto them, saying, I am the light of the world: he that follows me shall not walk in darkness, but shall have the light of life.
Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”
13 The Pharisees therefore said unto him, You bear record of yourself; your record is not true.
Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Weeyogerako naye by’oyogera bya bulimba.”
14 Jesus answered and said unto them, Though I bear record of myself, yet my record is true: for I know whence I came, and where I go; but all of you cannot tell whence I come, and where I go.
Yesu n’abaddamu nti, “Newaakubadde neeyogerako, bye njogera bituufu, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva wadde gye ndaga.
15 All of you judge after the flesh; I judge no man.
Mmwe musala omusango ng’abantu obuntu. Nze siriiko gwe nsalira musango.
16 And yet if I judge, my judgment is true: for I am not alone, but I and the Father that sent me.
Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma.
17 It is also written in your law, that the testimony of two men is true.
Amateeka gammwe gagamba nti ssinga abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima.
18 I am one that bear witness of myself, and the Father that sent me bears witness of me.
Kale Nze nneyogerako era n’oyo eyantuma ategeeza ebyange.”
19 Then said they unto him, Where is your Father? Jesus answered, All of you neither know me, nor my Father: if all of you had known me, all of you should have known my Father also.
Awo ne bamubuuza nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Nze temuntegeera ne Kitange temumutegeera. Singa muntegeera ne Kitange mwandimutegedde.”
20 These words (rhema) spoke Jesus in the treasury, as he taught in the temple: and no man laid hands on him; for his hour was not yet come.
Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ng’ayigiriza mu Yeekaalu. Naye ne wataba amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka.
21 Then said Jesus again unto them, I go my way, and all of you shall seek me, and shall die in your sins: where I go, all of you cannot come.
Awo Yesu ne yeeyongera, n’abagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, mulinnoonya, naye mulifiira mu bibi byammwe. Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo.”
22 Then said the Jews, Will he kill himself? because he says, Where I go, all of you cannot come.
Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Agenda kwetta kyava agamba nti, ‘Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo?’”
23 And he said unto them, All of you are from beneath; I am from above: all of you are of this world; I am not of this world.
Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi, naye Nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, Nze siri wa ku nsi kuno.
24 I said therefore unto you, that all of you shall die in your sins: for if all of you believe not that I am he, all of you shall die in your sins.
Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”
25 Then said they unto him, Who are you? And Jesus says unto them, Even the same that I said unto you from the beginning.
Ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?” Yesu n’abaddamu nti, “Lwaki mbategeeza?
26 I have many things to say and to judge of you: but he that sent me is true; and I speak to the world those things which I have heard of him.
Nnina bingi eby’okuboogerako n’okubasalira omusango okubasinga, kyokka eyantuma wa mazima, era ebyo bye nawulira okuva gy’ali bye ntegeeza ensi.”
27 They understood not that he spoke to them of the Father.
Kyokka tebaategeera Kitaawe gw’ayogerako.
28 Then said Jesus unto them, When all of you have lifted up the Son of man, then shall all of you know that I am he, and that I do nothing of myself; but as my Father has taught me, I speak these things.
Awo Yesu n’abagamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana w’Omuntu ne mulyoka mutegeera nti nze wuuyo, era siriiko kye nkola ku bwange, naye njogera ebyo Kitange bye yanjigiriza.
29 And he that sent me is with me: the Father has not left me alone; for I do always those things that please him.
Era oyo eyantuma ali nange, tandekanga bw’omu, kubanga bulijjo nkola by’ayagala.”
30 As he spoke these words, many believed on him.
Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo bangi ne bamukkiriza.
31 Then said Jesus to those Jews which believed on him, If all of you continue in my word, (logos) then are all of you my disciples indeed;
Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala.
32 And all of you shall know the truth, and the truth shall make you free.
Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.”
33 They answered him, We be Abraham's seed, and were never in bondage to any man: how say you, All of you shall be made free?
Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli bazzukulu ba Ibulayimu, tetubangako baddu ba muntu n’omu. Oyinza otya okugamba nti, ‘Mulifuuka ba ddembe?’”
34 Jesus answered them, Verily, verily, I say unto you, Whosoever commits sin is the servant of sin.
Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti buli akola ekibi aba muddu wa kibi.
35 And the servant abides not in the house for ever: but the Son abides ever. (aiōn g165)
Omuddu taba wa lubeerera mu maka, naye omwana ye, aba waamu ennaku zonna. (aiōn g165)
36 If the Son therefore shall make you free, all of you shall be free indeed.
Kale, Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, mulibeerera ddala ba ddembe.
37 I know that all of you are Abraham's seed; but all of you seek to kill me, because my word (logos) has no place in you.
Weewaawo ntegeera nga muli bazzukulu ba Ibulayimu, naye ate abamu ku mmwe musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange temukikkiriza.
38 I speak that which I have seen with my Father: and all of you do that which all of you have seen with your father.
Nze mbategeeza ebyo Kitange bye yandaga, nammwe mukola ebyo kitammwe bye yababuulira.”
39 They answered and said unto him, Abraham is our father. Jesus says unto them, If all of you were Abraham's children, all of you would do the works of Abraham.
Ne bamuddamu nti, “Kitaffe ye Ibulayimu.” Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu mwandikoze ebyo Ibulayimu bye yakola.
40 But now all of you seek to kill me, a man that has told you the truth, which I have heard of God: this did not Abraham.
Naye kaakano, Nze ababuulidde ebyo byennyini bye nawulira okuva eri Katonda musala amagezi okunzita. Ekifaanana ng’ekyo Ibulayimu teyakikola.
41 All of you do the deeds of your father. Then said they to him, We be not born of fornication; we have one Father, even God.
Mukola emirimu gya kitammwe.” Ne bamuddamu nti, “Ffe tetwazaalibwa mu bwenzi, Kitaffe gwe tulina ali omu, ye Katonda.”
42 Jesus said unto them, If God were your Father, all of you would love me: for I proceeded forth and came from God; neither came I of myself, but he sent me.
Yesu n’abagamba nti, “Singa Katonda ye Kitammwe mwandinjagadde, kubanga nava gy’ali okujja gye muli, sajja ku bwange wabula ye yantuma.
43 Why do all of you not understand my speech? even because all of you cannot hear my word. (logos)
Lwaki temutegeera bye njogera? Kubanga temwagala kuwulira bigambo byange.
44 All of you are of your father the devil, and the lusts of your father all of you will do. He was a murderer from the beginning, and abode not in the truth, because there is no truth in him. When he speaks a lie, he speaks of his own: for he is a liar, and the father of it.
Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe by’ayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bw’ayogera eby’obulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe w’abalimba.
45 And because I tell you the truth, all of you believe me not.
Naye kubanga njogera mazima kyemuva mutanzikiriza.
46 Which of you convinces me of sin? And if I say the truth, why do all of you not believe me?
Ani mu mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima, kiki ekibagaana okunzikiriza?
47 He that is of God hears God's words: (rhema) all of you therefore hear them not, because all of you are not of God.
Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”
48 Then answered the Jews, and said unto him, Say we not well that you are a Samaritan, and have a devil?
Awo Abayudaaya ne baddamu Yesu nti, “Tetuli batuufu okugamba nti oli Musamaliya, era oliko dayimooni?”
49 Jesus answered, I have not a devil; but I honour my Father, and all of you do dishonour me.
Yesu n’abaddamu nti, “Nze siriiko dayimooni, naye nzisaamu Kitange ekitiibwa naye mmwe temunzisaamu kitiibwa.
50 And I seek not mine own glory: there is one that seeks and judges.
Naye Nze sinoonya kussibwamu kitiibwa, waliwo omu ye akisaanira era y’alamula.
51 Verily, verily, I say unto you, If a man keep my saying, (logos) he shall never see death. (aiōn g165)
Ddala ddala mbagamba nti, Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.” (aiōn g165)
52 Then said the Jews unto him, Now we know that you have a devil. Abraham is dead, and the prophets; and you say, If a man keep my saying, (logos) he shall never taste of death. (aiōn g165)
Awo Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Kaakano tutegeeredde ddala nti oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi baafa, ate ggwe ogamba nti, ‘Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.’ (aiōn g165)
53 Are you greater than our father Abraham, which is dead? and the prophets are dead: whom make you yourself?
Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Bannabbi nabo baafa. Ggwe weeyita ani?”
54 Jesus answered, If I honour myself, my honour is nothing: it is my Father that honors me; of whom all of you say, that he is your God:
Yesu n’addamu nti, “Singa Nze neegulumiza okwegulumiza kwange tekubaamu nsa, angulumiza ye Kitange mmwe gwe muyita Katonda wammwe,
55 Yet all of you have not known him; but I know him: and if I should say, I know him not, I shall be a liar like unto you: but I know him, and keep his saying. (logos)
mmwe temumumanyi. Nze mmumanyi. Bwe ŋŋamba nti simumanyi mba mulimba nga mmwe bwe muli. Nze mmumanyi era n’ekigambo kye nkikuuma.
56 Your father Abraham rejoiced to see my day: and he saw it, and was glad.
Kitammwe Ibulayimu yasanyuka okulaba olunaku lwange. Yamanya nti nzija era ne kimusanyusa.”
57 Then said the Jews unto him, You are not yet fifty years old, and have you seen Abraham?
Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaweza na myaka amakumi ataano egy’obukulu n’ogamba nti walaba Ibulayimu?”
58 Jesus said unto them, Verily, verily, I say unto you, Before Abraham was, I am.
Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.”
59 Then took they up stones to cast at him: but Jesus hid himself, and went out of the temple, going through the midst of them, and so passed by.
Awo ne bakwata amayinja okumukuba, kyokka Yesu ne yeekweka n’afuluma mu Yeekaalu.

< John 8 >