< John 10 >

1 Verily, verily, I say unto you, He that enters not by the door into the sheepfold, but climbs up some other way, the same is a thief and a robber.
“Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi.
2 But he that enters in by the door is the shepherd of the sheep.
Naye ayingirira mu mulyango, ye musumba w’endiga.
3 To him the gate keeper opens; and the sheep hear his voice: and he calls his own sheep by name, and leads them out.
Era oyo omuggazi amuggulirawo, n’endiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo n’azifulumya ebweru.
4 And when he puts forth his own sheep, he goes before them, and the sheep follow him: for they know his voice.
Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye.
5 And a stranger will they not follow, but will flee from him: for they know not the voice of strangers.
Omulala gwe zitamanyi, tezimugoberera, zimudduka buddusi kubanga tezimanyi ddoboozi lye.”
6 This parable spoke Jesus unto them: but they understood not what things they were which he spoke unto them.
Yesu n’abagerera olugero olwo, kyokka bo, ebyo tebaabitegeera.
7 Then said Jesus unto them again, Verily, verily, I say unto you, I am the door of the sheep.
Awo Yesu kyeyava ayongera n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nze mulyango gw’endiga.
8 All that ever came before me are thieves and robbers: but the sheep did not hear them.
Abalala bonna abansooka baali babbi era banyazi, n’endiga tezaabawuliriza.
9 I am the door: by me if any man enter in, he shall be saved, and shall go in and out, and find pasture.
Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro.
10 The thief comes not, but in order to steal, and to kill, and to destroy: I am come that they might have life, and that they might have it more abundantly.
Omubbi ky’ajjirira kwe kubba n’okutta n’okuzikiriza. Nze najja, zibe n’obulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu.
11 I am the good shepherd: the good shepherd gives his life for the sheep.
“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga.
12 But he that is a worker, and not the shepherd, whose own the sheep are not, sees the wolf coming, and left the sheep, and flees: and the wolf catches them, and scatters the sheep.
Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya.
13 The worker flees, because he is a worker, and cares not for the sheep.
Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.
14 I am the good shepherd, and know my sheep, and am known of mine.
“Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi.
15 As the Father knows me, even so know I the Father: and I lay down my life for the sheep.
Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga.
16 And other sheep I have, which are not of this fold: them also I must bring, and they shall hear my voice; and there shall be one fold, and one shepherd.
Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu.
17 Therefore does my Father love me, because I lay down my life, that I might take it again.
Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize.
18 No man takes it from me, but I lay it down of myself. I have power to lay it down, and I have power to take it again. This commandment have I received of my Father.
Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”
19 There was a division therefore again among the Jews for these sayings. (logos)
Yesu bwe yayogera bw’atyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto.
20 And many of them said, He has a devil, and is mad; why hear all of you him?
Bangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”
21 Others said, These are not the words (rhema) of him that has a devil. Can a devil open the eyes of the blind?
Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
22 And it was at Jerusalem the feast of the dedication, and it was winter.
Mu Yerusaalemi mwalimu embaga ey’Okutukuza, era bwali budde bwa butiti.
23 And Jesus walked in the temple in Solomon's porch.
Yesu yali mu Yeekaalu ng’atambula mu kifo ekiyitibwa Ekisasi kya Sulemaani.
24 Then came the Jews round about him, and said unto him, How long do you make us to doubt? If you be the Christ, tell us plainly.
Awo Abayudaaya ne bamwetooloola ne bamugamba nti, “Olituusa ddi okutubuusisabuusisa? Obanga ggwe Kristo kale tubuulirire ddala.”
25 Jesus answered them, I told you, and all of you believed not: the works that I do in my Father's name, they bear witness of me.
Yesu n’addamu nti, “Nababuulira dda naye temukkiriza. Ekikakasa ebyo gy’emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange.
26 But all of you believe not, because all of you are not of my sheep, as I said unto you.
Naye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange.
27 My sheep hear my voice, and I know them, and they follow me:
Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera.
28 And I give unto them eternal life; and they shall never perish, neither shall any man pluck them out of my hand. (aiōn g165, aiōnios g166)
Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, (aiōn g165, aiōnios g166)
29 My Father, which gave them me, is greater than all; and no man is able to pluck them out of my Father's hand.
kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange.
30 I and my Father are one.
Nze ne Kitange tuli omu.”
31 Then the Jews took up stones again to stone him.
Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okumukuba.
32 Jesus answered them, Many good works have I showed you from my Father; for which of those works do all of you stone me?
Yesu n’abagamba nti, “Mwalaba ebyamagero bingi Kitange bye yankozesa, kiruwa ku ebyo kye musinziirako okunkuba amayinja?”
33 The Jews answered him, saying, For a good work we stone you not; but for blasphemy; and because that you, being a man, make yourself God.
Ne bamuddamu nti, “Tetukuvunaana lwa birungi by’okola wabula lwa kubanga ovvoola; ggwe oli muntu buntu naye weeyita Katonda.”
34 Jesus answered them, Is it not written in your law, I said, All of you are gods?
Yesu n’abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti, Katonda yagamba nti, ‘Muli bakatonda’?
35 If he called them gods, unto whom the word (logos) of God came, and the scripture cannot be broken;
Obanga abo abaweebwa ekigambo kya Katonda, yabayita bakatonda, ate ng’Ebyawandiikibwa tebidiba,
36 Say all of you of him, whom the Father has sanctified, and sent into the world, You blaspheme; because I said, I am the Son of God?
ate Nze, Kitange gwe yatukuza n’antuma mu nsi, lwaki mugamba nti avvoola kubanga ŋŋambye nti, Ndi Mwana wa Katonda?
37 If I do not the works of my Father, believe me not.
Obanga sikola ebyo Kitange by’ayagala nkole, kale temunzikiriza;
38 But if I do, though all of you believe not me, believe the works: that all of you may know, and believe, that the Father is in me, and I in him.
naye obanga nkola by’ayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.”
39 Therefore they sought again to take him: but he escaped out of their hand,
Awo ne bagezaako nate okumukwata, kyokka ne yeemulula.
40 And went away again beyond Jordan into the place where John at first baptized; and there he abode.
N’addayo emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yasooka okubatiriza, n’abeera eyo.
41 And many resorted unto him, and said, John did no miracle: but all things that John spoke of this man were true.
Abantu bangi ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Yokaana teyakola byamagero, naye buli kimu kye yayogera ku muntu ono kyali kya mazima.”
42 And many believed on him there.
Bangi ne bamukkiririza eyo.

< John 10 >