< 1 Corinthians 5 >

1 It is reported commonly that there is fornication among you, and such fornication as is not so much as named among the Gentiles, that one should have his father's wife.
Twategeezebwa nga mu mmwe mulimu obwenzi, ate obwenzi obutali na mu baamawanga, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n’amufuula mukazi we.
2 And all of you are puffed up, and have not rather mourned, that he that has done this deed might be taken away from among you.
Mwekuluntazizza mu kifo ky’okwewombeeka. Oyo akola ekikolwa ng’ekyo eky’okwekuluntaza, tasaanye kuggyibwamu mu mmwe?
3 For I verily, as absent in body, but present in spirit, (pneuma) have judged already, as though I were present, concerning him that has so done this deed,
Nze newaakubadde nga siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekyo mmaze okumusalira omusango okumusinga.
4 In the name of our Lord Jesus Christ, when all of you are gathered together, and my spirit, (pneuma) with the power of our Lord Jesus Christ,
Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo n’amaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe.
5 To deliver such an one unto Satan for the destruction of the flesh, that the spirit (pneuma) may be saved in the day of the Lord Jesus.
Omuntu ng’oyo mumuweeyo eri Setaani omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe.
6 Your glorying is not good. Know all of you not that a little leaven leavens the whole lump?
Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Temumanyi ng’ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?
7 Purge out therefore the old leaven, that all of you may be a new lump, as all of you are unleavened. For even Christ our passover is sacrificed for us:
Muggyeemu ekizimbulukusa eky’edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa; kubanga Kristo ye ndiga eyaweebwayo ng’ekiweebwayo eky’Okuyitako ku lwaffe.
8 Therefore let us keep the feast, not with old leaven, neither with the leaven of malice and wickedness; but with the unleavened bread of sincerity and truth.
Noolwekyo tulye embaga si na kizimbulukusa eky’edda, newaakubadde ekizimbulukusa eky’ettima n’ekibi, naye tugirye n’omugaati ogutaliimu kizimbulukusa nga gulimu obulongoofu n’amazima.
9 I wrote unto you in an epistle not to company with fornicators:
Mbawandiikira nga mbalabula obutegattanga na benzi,
10 Yet not altogether with the fornicators of this world, or with the covetous, or extortionists, or with idolaters; for then must all of you essentially go out of the world.
so si okwewala abenzi ab’ensi eno, oba aboomululu, oba abakumpanya, oba abasinza bakatonda abalala, kubanga kyandibagwanidde mmwe okuva mu nsi.
11 But now I have written unto you not to keep company, if any man that is called a brother be a fornicator, or covetous, or an idolater, or a reviler, or a drunkard, or an extortionist; with such an one no not to eat.
Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ng’ate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Ab’engeri eyo n’okulya temulyanga nabo.
12 For what have I to do to judge them also that are without? do not all of you judge them that are within?
Kale nze nfaayo ki okusalira ab’ebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe?
13 But them that are without God judges. Therefore put away from among yourselves that wicked person.
Naye ab’ebweru Katonda ye abasalira. Omubi oyo ali mu mmwe mumuggyeemu.

< 1 Corinthians 5 >