< Isaiah 33 >

1 Woe to thee that spoilest, and thou wast not spoiled; and dealest treacherously, and they dealt not treacherously with thee! when thou shalt cease to spoil, thou shalt be spoiled; and when thou shalt make an end to deal treacherously, they shall deal treacherously with thee.
Zikusanze ggwe omuzikiriza ggwe atazikirizibwanga. Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala, ggwe, gwe batalyangamu lukwe, bw’olirekaraawo okuzikiriza, olizikirizibwa. Bw’olirekeraawo okulya mu balala olukwe, balikulyamu olukwe.
2 O Yhwh, be gracious unto us; we have waited for thee: be thou their arm every morning, our salvation also in the time of trouble.
Ayi Mukama tusaasire, tukuyaayaanira. Obeere amaanyi gaffe buli makya, obulokozi bwaffe mu biro eby’okulabiramu ennaku.
3 At the noise of the tumult the people fled; at the lifting up of thyself the nations were scattered.
Olw’eddoboozi ery’okubwatuka, abantu balidduka, bw’ogolokoka, amawanga gasaasaana.
4 And your spoil shall be gathered like the gathering of the caterpiller: as the running to and fro of locusts shall he run upon them.
Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento, era abantu bagugwako ng’ekibinja ky’enzige.
5 Yhwh is exalted; for he dwelleth on high: he hath filled Zion with judgment and righteousness.
Mukama agulumizibwe, kubanga atuula waggulu, alijjuza Sayuuni n’obwenkanya n’obutuukirivu.
6 And wisdom and knowledge shall be the stability of thy times, and strength of salvation: the fear of Yhwh is his treasure.
Y’aliba omusingi omugumu mu biro byo, nga lye tterekero eggagga ery’obulokozi, n’amagezi n’okumanya. Okutya Mukama kye kisumuluzo kye tterekero ly’obugagga obwo.
7 Behold, their valiant ones shall cry without: the ambassadors of peace shall weep bitterly.
Laba abasajja abazira ab’amaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ababaka ab’emirembe bakaaba nnyo.
8 The highways lie waste, the wayfaring man ceaseth: he hath broken the covenant, he hath despised the cities, he regardeth no man.
Enguudo ennene tezitambulirwako, tewali azitambulirako. Endagaano yamenyebwa, n’abajulizi baayo banyoomebwa, tewali assibwamu kitiibwa.
9 The earth mourneth and languisheth: Lebanon is ashamed and hewn down: Sharon is like a wilderness; and Bashan and Carmel shake off their fruits.
Ensi ekungubaga era eyongobera, Lebanooni aswadde era awotose; Saloni ali ng’eddungu, ng’asuula Basani ne Kalumeeri.
10 Now will I rise, saith Yhwh; now will I be exalted; now will I lift up myself.
Mukama agamba nti, “Kaakano nnaagolokoka, kaakano nnaagulumizibwa, kaakano nnaayimusibwa waggulu.
11 Ye shall conceive chaff, ye shall bring forth stubble: your breath, as fire, shall devour you.
Ofuna olubuto olw’ebisusunku, ozaala ssubi, omukka gwo, muliro ogukusaanyaawo.
12 And the people shall be as the burnings of lime: as thorns cut up shall they be burned in the fire.
Abantu balyokebwa nga layimu bw’ayokebwa, balyokebwa omuliro ng’ebisaka by’amaggwa amasale.”
13 Hear, ye that are far off, what I have done; and, ye that are near, acknowledge my might.
Mmwe abali ewala, mutegeere kye nkoze. Mmwe abali okumpi, mukkirize amaanyi gange.
14 The sinners in Zion are afraid; fearfulness hath surprised the hypocrites. Who among us shall dwell with the devouring fire? who among us shall dwell with everlasting burnings?
Abakozi b’ebibi ab’omu Sayuuni batidde, okutya kujjidde abatalina Katonda. “Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogusaanyaawo? Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogutaliggwaawo?”
15 He that walketh righteously, and speaketh uprightly; he that despiseth the gain of oppressions, that shaketh his hands from holding of bribes, that stoppeth his ears from hearing of blood, and shutteth his eyes from seeing evil;
Atambulira mu butuukirivu, n’ayogera ebituufu, oyo atatwala magoba agava mu bubbi, n’akuuma emikono gye obutakkiriza nguzi, aziba amatu ge n’atawulira ntegeka za kutta, n’aziba amaaso ge obutalaba nteekateeka ezitali za butuukirivu,
16 He shall dwell on high: his place of defence shall be the munitions of rocks: bread shall be given him; his waters shall be sure.
ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu, n’obuddukiro bwe buliba ebigo eby’omu nsozi. Aliweebwa emmere, n’amazzi tegalimuggwaako.
17 Thine eyes shall see the king in his beauty: they shall behold the land that is very far off.
Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe, ne galaba ensi eyeewala.
18 Thine heart shall meditate terror. Where is the scribe? where is the receiver? where is he that counted the towers?
Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti, “Omukungu omukulu ali ludda wa? Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo? Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?”
19 Thou shalt not see a fierce people, a people of a deeper speech than thou canst perceive; of a stammering tongue, that thou canst not understand.
Toliddayo kulaba bantu abo ab’amalala, abantu ab’olulimi olutamanyiddwa, olulimi olutategeerekeka.
20 Look upon Zion, the city of our solemnities: thine eyes shall see Jerusalem a quiet habitation, a tabernacle that shall not be taken down; not one of the stakes thereof shall ever be removed, neither shall any of the cords thereof be broken.
Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe, amaaso go galiraba Yerusaalemi, ekifo eky’emirembe, eweema etalisimbulwa enkondo zaayo tezirisimbulwa, newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa.
21 But there the glorious Yhwh will be unto us a place of broad rivers and streams; wherein shall go no galley with oars, neither shall gallant ship pass thereby.
Weewaawo Mukama aliba Amaanyi gaffe era aliba ekifo eky’emigga emigazi n’ensulo engazi. Temuliyitamu lyato newaakubadde ekyombo ekinene tekiriseeyeeyeramu.
22 For Yhwh is our judge, Yhwh is our lawgiver, Yhwh is our king; he will save us.
Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama y’atuwa amateeka, Mukama ye Kabaka waffe, y’alitulokola.
23 Thy tacklings are loosed; they could not well strengthen their mast, they could not spread the sail: then is the prey of a great spoil divided; the lame take the prey.
Emiguwa gyo gisumulukuse n’omulongooti si munywevu, n’ettanga si lyanjuluze. Awo omugabo omungi guligabanyizibwamu, n’abalala balitwala eby’omunyago.
24 And the inhabitant shall not say, I am sick: the people that dwell therein shall be forgiven their iniquity.
Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, “Ndi mulwadde,” n’abo ababeeramu balisonyiyibwa ekibi kyabwe.

< Isaiah 33 >