< Romans 12 >
1 I BESEECH you therefore, brethren, by the mercies of God, that ye present your bodies a living sacrifice, holy, acceptable unto God, which is your reasonable service.
Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo.
2 And be not conformed to this world: but be ye transformed by the renewing of your mind, that ye may prove what is that good, and acceptable, and perfect, will of God. (aiōn )
So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima. (aiōn )
3 For I say, through the grace given unto me, to every man that is among you, not to think of himself more highly than he ought to think; but to think soberly, according as God hath dealt to every man the measure of faith.
Kubanga njogera olw’ekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo ky’asaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza.
4 For as we have many members in one body, and all members have not the same office:
Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo.
5 So we, being many, are one body in Christ, and every one members one of another.
Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo.
6 Having then gifts differing according to the grace that is given to us, whether prophecy, let us prophesy according to the proportion of faith;
Tulina ebirabo, ng’ekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri ey’enjawulo, oba bunnabbi, ng’ekigera ky’okukkiriza bwe kiri,
7 Or ministry, let us wait on our ministering: or he that teacheth, on teaching;
oba buweereza, mu buweereza, oba omu okuyigiriza, mu kuyigiriza;
8 Or he that exhorteth, on exhortation: he that giveth, let him do it with simplicity; he that ruleth, with diligence; he that sheweth mercy, with cheerfulness.
oba omulala okugumya banne mu kubazzaamu amaanyi, oba omulala mu kugaba, oba omulala, okufuga n’obunyiikivu, n’omulala okulaga ekisa nga musanyufu.
9 Let love be without dissimulation. Abhor that which is evil; cleave to that which is good.
Mube n’okwagala okutaliimu bukuusa. Mukyawenga ekibi, munywererenga ku kirungi,
10 Be kindly affectioned one to another with brotherly love; in honour preferring one another;
nga mwagalana mu kwagala okw’abooluganda, nga muwaŋŋana ekitiibwa,
11 Not slothful in business; fervent in spirit; serving the Lord;
mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama,
12 Rejoicing in hope; patient in tribulation; continuing instant in prayer;
nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba.
13 Distributing to the necessity of saints; given to hospitality.
Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.
14 Bless them which persecute you: bless, and curse not.
Musabirenga ababayigganya; mubasabirenga so temubakolimiranga.
15 Rejoice with them that do rejoice, and weep with them that weep.
Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba.
16 Be of the same mind one toward another. Mind not high things, but condescend to men of low estate. Be not wise in your own conceits.
Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
17 Recompense to no man evil for evil. Provide things honest in the sight of all men.
Temusasulanga kibi olw’ekibi, naye mukolenga birungi byereere eri bonna.
18 If it be possible, as much as lieth in you, live peaceably with all men.
Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna;
19 Dearly beloved, avenge not yourselves, but rather give place unto wrath: for it is written, Vengeance is mine; I will repay, saith the Lord.
abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula,” bw’ayogera Mukama.
20 Therefore if thine enemy hunger, feed him; if he thirst, give him drink: for in so doing thou shalt heap coals of fire on his head.
“Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.”
21 Be not overcome of evil, but overcome evil with good.
Towangulwanga kibi, naye wangulanga ekibi ng’okola obulungi.