< Song of Solomon 4 >
1 Behold, thou art fair, my love; behold, thou art fair; thine eyes are as doves behind thy veil; thy hair is as a flock of goats, that trail down from mount Gilead.
Ng’olabika bulungi, gwe njagala, laba ondabikidde bulungi. Amaaso go mayiba mu lugoye mw’ogabisse. Enviiri zo ziri ng’eggana ly’embuzi eziserengeta okuva ku lusozi Gireyaadi.
2 Thy teeth are like a flock of ewes all shaped alike, which are come up from the washing; whereof all are paired, and none faileth among them.
Amannyo go gali ng’ekisibo ky’endiga nga kye zijje zisalibweko ebyoya, nga ziva okunaazibwa. Buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo, so tewali eri yokka.
3 Thy lips are like a thread of scarlet, and thy mouth is comely; thy temples are like a pomegranate split open behind thy veil.
Emimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu; n’akamwa ko kandabikira bulungi. Amatama go mu lugoye lw’ogabisseeko gali ng’ekitundu ky’ekkomamawanga.
4 Thy neck is like the tower of David builded with turrets, whereon there hang a thousand shields, all the armour of the mighty men.
Ensingo yo eri ng’omulongooti gwa Dawudi, ogwatereezebwa obulungi; ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi, zonna nga ngabo z’abasajja abalwanyi.
5 Thy two breasts are like two fawns that are twins of a gazelle, which feed among the lilies.
Amabeere go gombi gali ng’abaana b’empeewo, ab’empeewo, nga balongo, abaliira mu malanga.
6 Until the day breathe, and the shadows flee away, I will get me to the mountain of myrrh, and to the hill of frankincense.
Okutuusa obudde nga bukedde, n’ebisiikirize nga biweddewo, ndigenda ku lusozi olunene olwa mooli ne ku kasozi ak’omugavu.
7 Thou art all fair, my love; and there is no spot in thee.
Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange, toliiko bbala na limu.
8 Come with me from Lebanon, my bride, with me from Lebanon; look from the top of Amana, from the top of Senir and Hermon, from the lions' dens, from the mountains of the leopards.
Jjangu tuve mu Lebanooni, omugole wange, jjangu tuve mu Lebanooni. Lengera okuva ku ntikko ya Amana, n’okuva ku ntikko ya Seniri ne ku ntikko ya Kerumooni, n’okuva mu mpuku ey’empologoma, ne ku nsozi ez’engo.
9 Thou hast ravished my heart, my sister, my bride; thou hast ravished my heart with one of thine eyes, with one bead of thy necklace.
Osenzesenze omutima gwange, mwannyinaze, omugole wange; otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso lyo gy’onkubye, n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.
10 How fair is thy love, my sister, my bride! how much better is thy love than wine! and the smell of thine ointments than all manner of spices!
Ng’okwagala kwo kulungi mwannyinaze, omugole wange, okwagala kwo nga kusinga nnyo envinnyo, n’akawoowo ak’amafuta go kasinga eby’akawoowo eby’engeri zonna obulungi.
11 Thy lips, O my bride, drop honey — honey and milk are under thy tongue; and the smell of thy garments is like the smell of Lebanon.
Emimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange; amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo. Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.
12 A garden shut up is my sister, my bride; a spring shut up, a fountain sealed.
Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange, era oli luzzi olwasibibwa, ensulo eyateekebwako akabonero.
13 Thy shoots are a park of pomegranates, with precious fruits; henna with spikenard plants,
Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga, erina ebibala byonna eby’omuwendo, ne kofera n’emiti egy’omugavu
14 Spikenard and saffron, calamus and cinnamon, with all trees of frankincense; myrrh and aloes, with all the chief spices.
n’omugavu ne kalikomu, ne kalamo ne kinamoni, n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna, ne mooli ne alowe, wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
15 Thou art a fountain of gardens, a well of living waters, and flowing streams from Lebanon.
Oli nsulo ya nnimiro, oluzzi olw’amazzi amalamu, olukulukuta okuva mu Lebanooni.
16 Awake, O north wind; and come, thou south; blow upon my garden, that the spices thereof may flow out. Let my beloved come into his garden, and eat his precious fruits.
Zuukuka gwe empewo ey’obukiikakkono, naawe empewo ey’obukiikaddyo jjangu. Mukuntire ku nnimiro yange, akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna, Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye, alye ebibala byamu eby’omuwendo.