< Nahum 1 >

1 THE BURDEN of Nineveh. The book of the vision of Nahum the Elkoshite.
Kuno kwe kwolesebwa Katonda kwe yalaga Nakkumu, Omwerukoosi okukwata ku bibambulira ebyali bijjira Nineeve.
2 The LORD is a jealous and avenging God, the LORD avengeth and is full of wrath; the LORD taketh vengeance on His adversaries, and He reserveth wrath for His enemies.
Katonda wa buggya era Mukama awalana eggwanga. Mukama awalana eggwanga era ajudde ekiruyi. Mukama yeesasuza ku balabe be era aterekera abamuwakanya obusungu bwe.
3 The LORD is long-suffering, and great in power, and will by no means clear the guilty; the LORD, in the whirlwind and in the storm is His way, and the clouds are the dust of His feet.
Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi era tayinza n’akatono butabonereza oyo gwe gusinze. Ekkubo lye liri mu mpewo ey’akazimu ne mu kibuyaga, n’ebire ye nfuufu y’ebigere bye.
4 He rebuketh the sea, and maketh it dry, and drieth up all the rivers; Bashan languisheth, and Carmel, and the flower of Lebanon languisheth.
Akangavvula ennyanja n’agikaza era akaza emigga gyonna, ennimiro ez’omu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse, n’ebimuli bya Lebanooni biwotose.
5 The mountains quake at Him, and the hills melt; and the earth is upheaved at His presence, yea, the world, and all that dwell therein.
Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda, obusozi ne busaanuuka, ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge, ensi n’ekankana n’abantu bonna abagirimu.
6 Who can stand before His indignation? And who can abide in the fierceness of His anger? His fury is poured out like fire, and the rocks are broken asunder before Him.
Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde? Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi? Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro, n’enjazi n’eziyatikayatika.
7 The LORD is good, a stronghold in the day of trouble; and He knoweth them that take refuge in Him.
Mukama mulungi, kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, era alabirira abo bonna abamwesiga.
8 But with an overrunning flood He will make a full end of the place thereof, and darkness shall pursue His enemies.
Naye alisaanyaawo abalabe be mu mataba amazibu, ekizikiza kiribawondera.
9 What do ye devise against the LORD? He will make a full end; trouble shall not rise up the second time.
Buli kye mwekobaana okukola Mukama, alikikomya. Akabi tekalijja mulundi gwakubiri.
10 For though they be like tangled thorns, and be drunken according to their drink, they shall be devoured as stubble fully dry.
Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye, era nga batamidde, balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.
11 Out of thee came he forth, that deviseth evil against the LORD, that counselleth wickedness.
Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu alowooza akabi era ateesa ebibi ku Mukama.
12 Thus saith the LORD: Though they be in full strength, and likewise many, even so shall they be cut down, and he shall pass away; and though I have afflicted thee, I will afflict thee no more.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Newaakubadde nga balina be bakolagana nabo bangi, ate nga bangi, balizikirizibwa ne baggwaawo. Newaakubadde nga mbabonereza mmwe abantu bange, siriddayo kukikola nate.
13 And now will I break his yoke from off thee, and will burst thy bonds in sunder.
Kaakano nzija kumenya ekikoligo kyabwe nkibaggyeko era n’ebibasibye nnaabikutulakutula.”
14 And the LORD hath given commandment concerning thee, that no more of thy name be sown; out of the house of thy god will I cut off the graven image and the molten image; I will make thy grave; for thou art become worthless.
Kino Mukama ky’alagidde ekikwata ku Nineeve: “Erinnya lyo terikyayala nate. Ndizikiriza ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse ebiri mu masabo g’abakatonda bo; ndisima entaana yo kubanga oyinze obugwagwa.”
15 Behold upon the mountains the feet of him that bringeth good tidings, that announceth peace! Keep thy feasts, O Judah, perform thy vows; for the wicked one shall no more pass through thee; he is utterly cut off.
Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba, ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi, alangirira emirembe. Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu, era otuukirize obweyamo bwo; omubi kaakano takyakulumba, azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.

< Nahum 1 >