< Colossians 3 >

1 IF ye then be risen with Christ, seek the things which are above, where Christ is seated at the right hand of God.
Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
2 Fix your minds on things above, not on things on the earth.
Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi,
3 For ye are dead, and your life is hid with Christ in God.
kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda.
4 When Christ shall appear, who is our life, then shall you also with him be manifested in glory.
Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.
5 Mortify therefore your members which are on the earth, fornication, impurity, the vile passion, evil concupiscence, and insatiable desire, which is idolatry:
Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala.
6 for which things the wrath of God cometh upon the children of disobedience;
Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo,
7 in which ye also walked formerly when ye lived among them:
ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga.
8 but now ye have put away all these things, anger, asperity, malice, scandal, obscenity, out of your mouth.
Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi.
9 Lie not one to another, seeing ye have put off the old man with his practices;
Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye,
10 and have put on the new man, which is renewed in knowledge, after the image of him that created him.
ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera.
11 Where there is no difference whether a man be Greek or Jew, circumcised or uncircumcised, barbarian or Scythian, slave or freeman: but Christ is all and in all.
Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.
12 Put on therefore, as the elect of God, holy and beloved, bowels of mercies, kindness, humility, meekness, long-suffering;
Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza.
13 forbearing one another, and freely forgiving one another, if any man hath a complaint against another: even as Christ hath freely forgiven you, so also do ye.
Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga.
14 But above all these things put on love, which is the bond of perfection.
Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
15 And let the peace of God set up its throne in your hearts, whereunto also ye have been called in one body; and be ye thankful.
N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.
16 Let the word of Christ dwell in you richly in all wisdom, teaching and admonishing yourselves in psalms, and hymns, and spiritual canticles, singing with grace in your heart unto the Lord.
Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.
17 And everything that ye do in word or in work, do all in the name of the Lord Jesus, giving thanks to God and the Father by him.
Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
18 Wives be subject to your own husbands, as is fit in the Lord.
Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.
19 Husbands, love your wives, and use no asperity against them.
Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.
20 Children, be obedient to your parents in all things; for this is well-pleasing to the Lord.
Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.
21 Parents, irritate not your children, lest their spirit be broken.
Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.
22 Servants, obey in all things your masters after the flesh, not with eye-service as men-pleasers, but, in simplicity of heart, fearing God.
Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe.
23 And in every thing that ye do, labour from the soul, as for the Lord, and not man;
Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu,
24 knowing that from the Lord ye shall receive the reward of the inheritance: for ye are servants to the Lord Christ.
nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo;
25 But he that is guilty of injustice shall receive punishment for the wrong he hath done: and there is no respect of persons.
kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

< Colossians 3 >