< Romans 14 >
1 Him that is weake in the faith, receiue vnto you, but not for controuersies of disputations.
Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango.
2 One beleeueth that he may eate of all things: and another, which is weake, eateth herbes.
Wabaawo omuntu omu akkiririza mu kulya ebintu byonna, nga so ye omunafu akoma ku nva kwokka.
3 Let not him that eateth, despise him that eateth not: and let not him which eateth not, condemne him that eateth: for God hath receiued him.
Omuntu asalawo okubaako ky’alya tanyoomanga atakirya, n’oyo atalya kintu alemenga kusalira musango oyo akirya kubanga Katonda yamusembeza.
4 Who art thou that condemnest another mans seruant? hee standeth or falleth to his owne master: yea, he shalbe established: for God is able to make him stand.
Ggwe ani asalira omusango omuweereza w’omuntu omulala? Mukama we y’amanya oba atuukiriza emirimu gye oba tagituukiriza. Naye aligituukiriza kubanga Mukama we alimusobozesa.
5 This man esteemeth one day aboue another day, and another man counteth euery day alike: let euery man be fully perswaded in his minde.
Omuntu omu agulumiza olunaku olumu okusinga olulala, naye omulala n’alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Noolwekyo buli muntu anywererenga ku ky’alowooza bwe kiba nga kye kituufu.
6 He that obserueth the day, obserueth it to the Lord: and he that obserueth not the day, obserueth it not to the Lord. He that eateth, eateth to the Lord: for he giueth God thankes: and he that eateth not, eateth not to the Lord, and giueth God thankes.
Akuza olunaku aba alukuza eri Mukama. Oyo alya aba alya ku bwa Mukama, kubanga aba agulumiza Katonda. N’oyo atalya aba talya ku bwa Mukama, era aba agulumiza Katonda.
7 For none of vs liueth to himselfe, neither doeth any die to himselfe.
Kubanga tewali n’omu ku ffe abeera omulamu ku bubwe yekka, era tewali n’omu afa ku lulwe.
8 For whether wee liue, we liue vnto the Lord: or whether we die, we die vnto the Lord: whether we liue therefore, or die, we are the Lords.
Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama.
9 For Christ therefore died and rose againe, and reuiued, that he might be Lord both of the dead and the quicke.
Kubanga ekyo Kristo kye yafiira ate n’abeera omulamu, alyoke abeere Mukama w’abo abaafa era n’abalamu.
10 But why doest thou condemne thy brother? or why doest thou despise thy brother? for we shall all appeare before the iudgement seate of Christ.
Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso g’entebe ya Katonda, ey’okulamula.
11 For it is written, I liue, sayth the Lord, and euery knee shall bowe to me, and all tongues shall confesse vnto God.
Kubanga kyawandiikibwa nti, “‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Mukama, ‘buli vviivi lirinfukaamirira era na buli lulimi lulyatula Katonda.’”
12 So then euery one of vs shall giue accounts of himselfe to God.
Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.
13 Let vs not therefore iudge one another any more: but vse your iudgement rather in this, that no man put an occasion to fall, or a stumbling blocke before his brother.
Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi.
14 I know, and am perswaded through the Lord Iesus, that there is nothing vncleane of it selfe: but vnto him that iudgeth any thing to be vncleane, to him it is vncleane.
Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo.
15 But if thy brother be grieued for the meate, nowe walkest thou not charitably: destroy not him with thy meate, for whome Christ dyed.
Kubanga obanga muganda wo anakuwala olw’ekyo ky’olya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna ky’omanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira.
16 Cause not your commoditie to be euill spoken of.
Ekirungi ekiri mu mmwe kireme okuvumibwa.
17 For the kingdome of God, is not meate nor drinke, but righteousnes, and peace, and ioye in the holy Ghost.
Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu.
18 For whosoeuer in these things serueth Christ, is acceptable vnto God, and is approoued of men.
Kubanga aweereza Kristo mu ebyo asanyusa nnyo Katonda era asiimibwa abantu.
19 Let vs then follow those things which concerne peace, and wherewith one may edifie another.
Noolwekyo tunyiikirirenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagana ffekka ne ffekka.
20 Destroy not the worke of God for meates sake: all things in deede are pure: but it is euill for the man which eateth with offence.
Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw’emmere. Ebintu byonna birongoofu, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera omulala okwesittala.
21 It is good neither to eate flesh, nor to drinke wine, nor any thing whereby thy brother stumbleth, or is offended, or made weake.
Kirungi obutalya nnyama newaakubadde okunywa wayini newaakubadde ekintu kyonna ekyesittaza muganda wo.
22 Hast thou faith? haue it with thy selfe before God: blessed is hee that condemneth not himselfe in that thing which he aloweth.
Ky’okkiririzaamu mu kulya kikuume nga kya kyama ne Katonda. Alina omukisa ateesalira musango kumusinga mu ekyo ky’alowooza nga kituufu.
23 For he that doubteth, is condemned if he eate, because he eateth not of faith: and whatsoeuer is not of faith, is sinne.
Naye oyo abuusabuusa bw’alya, omusango gumaze okumusinga, kubanga talya lwa kukkiriza, era na buli ekitava mu kukkiriza kiba kibi.