< Psalms 42 >

1 For the music director. A psalm (maskil) of the sons of Korah. As a deer longs for flowing streams, so I long for you, God.
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola. Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi, n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
2 I am thirsty for God, the living God. When can I go and see God's face?
Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu. Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
3 My tears have been my only food, day and night, while people ask me all day long, “Where is your God?”
Nkaabirira Mukama emisana n’ekiro. Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro, abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
4 I am crushed as I remember how I walked with the crowds, leading them in a procession to the house of God, with shouts of joy and songs of thanks among the worshipers at the festival.
Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene, ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu, nga tugenda mu nnyumba ya Katonda, nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.
5 Why am I so discouraged? Why do I feel so sad? I will hope in God; I will praise him because he is the one who saves me—
Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Essuubi lyo liteeke mu Katonda, kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange; ye mubeezi wange.
6 my God! Even though I am very discouraged, I still remember you: from the land of Jordan and Hermon, and from Mount Mizar.
Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise, yeeraliikiridde; naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni ne ku Lusozi Mizali.
7 You thunder through the raging waters, through the noise of the waterfalls. Your crashing waves surge over me—I feel like I'm drowning.
Obuziba bukoowoola obuziba, olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro amayengo n’amasingisira go bimpiseeko.
8 But every day the Lord shows me his trustworthy love; every night he gives me songs to sing—a prayer to the God of my life.
Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro ne muyimbira oluyimba lwe; y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.
9 I cry out, “My God, my rock, why have you forgotten me? Why must I go around weeping because of the attacks of my enemies?”
Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti, “Lwaki onneerabidde? Lwaki ŋŋenda nkungubaga olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 The mocking of my attackers crushes my bones. They're always asking me, “Where is your God?”
Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange bancocca, nga bwe bagamba buli kiseera nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
11 Why am I so discouraged? Why do I feel so sad? I will hope in God; I will praise him because he is the one who saves me—my God!
Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange? Lwaki otabusetabuse mu nda yange? Weesigenga Katonda, kubanga nnaamutenderezanga, Omulokozi wange era ye Katonda wange.

< Psalms 42 >