< Genesis 35 >

1 Then God told Jacob, “Get ready to go to Bethel and live there. Build an altar there to God, who appeared to you when you were running away from your brother Esau.”
Katonda n’agamba Yakobo nti, “Golokoka oyambuke e Beseri, obeere eyo, ozimbire Katonda ekyoto, eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.”
2 So Jacob told his family and everyone who was with him, “Get rid of the pagan idols you have with you. Purify yourselves and change your clothes.
Awo Yakobo n’agamba ab’omu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe,
3 We have to get ready and go to Bethel so I can build an altar to God who answered me in my time of trouble. He has been with me wherever I went.”
tulyoke twambuke tugende e Beseri ndyoke nzimbire Katonda ekyoto, Katonda eyanziramu mu nnaku ez’okunakuwala kwange, era abadde nange buli gye ŋŋenze.
4 They handed over to Jacob all the pagan idols they had, as well as their earrings, and he buried them under the oak tree at Shechem.
Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina, n’empeta ezaali ku matu gaabwe; Yakobo n’abiziika wansi w’omuvule ogwali okumpi ne Sekemu.”
5 As they left on their journey, the terror of God spread over all the surrounding towns, so nobody tried to retaliate against Jacob's sons.
Bwe baali batambula, entiisa ya Katonda n’egwa ku bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batagoberera baana ba Yakobo.
6 Jacob and everyone with him arrived at Luz (also known as Bethel) in the country of Canaan.
Yakobo n’ajja e Luzi, ye Beseri, ekiri mu nsi ya Kanani, ye n’abantu bonna abaali naye.
7 He built an altar there and called the place El-Bethel, because that was where God had appeared to him when he was running away from his brother Esau.
N’azimba eyo ekyoto, n’akituuma Erubeeseeri. Kubanga eyo Katonda gye yamweragira bwe yadduka muganda we.
8 Deborah, Rebekah's nurse, died and was buried under the oak near Bethel. So it was named “the oak of weeping.”
Debola omujjanjabi wa Lebbeeka n’afa n’aziikibwa wansi w’omuvule, wansi wa Beseri kyekyava kiyitibwa Alooninakusi.
9 God appeared to Jacob again and blessed him after his return from Paddan-aram.
Yakobo bwe yava mu Padanalaamu Katonda n’amulabikira, n’amuwa omukisa.
10 God told him, “Jacob will not be your name any longer. Instead of Jacob your name will be Israel.” So God called him Israel.
Katonda n’amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, erinnya lyo linaabanga Isirayiri.” Bwe kityo erinnya lye ne liba Isirayiri.
11 Then God said, “I am God Almighty! Reproduce, increase, and you will become a nation—in fact a group of nations—and kings will be among your descendants.
Katonda n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna: zaala oyale, eggwanga n’enkuyanja y’amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka balisibuka mu ggwe.
12 I will give to you and to your descendants the land I also gave to Abraham and Isaac.”
Ensi gye nawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa n’ezzadde lyo eririddawo.”
13 Then God left the place where he had been speaking to Jacob.
Awo Katonda n’alinnya okuva waali mu kifo we yayogerera naye.
14 Afterwards Jacob set up a stone pillar where God had spoken with him. He poured out a drink offering on it, and also olive oil.
Yakobo n’asimba empagi mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, empagi ey’ejjinja; n’agiyiwako ekiweebwayo ekyokunywa, n’ayiwako n’amafuta.
15 Jacob called the place Bethel, because he had spoken with God there.
Yakobo ekifo Katonda we yayogerera naye n’akiyita Beseri.
16 Then they moved on from Bethel. While they were still some distance from Ephrath, Rachel went into labor and had great difficulty giving birth.
Bwe baava e Beseri, era nga bakyali walako okuva Efulasi, Laakeeri n’alumwa, n’alumwa ddala nnyo.
17 When she was in the worst birth-pains, the midwife told her, “Don't give up—you have another son!”
Bwe yali ng’alumwa bw’atyo omuzaalisa n’amugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.”
18 But she was dying, and with her last breath she named him Benoni. But his father named him Benjamin.
Omwoyo bwe gwali gumuggwaamu ng’afa, n’amutuuma Benoni, naye kitaawe n’amuyita Benyamini.
19 Rachel died and was buried on the way to Ephrath (also known as Bethlehem).
Awo Laakeeri n’afa n’aziikibwa ku kkubo erigenda Efulasi (ye Besirekemu).
20 Jacob set up a stone memorial over Rachel's grave, and it's still there to this day.
Yakobo n’asimba empagi ku malaalo ge, y’empagi y’amalaalo ga Laakeeri, ekyaliwo n’okutuusa kaakano.
21 Israel moved on and camped beyond the watch tower at Eder.
Isirayiri ne yeeyongera okutambula, n’akuba eweema ye, emabega w’omunaala gwa Ederi.
22 During the time he was living there, Reuben went and slept with Bilhah, his father's concubine, and Israel found out about it. These were the twelve sons of Jacob:
Isirayiri bwe yali ng’ali mu nsi omwo Lewubeeni n’agenda ne yeebaka ne Biira omuweereza wa kitaawe, Isirayiri n’akiwulira. Batabani ba Yakobo baali kkumi n’ababiri.
23 The sons of Leah: Reuben (Jacob's firstborn), Simeon, Levi, Judah, Issachar, and Zebulun.
Batabani ba Leeya baali: Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali ne Zebbulooni.
24 The sons of Rachel: Joseph and Benjamin.
Batabani ba Laakeeri ye: Yusufu ne Benyamini.
25 The sons of Rachel's personal maid Bilhah: Dan and Naphtali.
Batabani ba Biira, omuweereza wa Laakeeri be ba: Ddaani ne Nafutaali.
26 The sons of Leah's personal maid Zilpah: Gad and Asher. These were the sons of Jacob, who were born to him while in Paddan-aram.
Batabani ba Zirupa omuweereza wa Leeya be ba: Gaadi ne Aseri. Bano be batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa mu Padanalaamu.
27 Jacob returned home to his father Isaac at Mamre, near Kiriath-arba (also known as Hebron), where Abraham and Isaac had lived.
Awo Yakobo n’ajja eri kitaawe Isaaka e Mamule, oba Kiriyasaluba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga.
28 Isaac lived to be 180
Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana.
29 when he breathed his last and died at an old age. He had lived a full life, and now he joined his forefathers in death. His sons Esau and Jacob buried him.
Isaaka n’afa ng’akaddiye nnyo n’agenda abantu be gye bagenda, ng’amaze ennaku nnyingi, batabani be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.

< Genesis 35 >