< Ezra 1 >
1 In order to fulfill the Lord's prophecy given through Jeremiah, the Lord encouraged Cyrus, king of Persia, to issue a proclamation throughout his kingdom and also to put it in writing, saying,
Awo mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka wa Buperusi, ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya ne kituukirira, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka w’e Buperusi okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okukiteeka mu buwandiike nti,
2 “This is what Cyrus king of Persia says: ‘The Lord, the God of heaven, who has given to me all the kingdoms of the earth, has given me the responsibility to build a Temple for him at Jerusalem in Judah.
“Bw’ati bw’ayogera Kuulo kabaka w’e Buperusi nti, “‘Obwakabaka bwonna obw’omu nsi Mukama Katonda w’eggulu abumpadde, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda.
3 Anyone among you who belongs to his people can go to Jerusalem in Judah to rebuild this Temple of the Lord, the God of Israel, who lives in Jerusalem. May your God be with you.
Omuntu yenna mu mmwe abantu be, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi mu Yuda addaabirize yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, Katonda ali mu Yerusaalemi.
4 Wherever survivors are currently living, let them be helped by the people that region with silver, gold, goods, and livestock, together with a voluntary donation for God's Temple in Jerusalem.’”
Na buli Muyisirayiri eyasigalawo gy’ali, abantu abo baabeeramu, banaamuwa ffeeza ne zaabu, n’ebintu n’ebisolo ebirundibwa, obutasaako ebiweebwayo bye bawaayo ku bwabwe ebya yeekaalu ya Katonda eri mu Yerusaalemi.’”
5 Then God encouraged the family leaders of Judah and Benjamin, as well as the priests and Levites to go and rebuild the Lord's Temple in Jerusalem.
Awo abakulu b’ennyumba za Yuda ne Benyamini, ne bakabona, n’Abaleevi, na buli muntu Katonda gwe yakubiriza, ne beeteekateeka okwambuka okugenda okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama eri mu Yerusaalemi.
6 All their neighbors supported them with gifts of silver and gold, with goods and livestock, and with other valuable items, in addition to all their voluntary donations.
Baliraanwa baabwe bonna ne babawa ebintu ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu ebirala n’ebisolo ebirundibwa, n’ebirabo eby’omuwendo omungi, okwo nga kwe kuli ebiweebwayo bye baawaayo nga beeyagalidde.
7 King Cyrus also retrieved the items belonging to the Lord's Temple that Nebuchadnezzar had taken from Jerusalem and placed in the temple of his god.
Ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, Nebukadduneeza bye yanyaga mu Yerusaalemi n’abiteeka mu ssabo lya bakatonda be, Kabaka Kuulo, n’abiggyayo.
8 Cyrus had Mithredath the treasurer retrieve them, who counted them and gave them to Sheshbazzar, the leader of Judah.
Kuulo kabaka w’e Buperusi n’abikwasa Misuledasi omuwanika, eyabikwasa Sesubazzali omulangira wa Yuda.
9 This was the list: 30 gold basins, 1,000 silver basins, 29 silver silverware,
Guno gwe gwali omuwendo gwabyo: Esowaani eza zaabu amakumi asatu 30, Esowaani eza ffeeza lukumi 1,000, Ebiso ebya ffeeza amakumi abiri mu mwenda 29,
10 30 gold bowls, 410 matching silver bowls, and 1,000 other items.
Ebibya ebya zaabu amakumi asatu 30, n’ebibya ebya ffeeza ebigenderako ebikumi bina mu kumi 410, n’ebintu ebirala lukumi 1,000.
11 In total there were 5,400 gold and silver items. When the exiles left Babylon to go to Jerusalem Sheshbazzar took all these along with them.
Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina. Sesubazzali n’agenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse.