< Exodus 25 >

1 The Lord told Moses,
Mukama n’ayogera ne Musa nti,
2 “Instruct the Israelites to bring me an offering. You are to receive my offering from everyone who willingly wants to give.
“Gamba abaana ba Isirayiri bandeetere ekiweebwayo. Buli muntu aleete ekiweebwayo ng’okuteesa kw’omutima gwe bwe kuli, okimunzijireko.
3 These are the items you are to accept from them as contributions: gold, silver, and bronze;
“Bino bye biweebwayo bye banaakukwasa: “zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;
4 blue, purple, and crimson thread; finely-spun linen and goat hair;
n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi; n’obwoya bw’embuzi,
5 ram skins that have been tanned, and fine leather; acacia wood;
n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi; n’embaawo z’omuti gwa akasiya;
6 olive oil for the lamps; spices for the olive oil used in anointing and for the fragrant incense;
n’amafuta g’ettaala; n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza;
7 and onyx stones and other gemstones to be used in making the ephod and breastpiece.
n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, era ne ku kyomukifuba.
8 They are to make me a sanctuary so I can live among them.
“Bankolere ekifo ekitukuvu ndyoke mbeerenga wakati mu bo.
9 You must make the Tabernacle and all its furnishings according to design I'm going to show you.
Mukole Eweema ya Mukama eyo entukuvu n’ebigibeeramu byonna nga bwe nnaabalagirira.
10 They are to make an Ark of acacia wood that measures two and a half cubits long by a cubit and a half wide by one and a half cubits high.
“Bakole essanduuko mu muti gwa akasiya, obuwanvu mita emu ne sentimita kkumi na ssatu, obugazi sentimita nkaaga mu musanvu n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu.
11 Cover it with pure gold on the inside and the outside, and make a gold trim to go around it.
Ogiteekeko zaabu omuka ennyo munda ne kungulu, era ogyetoolooze omuge ogwa zaabu.
12 Cast four gold rings and attach them to its four feet, two on one side and two on the other.
Ogiweeseze empeta nnya eza zaabu ozisibe ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda olumu, n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala.
13 Make poles of acacia wood and cover them with gold.
Obajje emisituliro mu muti ogwa akasiya, ogibikkeko zaabu.
14 Place the poles into the rings on the sides of the Ark, so it can be carried.
Ogisonseke mu mpeta eziri ku ssanduuko, okusituzanga essanduuko.
15 The poles are to stay in the rings of the Ark; don't take them out.
Emisituliro egyo ginaalekebwanga mu mpeta ze ssanduuko, si zaakuggyangamu.
16 Place inside the Ark the Testimony which I'm going to give you.
Mu ssanduuko omwo mw’onossa Amateeka ge nnaakuwa.
17 You are to make an atonement cover of pure gold, two and a half cubits long by a cubit and a half wide.
“Okolereko ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu.
18 Make two cherubim of hammered gold for the ends of the atonement cover,
Era okolereko ebifaananyi bya bakerubi babiri mu zaabu empeese, ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira.
19 and put one cherub on each end. All of this is to be made from one piece of gold.
Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olw’ekisaanikira, n’ekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu n’ekisaanikira.
20 The cherubim are to be designed with spread wings pointing upward, covering the atonement cover. The cherubim are to be placed facing each another, looking down towards the atonement cover.
Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira.
21 Place the atonement cover on top of the Ark, and put the Testimony that I'm going to give you inside the Ark.
Ekisaanikira onookissa kungulu ku Ssanduuko; ekiwandiiko eky’Endagaano ey’Amateeka kye nnaakuwa, okisse munda mu Ssanduuko.
22 I will meet with you there as arranged above the atonement cover, between the two cherubim that stand over the Ark of the Testimony, and I will talk with you about all the commands I will give the Israelites.
Awo waggulu w’ekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko ey’Endagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.
23 Then you are to make a table of acacia wood two cubits long by a cubit wide by a cubit and a half high.
“Okole emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu.
24 Cover it with pure gold and make a gold trim to go around it.
Ogibikkeko zaabu omuka ennyo; era ogyetoolooze ne zaabu omuge gwonna.
25 Make a border around it the width of a hand and put a gold trim on the border.
Era ogyetoolooze olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwetooloola olukugiro olwo.
26 Make four gold rings for the table and attach them to the four corners of the table by the legs.
Ogikolere empeta nnya eza zaabu, ozisibe mu nsonda ennya awali amagulu ana.
27 The rings are to be close to the border to hold the poles used to carry the table.
Empeta zijja kubeera waggulu okumpi n’omuge, emisituliro gy’emmeeza mwe ginaayisibwa.
28 Make the poles of acacia wood for carrying the table and cover them with gold.
Okole emisituliro mu muti gwa akasiya, ogibikkeko zaabu, egyo emmeeza kw’eneesitulirwanga.
29 Make plates and dishes for the table, as well as pitchers and bowls for pouring out drink offerings. Make all of them out of pure gold.
Era ogikolere essowaani eza zaabu, n’ebijiiko ebya zaabu, n’ensuwa eza zaabu, n’ebibya ebya zaabu eby’okufukanga ebiweebwayo.
30 Place the Bread of the Presence on the table so it is always in my presence.
Era ku mmeeza eno onossaako Emigaati egy’Okulaga, egy’okubeeranga mu maaso gange bulijjo.
31 Make a lampstand of pure, hammered gold. The whole of it is to be made of one piece—its base, shaft, cups, buds, and flowers.
“Okole ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Ekikondo kyonna na bino ebikiriko: entobo yaakyo n’enduli, ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako, byonna byakuweesebwa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba.
32 It is to have six branches coming out of the sides of the lampstand, three on each side.
Kunaabako amatabi mukaaga omutuula emisubbaawa: amatabi asatu nga gali ku ludda lumu, n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala.
33 Have three cups shaped like almond flowers on the first branch, each with buds and petals, three on the next branch. Each of six branches that come out will have three cups shaped like almond flowers, all complete with buds and petals.
Ku matabi gonna omukaaga agava ku kikondo ky’ettaala, kubeeko ku buli ttabi, ebikopo bisatu ebikole ng’ebimuli by’alumondi; mu buli kikopo nga mulimu omutunsi n’ekimuli.
34 On the main shaft of the lampstand make four cups shaped like almond flowers, complete with buds and petals.
Ku kikondo ky’ettaala kyennnyini kubeeko ebikopo bina ebifaanana ebimuli by’alumondi nga mulimu emitunsi n’ebimuli.
35 On the six branches that come out from the lampstand, place a bud under the first pair of branches, a bud under the second pair, and a bud under the third pair.
Omutunsi gumu gujja kuba wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo, n’omutunsi ogwokubiri gubeere wansi w’amatabi abiri amalala, n’omutunsi ogwokusatu gubeere wansi w’amatabi abiri amalala; amatabi gonna omukaaga ne gaggwaayo.
36 The buds and branches are to be made with the lampstand as one piece, hammered out of pure gold.
Emitunsi n’amatabi biweesebwe mu kyuma kya zaabu omwereere, nga kiri bulambalamba n’ekikondo ky’ettaala.
37 Make seven lamps and place them on the lampstand so they can light up the area in front of it.
“Era ekikondo kikolere ettaala musanvu; ettaala zino nga zaakira mu maaso gaakyo.
38 The wick tongs and their trays are to be made of pure gold.
Makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, byonna bikolebwe mu zaabu mwereere.
39 The lampstand and all these utensils will require a talent of pure gold.
Ojja kwetaaga zaabu omwereere aweza obuzito bwa kilo asatu mu nnya, okukola ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako.
40 Be sure to make everything according to the design you were shown on the mountain.”
Weegendereze, byonna obikole ng’ogoberera ekifaananyi kye nkulaze wano ku lusozi.”

< Exodus 25 >