< Psalms 30 >

1 A Psalm of David: dedication-song of the house. I will extol thee, Jehovah; for thou hast delivered me, and hast not made mine enemies to rejoice over me.
Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi. Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama, kubanga wannyimusa; n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
2 Jehovah my God, I cried unto thee, and thou hast healed me.
Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe, n’omponya.
3 Jehovah, thou hast brought up my soul from Sheol, thou hast quickened me from among those that go down to the pit. (Sheol h7585)
Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe, n’omponya ekinnya. (Sheol h7585)
4 Sing psalms unto Jehovah, ye saints of his, and give thanks in remembrance of his holiness.
Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be; mutendereze erinnya lye ettukuvu.
5 For a moment [is passed] in his anger, a life in his favour; at even weeping cometh for the night, and at morn there is rejoicing.
Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera, naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna. Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka essanyu ne lijja nga bukedde.
6 As for me, I said in my prosperity, I shall never be moved.
Bwe namala okunywera ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
7 Jehovah, by thy favour thou hadst made my mountain to stand strong: thou didst hide thy face; I was troubled.
Ayi Mukama, bwe wanjagala, wanyweza olusozi lwange; naye bwe wankweka amaaso go ne neeraliikirira.
8 I called to thee, Jehovah, and unto the Lord did I make supplication:
Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama; ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
9 What profit is there in my blood, in my going down to the pit? shall the dust praise thee? shall it declare thy truth?
“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya ne nzikirira? Enfuufu eneekutenderezanga n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Hear, O Jehovah, and be gracious unto me; Jehovah, be my helper.
Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire; Ayi Mukama, onnyambe.”
11 Thou hast turned for me my mourning into dancing; thou hast loosed my sackcloth, and girded me with gladness;
Ofudde okwaziirana kwange amazina; onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.
12 That [my] glory may sing psalms of thee, and not be silent. Jehovah my God, I will praise thee for ever.
Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga. Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.

< Psalms 30 >