< Psalms 139 >

1 To the chief Musician. A Psalm of David. Jehovah, thou hast searched me, and known [me].
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Mukama, okebedde omutima gwange, n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2 Thou knowest my down-sitting and mine uprising, thou understandest my thought afar off;
Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya; era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3 Thou searchest out my path and my lying down, and art acquainted with all my ways;
Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange. Omanyi amakubo gange gonna.
4 For there is not yet a word on my tongue, [but] lo, O Jehovah, thou knowest it altogether.
Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama, okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5 Thou hast beset me behind and before, and laid thy hand upon me.
Ondi mu maaso n’emabega, era ontaddeko omukono gwo.
6 O knowledge too wonderful for me! it is high, I cannot [attain] unto it.
Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde, era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
7 Whither shall I go from thy Spirit? and whither flee from thy presence?
Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali? Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
8 If I ascend up into the heavens thou art there; or if I make my bed in Sheol, behold, thou [art there]; (Sheol h7585)
Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli; bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli. (Sheol h7585)
9 [If] I take the wings of the dawn [and] dwell in the uttermost parts of the sea,
Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 Even there shall thy hand lead me, and thy right hand shall hold me.
era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya, omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 And if I say, Surely darkness shall cover me, and the light about me be night;
Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire, n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 Even darkness hideth not from thee, and the night shineth as the day: the darkness is as the light.
Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza, ekiro kyakaayakana ng’emisana; kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.
13 For thou hast possessed my reins; thou didst cover me in my mother's womb.
Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze; ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 I will praise thee, for I am fearfully, wonderfully made. Marvellous are thy works; and [that] my soul knoweth right well.
Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo; emirimu gyo gya kyewuunyo; era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 My bones were not hidden from thee when I was made in secret, curiously wrought in the lower parts of the earth.
Wammanya nga ntondebwa, bwe nakolerwa mu kyama; bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16 Thine eyes did see my unformed substance, and in thy book all [my members] were written; [during many] days were they fashioned, when [as yet] there was none of them.
Wandaba nga si natondebwa. Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 But how precious are thy thoughts unto me, O God! how great is the sum of them!
By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda! Omuwendo gwabyo munene!
18 [If] I would count them, they are more in number than the sand. When I awake, I am still with thee.
Singa ngezaako okubibala bisinga omusenyu obungi. Ne bwe ngolokoka mu makya oba okyandowoozaako.
19 Oh that thou wouldest slay the wicked, O God! And ye men of blood, depart from me.
Abakola ebibi batte, Ayi Katonda; abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 For they speak of thee wickedly, they take [thy name] in vain, thine enemies.
Abantu abo bakwogerako bibi; bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 Do not I hate them, O Jehovah, that hate thee? and do not I loathe them that rise up against thee?
Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa; abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 I hate them with perfect hatred; I account them mine enemies.
Mbakyayira ddala nnyo, era mbayita balabe bange.
23 Search me, O God, and know my heart; prove me, and know my thoughts;
Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange. Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
24 And see if there be any grievous way in me; and lead me in the way everlasting.
Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu; era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.

< Psalms 139 >