< Jeremiah 17 >
1 The sin of Judah is written with a style of iron, with the point of a diamond, engraven upon the tablet of their heart, and upon the horns of your altars;
“Ekibi kya Yuda kiwandiikiddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma n’ejjinja essongovu; kirambiddwa ku mitima gyabwe ne ku mayembe g’ebyoto byabwe.
2 whilst their children remember their altars and their Asherahs, by the green trees, upon the high hills.
N’abaana baabwe basinziza ku byoto bya bakatonda ba Asera ebiri ku buli muti oguyimiridde era ne ku busozi obuwanvu.
3 My mountain in the field, thy substance, all thy treasures will I give for a spoil, — thy high places, because of sin throughout thy borders.
Olusozi lwange oluli mu nsi, obugagga bwammwe n’ebintu byo eby’omuwendo byonna, ndibiwaayo byonna binyagibwe n’ebifo byammwe ebigulumivu kwe musaddaakira olw’ekibi ekibunye mu nsi yonna.
4 And of thyself thou shalt let go thine inheritance which I gave thee; and I will cause thee to serve thine enemies in a land that thou knowest not; for ye have kindled a fire in mine anger, — it shall burn for ever.
Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo, ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako, kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa ogunaayakanga emirembe gyonna.”
5 Thus saith Jehovah: Cursed is the man that confideth in man, and maketh flesh his arm, and whose heart departeth from Jehovah.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Akolimiddwa oyo eyeesiga omuntu era eyeesiga omubiri okuba amaanyi ge, era alina omutima oguva ku Katonda.
6 And he shall be like the heath in the desert, and shall not see when good cometh; but he shall inhabit the parched places in the wilderness, a salt land and not inhabited.
Aliba ng’ekisaka mu ddungu, ataliraba birungi bwe birijja, naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey’omunnyo omutali abeeramu.
7 Blessed is the man that confideth in Jehovah, and whose confidence Jehovah is.
Naye alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, nga Mukama ly’essuubi lye.
8 For he shall be like a tree planted by the waters, and that spreadeth out its roots by the stream, and he shall not see when heat cometh, but his leaf shall be green; and in the year of drought he shall not be careful, neither shall he cease to yield fruit.
Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi, ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga, nga wadde omusana gujja, tegutya n’amakoola gaagwo tegawotoka, so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya era teguliremwa kubala bibala.
9 The heart is deceitful above all things, and incurable; who can know it?
Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etawonyezeka. Ani ayinza okugutegeera?
10 I Jehovah search the heart, I try the reins, even to give each one according to his ways, according to the fruit of his doings.
“Nze Mukama nkebera omutima, ngezesa emmeeme, okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali, ng’ebikolwa bye bwe biri.”
11 [As] the partridge sitteth on [eggs] it hath not laid, [so] is he that getteth riches and not by right: in the midst of his days shall he leave them, and at his end shall be a fool.
Ng’enkwale bw’eyalula amagi geetebiikanga, bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga mu makubo amakyamu; obulamu bwe nga bwakabeerawo kaseera buseera, bulimuggwaako era oluvannyuma alizuulibwa nga musiru.
12 A throne of glory, [set] on high from the beginning, is the place of our sanctuary.
Ekifo kyaffe ekitukuvu, ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.
13 Thou hope of Israel, Jehovah! all that forsake thee shall be ashamed. They that depart from me shall be written in the earth; because they have forsaken Jehovah, the fountain of living waters.
Ayi Mukama essuubi lya Isirayiri, bonna abakuvaako baliswala. Abo abakuvaako ne bakuleka baliba ng’abawandiikiddwa mu nfuufu, kubanga bavudde ku Mukama, oluzzi olw’amazzi amalamu.
14 Heal me, Jehovah, and I shall be healed; save me, and I shall be saved: for thou art my praise.
Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona, ndokola nange nnaalokoka, kubanga ggwe gwe ntendereza.
15 Behold, these say unto me, Where is the word of Jehovah? let it then come!
Tobakkiriza kuŋŋamba nti, “Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa? Ka kituukirire nno kaakano!”
16 But as for me, I have not hastened from being a shepherd in following thee, neither have I desired the fatal day, thou knowest: that which came out of my lips was before thy face.
Sirekeddaawo kuba musumba wa ndiga zo, omanyi nga sikusabanga kubaleetako nnaku. Byonna ebiva mu kamwa kange tebikukwekeddwa, obimanyi.
17 Be not a terror unto me: thou art my refuge in the day of evil.
Toba wa ntiisa gye ndi, ggwe oli buddukiro bwange mu kiseera eky’okulabiramu ennaku.
18 Let them be ashamed that persecute me, but let not me be ashamed; let them be dismayed, but let not me be dismayed; bring upon them the day of evil, and break them with a double breaking.
Abo abanjigganya leka baswale, era onkuume nneme kuswala; leka bagwemu ekyekango nze onkuume nneme okwekanga, batuuse ku lunaku olw’ekikangabwa, bazikiririze ddala.
19 Thus hath Jehovah said unto me: Go and stand in the gate of the children of the people, by which the kings of Judah come in, and by which they go out, and in all the gates of Jerusalem;
Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda oyimirire ku mulyango gw’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira n’okufuluma; yimirira ne ku nzigi endala eza Yerusaalemi.
20 and say unto them, Hear the word of Jehovah, ye kings of Judah, and all Judah, and all the inhabitants of Jerusalem, that enter in by these gates;
Bagambe nti, ‘Muwulirize ekigambo kya Mukama mmwe bakabaka ba Yuda n’abantu bonna ababeera mu Yerusaalemi, abayita mu miryango gy’ekibuga.
21 thus saith Jehovah: Take heed to your souls, and bear no burden on the sabbath day, and bring nothing in through the gates of Jerusalem;
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna,
22 and carry forth no burden out of your houses on the sabbath day, neither do any work; but hallow ye the sabbath day, as I commanded your fathers,
era kuuma olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga bwe nalagira bajjajjammwe.’
23 but they hearkened not, neither inclined their ear, but hardened their neck, that they might not hear nor receive instruction.
Naye tebaawuliriza wadde okukkiriza okunenyezebwa.
24 And it shall come to pass, if ye diligently hearken unto me, saith Jehovah, to bring in no burden through the gates of this city on the sabbath day, and to hallow the sabbath day, to do no work therein;
Kyokka bwe muneegendereza ne muŋŋondera, bw’ayogera Mukama, ‘ne mutayisa kintu kyonna kye mwetisse mu miryango gy’ekibuga ku ssabbiiti, naye ne mukuuma olwa Ssabbiiti nga lutukuvu obutakolerako mulimu gwonna,
25 then shall there enter in, through the gates of this city, kings and princes sitting upon the throne of David, riding in chariots and on horses, they and their princes, the men of Judah and the inhabitants of Jerusalem: and this city shall be inhabited for ever.
olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna.
26 And they shall come from the cities of Judah, and from the places around Jerusalem, and from the land of Benjamin, and from the lowland, and from the hill-country, and from the south, bringing burnt-offerings, and sacrifices, and oblations, and incense, and bringing thanksgiving unto the house of Jehovah.
Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama.
27 But if ye will not hearken unto me, to hallow the sabbath day and not to bear a burden and enter in through the gates of Jerusalem on the sabbath day, then will I kindle a fire in the gates thereof, and it shall devour the palaces of Jerusalem, and it shall not be quenched.
Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’”