< Ezekiel 13 >
1 And the word of Jehovah came unto me, saying:
Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira ng’agamba nti,
2 Son of man, prophesy against the prophets of Israel that prophesy, and say unto them that prophesy out of their own heart, Hear ye the word of Jehovah.
“Omwana w’omuntu, yogera ebyobunnabbi eri bannabbi ba Isirayiri aboogera obunnabbi kaakano. Tegeeza abo aboogera obunnabbi bwe bayiiyizza nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama.
3 Thus saith the Lord Jehovah: Woe unto the foolish prophets, that follow their own spirit, and have seen nothing!
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, zibasanze bannabbi abasirusiru abagoberera omwoyo gwabwe ate nga tebalina kye balabye.
4 O Israel, thy prophets have been like foxes in desert places.
Isirayiri, bannabbi bo bali ng’ebibe ebitambulatambula mu bifulukwa.
5 Ye have not gone up into the breaches, nor made up the fence for the house of Israel, to stand in the battle in the day of Jehovah.
Temwambuse kuddaabiriza bbugwe n’okuziba ebituli ebirimu ku lw’ennyumba ya Isirayiri, esobole okuyimirira nga ngumu mu lutalo ku lunaku lwa Mukama Katonda.
6 They have seen vanity and lying divination, that say, Jehovah saith! and Jehovah hath not sent them; and they make [them] to hope that the word will be fulfilled.
Okwolesebwa kwabwe kukyamu, n’okubikkulirwa kwabwe kwa bulimba. Mukama ne bw’aba tabatumye boogera nti, “bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,” ne bamusuubira okutuukiriza ebyo bye boogedde.
7 Have ye not seen a vain vision, and spoken a lying divination, when ye say, Jehovah saith; and I have not spoken?
Temulabye kwolesebwa kukyamu ne mwogera n’okubikkulirwa okw’obulimba, bwe mwogedde nti, “Mukama bw’ati bw’ayogera,” newaakubadde nga mba soogedde?
8 Therefore thus saith the Lord Jehovah: Because ye speak vanity, and have seen lies, therefore behold, I am against you, saith the Lord Jehovah.
“‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, olw’ebigambo byo ebikyamu n’olw’okwolesebwa kwo okw’obulimba, ndi mulabe wo.
9 And my hand shall be against the prophets that see vanity and that divine lies: they shall not be in the council of my people, neither shall they be written in the register of the house of Israel, and they shall not enter into the land of Israel: and ye shall know that I [am] the Lord Jehovah.
Omukono gwange gulibeera ku bannabbi abalaba okwolesebwa okukyamu era aboogera okubikkulirwa okw’obulimba. Tebalituula mu kibiina eky’abantu bange newaakubadde okuwandiikibwa ku nkalala z’ennyumba ya Isirayiri, wadde okuyingira mu nsi ya Isirayiri. Olwo olimanya nga nze Mukama Katonda.
10 Because, yea because they have seduced my people, saying, Peace! and there is no peace; and one buildeth up a wall, and lo, they daub it with untempered [mortar] —
“‘Olw’okuba nga babuzaabuza abantu bange nga boogera nti, “Mirembe,” ate nga tewali mirembe, ate bwe bazimba bbugwe omunafu, ne basiigako langi okubikka bye batazimbye bulungi,
11 say unto them which daub it with untempered [mortar] that it shall fall: there shall be an overflowing rain, and ye, O great hailstones, shall fall, and a stormy wind shall burst forth.
kyonoova ogamba abo ababikkirira ne langi nti bbugwe aligwa. Enkuba eritonnya nnyo, era ndisindika omuzira, n’embuyaga ez’amaanyi zirikunta.
12 And lo, when the wall is fallen, shall it not be said unto you, Where is the daubing with which ye have daubed [it]?
Bbugwe bw’aligwa, abantu tebalikubuuza nti, “Langi gye wasiigako eruwa?”
13 Therefore thus saith the Lord Jehovah: I will cause to burst forth a stormy wind in my fury; and there shall be an overflowing rain in mine anger, and hail-stones in fury for utter destruction.
“‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Mu kiruyi kyange ndisindika kibuyaga ow’amaanyi, ne mu busungu bwange ndisindika omuzira, ne mu bukambwe obungi enkuba ennyingi ennyo eritonnya okukizikiriza.
14 And I will break down the wall that ye have daubed with untempered [mortar], and bring it down to the ground, so that the foundation thereof shall be discovered; and it shall fall, and ye shall be destroyed in the midst thereof; and ye shall know that I [am] Jehovah.
Ndimenya bbugwe gwe mwasiiga langi musaasaanye ku ttaka, n’omusingi gwe gusigale nga gwasaamiridde. Bw’aligwa, alikugwiira n’ozikirizibwa, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda.
15 And I will accomplish my fury upon the wall, and upon them that daub it with untempered [mortar], and will say unto you, The wall is no [more], neither they that daubed it,
Ndimalira ekiruyi kyange ku bbugwe ne ku abo abaakisiiga langi, nga ŋŋamba nti, “Bbugwe agenze, era abaamusiiga langi nabo balugenze,
16 the prophets of Israel who prophesy concerning Jerusalem, and who see a vision of peace for her, and there is no peace, saith the Lord Jehovah.
abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda.”’
17 And thou, son of man, set thy face against the daughters of thy people, who prophesy out of their own heart; and prophesy against them,
“Kaakano omwana w’omuntu, amaaso go gateeke ku bawala b’abantu bo aboogera eby’obunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti,
18 and say, Thus saith the Lord Jehovah: Woe unto the women that sew pillows for all wrists, and that make veils for the head [of persons] of every stature to catch souls! Will ye catch the souls of my people, and will ye save your own souls alive?
‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo eby’obulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ez’enjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bw’abantu bange, naye ne weesigaliza obubwo?
19 And will ye profane me among my people for handfuls of barley and for morsels of bread, to slay the souls that should not die, and to save the souls alive that should not live, by your lying to my people that listen to lying?
Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba.
20 Wherefore thus saith the Lord Jehovah: Behold, I am against your pillows, that the souls which ye catch by their means may fly away; and I will tear them from your arms, and will let the souls go, the souls that ye catch, that they may fly away.
“‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndi mulabe w’obulogo bwo, bw’okozesa okuteega abantu ng’ateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ng’ebinyonyi n’obasiba.
21 And I will tear your veils and deliver my people out of your hand, and they shall be no more in your hand to be hunted; and ye shall know that I [am] Jehovah.
Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda.
22 Because with falsehood ye have grieved the heart of the righteous, whom I have not made sad; and have strengthened the hands of the wicked, that he should not return from his wicked way, to save his life:
Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe,
23 therefore ye shall no more see vanity, nor divine divinations; and I will deliver my people out of your hand: and ye shall know that I [am] Jehovah.
ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’”