Aionian Verses

And all his sons and his daughters gathered themselves together, and came to comfort him; but he would not be comforted, saying, I will go down to my son mourning to Hades; and his father wept for him. (Sheol h7585)
Batabani be bonna ne bawala be ne bagenda gy’ali okumusanyusa, kyokka ye n’atakkiriza kusanyusibwa. N’agamba nti, “Nedda, ndikka emagombe nga nkyakungubagira omwana wange Yusufu.” Bw’atyo Yakobo n’akungubagira nnyo Yusufu. (Sheol h7585)
But he said, My son shall not go down with you, because his brother is dead, and he only has been left; and [suppose] it shall come to pass that he is afflicted by the way by which you go, then you shall bring down my old age with sorrow to Hades. (Sheol h7585)
Naye Yakobo n’agamba nti, “Mutabani wange tajja kuserengeta nammwe, kubanga muganda we yafa, era ye y’asigalawo yekka. Akabi bwe kalimutuukako mu lugendo lwe mugendako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkyali munakuwavu.” (Sheol h7585)
If then you take this one also from my presence, and an affliction happen to him by the way, then shall you bring down my old age with sorrow to the grave. (Sheol h7585)
Bwe muntwalako n’ono, akabi ne kamutuukako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkungubaga.’ (Sheol h7585)
—it shall even come to pass, when he sees the boy is not with us, [that] he will die, and your servants will bring down the old age of your servant, and our father, with sorrow to the grave. (Sheol h7585)
bw’anaalaba ng’omulenzi tali naffe, ajja kufa, n’abaddu bo baliserengesa envi z’omuddu wo kitaffe emagombe ng’akyakungubagira omwana we. (Sheol h7585)
But if the Lord shall show by a wonder, and the earth shall open her mouth and swallow them up, and their houses, and their tents, and all that belongs to them, and they shall go down alive into Hades, then you shall know that these men have provoked the Lord. (Sheol h7585)
Naye singa Mukama Katonda aleetawo ekintu ekiggya ddala ekitali kya bulijjo, ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira nga balamu n’ebintu byabwe byonna, ne bagwa wansi mu gunnya oguwanvu, kale nno munaategeera ng’abasajja abo banyoomodde Mukama Katonda.” (Sheol h7585)
And they went down and all that they had, alive into Hades; and the ground covered them, and they perished from the midst of the congregation. (Sheol h7585)
Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe. (Sheol h7585)
For a fire has been kindled out of my wrath, it shall burn to hell below; it shall devour the land, and the fruits of it; it shall set on fire the foundations of the mountains. (Sheol h7585)
Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro, ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe, gusenkenya ensi n’ebibala byayo, ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago. (Sheol h7585)
The Lord kills and makes alive; he brings down to the grave, and brings up. (Sheol h7585)
Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu; atwala emagombe ate n’azuukiza. (Sheol h7585)
the pangs of death surrounded me, the agonies of death prevented me. (Sheol h7585)
Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola; n’emitego gy’okufa ne ginjolekera. (Sheol h7585)
Therefore you shall deal [with him] according to your wisdom, and you shall not bring down his grey hairs in peace to the grave. (Sheol h7585)
Kale muyise ng’okutegeera kwo bwe kuli, so tomuganyanga kukka emagombe mirembe mu bukadde bwe. (Sheol h7585)
But you shall by no means hold him guiltless, for you are a wise man, and will know what you shall do to him, and shall bring down his grey hairs with blood to the grave. (Sheol h7585)
Kaakano tomubala ng’ataliiko musango. Oli musajja w’amagezi, era olimanya ekirikugwanira okumukola; tomuganyanga okukka emagombe mu mirembe mu bukadde bwe.” (Sheol h7585)
[I am] as a cloud that is cleared away from the sky: for if a man go down to the grave, he shall not come up again: (Sheol h7585)
Nga ekire bwe kibulawo ne kigenda, bw’atyo n’aziikwa mu ntaana talivaayo. (Sheol h7585)
Heaven [is] high; and what will you do? and there are deeper things than those in hell; what do you know? (Sheol h7585)
Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola? Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya? (Sheol h7585)
For oh that you had kept me in the grave, and had hidden me until your wrath should cease, and you should set me a time in which you would remember me! (Sheol h7585)
“Singa kale onkweka emagombe era n’onziika okutuusa obusungu bwo lwe buliggwaawo! Singa ongerera ekiseera n’onzijukira! (Sheol h7585)
For if I remain, Hades is my habitation: and my bed has been made in darkness. (Sheol h7585)
Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi, bwe njala obuliri bwange mu kizikiza, (Sheol h7585)
Will they go down with me to Hades, or shall we go down together to the tomb? (Sheol h7585)
Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?” (Sheol h7585)
And they spend their days in wealth, and fall asleep in the rest of the grave. (Sheol h7585)
Emyaka gyabwe gyonna babeera bulungi, mangwago ne bakka mu ntaana. (Sheol h7585)
[Let them be] withered upon the earth; for they have plundered the sheaves of the fatherless. (Sheol h7585)
Nga ekyeeya n’ebbugumu bwe bimalawo amazzi agava mu muzira, aboonoonyi bwe batyo bwe bamalibwawo emagombe. (Sheol h7585)
Hell is naked before him, and destruction has no covering. (Sheol h7585)
Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda; n’okuzikiriza tekulina kikubisse. (Sheol h7585)
For in death no man remembers you: and who will give you thanks in Hades? (Sheol h7585)
Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa. Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe? (Sheol h7585)
Let sinners be driven away into Hades, [even] all the nations that forget God. (Sheol h7585)
Ababi balisuulibwa emagombe; ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda. (Sheol h7585)
because you will not leave my soul in hell, neither will you suffer your Holy One to see corruption. (Sheol h7585)
Kubanga omwoyo gwange toliguleka magombe, wadde okukkiriza Omutukuvu wo okuvunda. (Sheol h7585)
The pangs of hell came round about me: the snares of death prevented me. (Sheol h7585)
Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola; n’emitego gy’okufa ne ginjolekera. (Sheol h7585)
O Lord, you have brought up my soul from Hades, you have delivered me from [amongst] them that go down to the pit. (Sheol h7585)
Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe, n’omponya ekinnya. (Sheol h7585)
O Lord, let me not be ashamed, for I have called upon you: let the ungodly be ashamed, and brought down to Hades. (Sheol h7585)
Ayi Mukama tondeka kuswazibwa, kubanga nkukoowoola; leka abo ababi baswale, era bagalamire emagombe nga basirise. (Sheol h7585)
They have laid [them] as sheep in Hades; death shall feed on them; and the upright shall have dominion over them in the morning, and their help shall fail in Hades from their glory. (Sheol h7585)
Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa; olumbe ne lubalya. Bakka butereevu emagombe, obulungi bwabwe ne bubula, amagombe ne gafuuka amaka gaabwe. (Sheol h7585)
But God shall deliver my soul from the power of Hades, when he shall receive me. (Pause) (Sheol h7585)
Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe, ddala ddala alintwala gy’ali. (Sheol h7585)
Let death come upon them, and let them go down alive into Hades, for iniquity is in their dwellings, in the midst of them. (Sheol h7585)
Okufa kubatuukirire, bakke emagombe nga bakyali balamu; kubanga bajjudde okukola ebibi. (Sheol h7585)
For your mercy is great towards me; and you have delivered my soul from the lowest hell. (Sheol h7585)
Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi; wawonya omwoyo gwange amagombe. (Sheol h7585)
For my soul is filled with troubles, and my life has drawn near to Hades. (Sheol h7585)
Kubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu, era nsemberedde okufa. (Sheol h7585)
What man is there who shall live, and not see death? shall [any one] deliver his soul from the hand of Hades? (Pause) (Sheol h7585)
Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa n’awangula amaanyi g’emagombe? (Sheol h7585)
The pangs of death compassed me; the dangers of hell found me: I found affliction and sorrow. (Sheol h7585)
Emiguwa gy’okufa gyansiba, n’okulumwa okw’emagombe kwankwata; ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya. (Sheol h7585)
If I should go up to heaven, you are there: if I should go down to hell, you are present. (Sheol h7585)
Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli; bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli. (Sheol h7585)
As a lump of earth is crushed upon the ground, our bones have been scattered by the [mouth of] the grave. (Sheol h7585)
Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike, n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.” (Sheol h7585)
and let us swallow him alive, as Hades [would], and remove the memorial of him from the earth: (Sheol h7585)
ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu, era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu; (Sheol h7585)
For the feet of folly lead those who deal with her down to the grave with death; and her steps are not established. (Sheol h7585)
Ebigere bye bituuka mu kufa, ebisinde bye biraga emagombe. (Sheol h7585)
Her house is the way of hell, leading down to the chambers of death. (Sheol h7585)
Ennyumba ye, lye kkubo eridda emagombe, nga likka mu bisenge eby’okufa. (Sheol h7585)
But he knows that mighty men die by her, and he falls in with a snare of hell. (Sheol h7585)
Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira, era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe. (Sheol h7585)
Hell and destruction are manifest to the Lord; how shall not also be the hearts of men? (Sheol h7585)
Okufa n’okuzikirira biri mu maaso ga Mukama, n’okulaba alaba nnyo emitima gy’abaana b’abantu! (Sheol h7585)
The thoughts of the wise are ways of life, that he may turn aside and escape from hell. (Sheol h7585)
Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi, ne limuziyiza okukka emagombe. (Sheol h7585)
For you shall beat him with the rod, and shall deliver his soul from death. (Sheol h7585)
Mubonerezenga n’akaggo, kiwonye emmeeme ye okufa. (Sheol h7585)
Hell and destruction are not filled; so also are the eyes of men insatiable. [He that fixes his eye is an abomination to the Lord; and the uninstructed do not restrain their tongue.] (Sheol h7585)
Amagombe ne ggeyeena tebikkuta, n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta. (Sheol h7585)
The grave, and the love of a woman, and the earth not filled with water; water also and fire will not say, It is enough. (Sheol h7585)
Amagombe, olubuto olugumba, ettaka eritakutta mazzi, n’omuliro ogutayogera nti, “Ebyo binaamala!” (Sheol h7585)
Whatsoever your hand shall find to do, do with all your might; for there is no work, nor device, nor knowledge, nor wisdom, in Hades wither you go. (Sheol h7585)
Buli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga. (Sheol h7585)
Set me as a seal upon your heart, as a seal upon your arm; for love is strong as death; jealousy is cruel as the grave, her shafts are shafts of fire, [even] the flames thereof. (Sheol h7585)
Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo, era ng’akabonero ku mukono gwo, kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa, obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe. Kwaka ng’ennimi ez’omuliro, omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo. (Sheol h7585)
Therefore hell has enlarged its desire and opened its mouth without ceasing: and her glorious and great, and her rich and her pestilent men shall go down [into it]. (Sheol h7585)
Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago, era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo. Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe n’abantu baabwe abaabulijjo, n’ab’effujjo n’abatamiivu. (Sheol h7585)
Ask for yourself a sign of the Lord your God, in the depth or in the height. (Sheol h7585)
“Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba, oba mu magombe oba mu bwengula.” (Sheol h7585)
Hell from beneath is provoked to meet you: all the great ones that have ruled over the earth have risen up together against you, they that have raised up from their thrones all the kings of the nations. (Sheol h7585)
Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng’ojja, gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo, bonna abaali abakulembeze b’ensi; gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe, bonna abaali bakabaka baamawanga. (Sheol h7585)
Your glory has come down to Hades, and your great mirth: under you they shall spread corruption, and the worm shall be your covering. (Sheol h7585)
Ekitiibwa kyo kyonna kissibbwa emagombe, awamu n’amaloboozi g’ennanga zo; bakwalidde envunyu, n’ensiriŋŋanyi zikubisseeko. (Sheol h7585)
But now you shall go down to hell, even to the foundations of the earth. (Sheol h7585)
Naye ossibbwa wansi emagombe, ku ntobo y’obunnya. (Sheol h7585)
Because you have said, We have made a covenant with Hades, and agreements with death; if the rushing storm should pass, it shall not come upon us: we have made falsehood our hope, and by falsehood shall we be protected: (Sheol h7585)
Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, “Twakola endagaano n’okufa, era twalagaana n’amagombe. Ekikangabwa eky’amaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.” (Sheol h7585)
except it also take away your covenant of death, and your trust in Hades shall by no means stand: if the rushing storm should come upon you, you shall be beaten down by it. (Sheol h7585)
N’endagaano gye walagaana n’okufa erijjulukuka, n’endagaano gye walagaana n’amagombe terinywera. Ekikangabwa eky’amaanyi bwe kirijja, kiribagwira. (Sheol h7585)
I said in the end of my days, I shall go to the gates of the grave: I shall part with the remainder of my years. (Sheol h7585)
nayogera nti, “Mu maanyi g’obulamu bwange mwe nnali ŋŋenda okufiira nnyingire mu miryango gy’emagombe, nga simazeeyo myaka gyange egisigaddeyo.” (Sheol h7585)
For they that are in the grave shall not praise you, neither shall the dead bless you, neither shall they that are in Hades hope for your mercy. (Sheol h7585)
Kubanga tewali n’omu mu nsi y’abafu ayinza kukutendereza, abafu tebayinza kukusuuta; tebaba na ssuubi mu bwesigwa bwo. (Sheol h7585)
and you have multiplied your whoredom with them, and you have increased the number of them that are far from you, and have sent ambassadors beyond your borders, and have been debased even to hell. (Sheol h7585)
Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo, n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda, kumpi batuuke n’emagombe. (Sheol h7585)
Thus says the Lord God; In the day wherein he went down to Hades, the deep mourned for him: and I stayed her floods, and restrained her abundance of water: and Libanus saddened for him, all the trees of the field fainted for him. (Sheol h7585)
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ku lunaku lwe gwaleetebwa wansi emagombe, enzizi zaagukaabira, era naziyiza n’emigga gyagwo, n’amazzi gaagwo amangi okukulukuta. Ku lulwe nayambaza Lebanooni obuyinike, n’emiti gyonna egy’oku ttale ne gikala. (Sheol h7585)
At the sound of his fall the nations quaked, when I brought him down to Hades with them that go down to the pit: and all the trees of Delight comforted him in the heart, and the choice of [plants] of Libanus, all that drink water. (Sheol h7585)
Naleetera amawanga okukankana olw’eddoboozi ery’okugwa kwagwo bwe naguserengesa emagombe n’abo abaserengeta wansi mu bunnya. Olwo emiti gyonna egya Adeni, egy’amaanyi era egisingayo obulungi egya Lebanooni emiti gyonna egyali gifukiriddwa obulungi amazzi, ne gizzibwamu amaanyi wansi mu nsi. (Sheol h7585)
For they went down to hell with him amongst the slain with the sword; and his seed, [even] they that lived under his shadow, perished in the midst of their life. (Sheol h7585)
Abo bonna ababeera mu kisiikirize kyagwo, n’amawanga agassanga ekimu nabo, bakirira nabo emagombe ne beegatta ku abo abattibwa n’ekitala. (Sheol h7585)
Be you in the depth of the pit: to whom are you superior? yes, go down, and lie with the uncircumcised, in the midst of them [that are] slain with the sword. (Sheol h7585)
Okuva emagombe abakulembeze ab’amaanyi balyogera ku Misiri ne be yeekobaana nabo nti, ‘baserengese, era bagalamidde awali abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.’ (Sheol h7585)
And they are laid with the giants that fell of old, who went down to Hades with [their] weapons of war: and they laid their swords under their heads, but their iniquities were upon their bones, because they terrified all men during their life. (Sheol h7585)
Tebaliziikibwa ng’abakungu, naye baliziikibwa ng’abasajja abalwanyi abazira abatali bakomole, abaaserengeta emagombe n’ebyokulwanyisa byabwe, abaatikkibwa ebitala byabwe ku mitwe gyabwe. Obutali butuukirivu bwabwe bwali ku magumba gaabwe kubanga baaleeta entiisa eri abasajja ab’amaanyi mu nsi ey’abalamu. (Sheol h7585)
I will deliver [them] out of the power of Hades, and will redeem them from death: where is your penalty, O death? O Hades, where is your sting? comfort is hidden from mine eyes. (Sheol h7585)
“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe, era ndibalokola mu kufa. Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa? Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? “Sirimusaasira, (Sheol h7585)
Though they hid themselves in hell, thence shall my hand drag them forth; and though they go up to heaven, thence will I bring them down. (Sheol h7585)
Ne bwe balisima ne baddukira emagombe, omukono gwange gulibaggyayo. Ne bwe balirinnya waggulu mu ggulu ndibawanulayo. (Sheol h7585)
and said, I cried in my affliction to the Lord my God, and he listened to me, [even] to my cry out of the belly of hell: you heard my voice. (Sheol h7585)
nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama n’anziramu; mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola, era n’owulira eddoboozi lyange! (Sheol h7585)
But the arrogant man and the scorner, the boastful man, shall not finish anything; who has enlarged his desire as the grave, and like death he is never satisfied, and he will gather to himself all the nations, and will receive to himself all the peoples. (Sheol h7585)
Weewaawo, omwenge mulimba guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako. Ate olwokubanga gwa mululu ng’emagombe, mu butakkuta gufaanana okufa. Era okufaanana ng’olumbe, tegukkuta, amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako ne gugafuula abasibe. (Sheol h7585)
Matthew 5:22 (Matayo 5:22)
(parallel missing)
Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lw’abakulembeze b’Abayudaaya n’awozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena. (Geenna g1067)
Matthew 5:29 (Matayo 5:29)
(parallel missing)
Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ng’ebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena. (Geenna g1067)
Matthew 5:30 (Matayo 5:30)
(parallel missing)
Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ng’ekitundu ky’omubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena n’ebitundu by’omubiri gwo byonna. (Geenna g1067)
Matthew 10:28 (Matayo 10:28)
(parallel missing)
Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. (Geenna g1067)
Matthew 11:23 (Matayo 11:23)
(parallel missing)
Naawe Kaperunawumu, newaakubadde nga wagulumizibwa okutuuka eggulu gye likoma, naye oliserengesebwa wansi emagombe. Kubanga ebyamagero eby’ekitalo ebyakolebwa ewuwo, singa byakolerwa mu Sodomu, kyandibadde kikyaliwo ne leero. (Hadēs g86)
Matthew 12:32 (Matayo 12:32)
(parallel missing)
Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja. (aiōn g165)
Matthew 13:22 (Matayo 13:22)
(parallel missing)
N’ensigo eyagwa mu maggwa efaanana ng’omuntu awulira ekigambo naye okweraliikirira kw’ebintu by’ensi n’obugagga obutaliimu ne bibuutikira ekigambo ne kitabala bibala. (aiōn g165)
Matthew 13:39 (Matayo 13:39)
(parallel missing)
Omulabe eyasiga ensigo ez’omuddo ye Setaani, amakungula y’enkomerero y’ensi n’abakunguzi be bamalayika. (aiōn g165)
Matthew 13:40 (Matayo 13:40)
(parallel missing)
“Noolwekyo ng’omuddo bwe gwakuŋŋaanyizibwa ne gwokebwa mu muliro, bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y’ensi. (aiōn g165)
Matthew 13:49 (Matayo 13:49)
(parallel missing)
Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero y’ensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu n’ababi. (aiōn g165)
Matthew 16:18 (Matayo 16:18)
(parallel missing)
Era nkutegeeza nti, Ggwe Peetero, olwazi, era ku lwazi okwo kwe ndizimba Ekkanisa yange, n’amaanyi gonna aga Setaani tegaligiwangula. (Hadēs g86)
Matthew 18:8 (Matayo 18:8)
(parallel missing)
Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. (aiōnios g166)
Matthew 18:9 (Matayo 18:9)
(parallel missing)
Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.” (Geenna g1067)
Matthew 19:16 (Matayo 19:16)
(parallel missing)
Awo omuntu omu n’amusemberera n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nkole ki ekirungi okufuna obulamu obutaggwaawo?” (aiōnios g166)
Matthew 19:29 (Matayo 19:29)
(parallel missing)
Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olw’erinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
Matthew 21:19 (Matayo 21:19)
(parallel missing)
n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka. (aiōn g165)
Matthew 23:15 (Matayo 23:15)
(parallel missing)
Zibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bw’akyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri. (Geenna g1067)
Matthew 23:33 (Matayo 23:33)
(parallel missing)
“Mmwe emisota! Abaana b’embalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena? (Geenna g1067)
Matthew 24:3 (Matayo 24:3)
(parallel missing)
Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?” (aiōn g165)
Matthew 25:41 (Matayo 25:41)
(parallel missing)
“Bw’atyo aligamba abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti, ‘Muveewo, mmwe abakolimire, mulage mu muliro ogutazikira ogwateekerwateekerwa Setaani ne bamalayika be. (aiōnios g166)
Matthew 25:46 (Matayo 25:46)
(parallel missing)
“Abo baligenda ku kibonerezo eky’emirembe n’emirembe, naye abatuukirivu baliyingira mu bulamu obutaggwaawo.” (aiōnios g166)
Matthew 28:20 (Matayo 28:20)
(parallel missing)
Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo.” (aiōn g165)
Mark 3:29 (Makko 3:29)
(parallel missing)
Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe n’emirembe naye alisingibwa omusango olw’ekibi eky’emirembe n’emirembe.” (aiōn g165, aiōnios g166)
Mark 4:19 (Makko 4:19)
(parallel missing)
naye okweraliikirira n’okusikirizibwa eby’obugagga n’okwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala. (aiōn g165)
Mark 9:43 (Makko 9:43)
(parallel missing)
Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde okusinga okuba n’emikono ebiri n’olaga mu ggeyeena, (Geenna g1067)
Mark 9:45 (Makko 9:45)
(parallel missing)
Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema n’oyingira mu bulamu kisinga okuba n’ebigere ebibiri n’osuulibwa mu ggeyeena (Geenna g1067)
Mark 9:47 (Makko 9:47)
(parallel missing)
Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng’oli wa liiso limu okusinga okubeera n’amaaso go gombi, (Geenna g1067)
Mark 10:17 (Makko 10:17)
(parallel missing)
Awo Yesu bwe yali ng’atambula, omusajja n’ajja gy’ali ng’adduka, n’amufukaamirira n’amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” (aiōnios g166)
Mark 10:30 (Makko 10:30)
(parallel missing)
ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo. (aiōn g165, aiōnios g166)
Mark 11:14 (Makko 11:14)
(parallel missing)
Awo Yesu n’agamba omuti nti, “Omuntu yenna alemenga okuddayo okulya ekibala kyo!” Abayigirizwa be ne bamuwulira ng’akyogera. (aiōn g165)
Luke 1:33 (Lukka 1:33)
(parallel missing)
Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era n’obwakabaka bwe tebulikoma.” (aiōn g165)
Luke 1:55 (Lukka 1:55)
(parallel missing)
nga bwe yayogera ne bajjajjaffe, eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.” (aiōn g165)
Luke 1:70 (Lukka 1:70)
(parallel missing)
Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo, (aiōn g165)
Luke 8:31 (Lukka 8:31)
(parallel missing)
Baddayimooni ne beegayirira Yesu aleme okubagobera mu bunnya obutakoma. (Abyssos g12)
Luke 10:15 (Lukka 10:15)
(parallel missing)
Ate ggwe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? Nedda, ogenda kuserengesebwa wansi emagombe. (Hadēs g86)
Luke 10:25 (Lukka 10:25)
(parallel missing)
Kale laba omunnyonnyozi w’amateeka n’asituka, ng’ayagala okugezesa Yesu, n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nsaana nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” (aiōnios g166)
Luke 12:5 (Lukka 12:5)
(parallel missing)
Naye nzija kubalaga gwe musaanidde okutya. Mutyenga oyo alina obuyinza okutta ate n’okusuula mu ggeyeena. Weewaawo mbagamba nti oyo gwe musaanye okutyanga. (Geenna g1067)
Luke 16:8 (Lukka 16:8)
(parallel missing)
“Mukama we n’atenda nnyo omuwanika we atali mwesigwa olw’obukalabakalaba bwe. Kubanga abaana b’omulembe guno bagezigezi okusinga abaana b’omusana ab’omu mulembe gwabwe.” (aiōn g165)
Luke 16:9 (Lukka 16:9)
(parallel missing)
“Era mbategeeza nti mwefunire emikwano mu bugagga obutali butuukirivu, bwe buliggwaawo balyoke babasembeze mu weema ezitaggwaawo. (aiōnios g166)
Luke 16:23 (Lukka 16:23)
(parallel missing)
Naye ng’ali eyo mu magombe mu kubonaabona, n’atunula waggulu n’alaba Laazaalo ng’ali mu kifuba kya Ibulayimu. (Hadēs g86)
Luke 18:18 (Lukka 18:18)
(parallel missing)
Awo omu ku bakulembeze b’Abayudaaya n’abuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?” (aiōnios g166)
Luke 18:30 (Lukka 18:30)
(parallel missing)
atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.” (aiōn g165, aiōnios g166)
Luke 20:34 (Lukka 20:34)
(parallel missing)
Yesu n’addamu nti, “Obufumbo buli kuno ku nsi, abantu kwe bawasiza era ne bafumbirwa. (aiōn g165)
Luke 20:35 (Lukka 20:35)
(parallel missing)
Naye abo abasaanyizibwa okuzuukira mu bafu bwe batuuka mu ggulu tebawasa wadde okufumbirwa, (aiōn g165)
John 3:15 (Yokaana 3:15)
(parallel missing)
buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
John 3:16 (Yokaana 3:16)
(parallel missing)
“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
John 3:36 (Yokaana 3:36)
(parallel missing)
Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.” (aiōnios g166)
John 4:14 (Yokaana 4:14)
(parallel missing)
Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.” (aiōn g165, aiōnios g166)
John 4:36 (Yokaana 4:36)
(parallel missing)
Akungula asasulwa empeera ye era n’akuŋŋaanyiza ebibala mu bulamu obutaggwaawo, olwo asiga n’akungula balyoke basanyukire wamu. (aiōnios g166)
John 5:24 (Yokaana 5:24)
(parallel missing)
“Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu. (aiōnios g166)
John 5:39 (Yokaana 5:39)
(parallel missing)
Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira. (aiōnios g166)
John 6:27 (Yokaana 6:27)
(parallel missing)
Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.” (aiōnios g166)
John 6:40 (Yokaana 6:40)
(parallel missing)
Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.” (aiōnios g166)
John 6:47 (Yokaana 6:47)
(parallel missing)
Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo! (aiōnios g166)
John 6:51 (Yokaana 6:51)
(parallel missing)
Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.” (aiōn g165)
John 6:54 (Yokaana 6:54)
(parallel missing)
Buli alya omubiri gwange n’anywa n’omusaayi gwange, ng’afunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. (aiōnios g166)
John 6:58 (Yokaana 6:58)
(parallel missing)
Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe.” (aiōn g165)
John 6:68 (Yokaana 6:68)
(parallel missing)
Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
John 8:35 (Yokaana 8:35)
(parallel missing)
Omuddu taba wa lubeerera mu maka, naye omwana ye, aba waamu ennaku zonna. (aiōn g165)
John 8:51 (Yokaana 8:51)
(parallel missing)
Ddala ddala mbagamba nti, Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.” (aiōn g165)
John 8:52 (Yokaana 8:52)
(parallel missing)
Awo Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Kaakano tutegeeredde ddala nti oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi baafa, ate ggwe ogamba nti, ‘Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.’ (aiōn g165)
John 9:32 (Yokaana 9:32)
(parallel missing)
Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso. (aiōn g165)
John 10:28 (Yokaana 10:28)
(parallel missing)
Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, (aiōn g165, aiōnios g166)
John 11:26 (Yokaana 11:26)
(parallel missing)
na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?” (aiōn g165)
John 12:25 (Yokaana 12:25)
(parallel missing)
Buli eyeemalira ku bulamu bwe alibufiirwa, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno, alibusigaza mu bulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
John 12:34 (Yokaana 12:34)
(parallel missing)
Awo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana w’Omuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gw’oyogerako?” (aiōn g165)
John 12:50 (Yokaana 12:50)
(parallel missing)
Era mmanyi nti by’alagira bwe bulamu obutaggwaawo. Noolwekyo ky’aŋŋamba kye mbategeeza.” (aiōnios g166)
John 13:8 (Yokaana 13:8)
(parallel missing)
Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.” (aiōn g165)
John 14:16 (Yokaana 14:16)
(parallel missing)
nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe, (aiōn g165)
John 17:2 (Yokaana 17:2)
(parallel missing)
nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
John 17:3 (Yokaana 17:3)
(parallel missing)
Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo. (aiōnios g166)
Acts 2:27 (Ebikolwa by’Abatume 2:27)
(parallel missing)
Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira so toliganya mutukuvu wo kuvunda. (Hadēs g86)
Acts 2:31 (Ebikolwa by’Abatume 2:31)
(parallel missing)
bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda. (Hadēs g86)
Acts 3:21 (Ebikolwa by’Abatume 3:21)
(parallel missing)
eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu. (aiōn g165)
Acts 13:46 (Ebikolwa by’Abatume 13:46)
(parallel missing)
Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga. (aiōnios g166)
Acts 13:48 (Ebikolwa by’Abatume 13:48)
(parallel missing)
Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
Acts 15:18 (Ebikolwa by’Abatume 15:18)
(parallel missing)
Bw’atyo bw’ayogera Mukama, alaga entegeka ye okuviira ddala ku ntandikwa y’ensi.’ (aiōn g165)
Romans 1:20 (Abaruumi 1:20)
(parallel missing)
Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo n’obwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu by’obutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza. (aïdios g126)
Romans 1:25 (Abaruumi 1:25)
(parallel missing)
Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
Romans 2:7 (Abaruumi 2:7)
(parallel missing)
Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi ery’okuweebwa ekitiibwa, ettendo n’obulamu obw’emirembe n’emirembe. (aiōnios g166)
Romans 5:21 (Abaruumi 5:21)
(parallel missing)
Ng’ekibi bwe kyafugira mu kufa, n’ekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe. (aiōnios g166)
Romans 6:22 (Abaruumi 6:22)
(parallel missing)
Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
Romans 6:23 (Abaruumi 6:23)
(parallel missing)
Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe. (aiōnios g166)
Romans 9:5 (Abaruumi 9:5)
(parallel missing)
Balina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina. (aiōn g165)
Romans 10:7 (Abaruumi 10:7)
(parallel missing)
newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)” (Abyssos g12)
Romans 11:32 (Abaruumi 11:32)
(parallel missing)
Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa. (eleēsē g1653)
Romans 11:36 (Abaruumi 11:36)
(parallel missing)
Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali. Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina. (aiōn g165)
Romans 12:2 (Abaruumi 12:2)
(parallel missing)
So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima. (aiōn g165)
Romans 16:25 (Abaruumi 16:25)
(parallel missing)
Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ng’enjiri yange n’okubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ng’ekyama ky’okubikkulirwa eby’ebiro eby’emirembe n’emirembe ebyasirikirwa, bwe kiri, (aiōnios g166)
Romans 16:26 (Abaruumi 16:26)
(parallel missing)
kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ng’ekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olw’okugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa, (aiōnios g166)
Romans 16:27 (Abaruumi 16:27)
(parallel missing)
Katonda omu yekka ow’amagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
1-Corinthians 1:20 (1 Abakkolinso 1:20)
(parallel missing)
Kale omugezi aluwa? N’omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag’ensi eno okuba obusirusiru? (aiōn g165)
1-Corinthians 2:6 (1 Abakkolinso 2:6)
(parallel missing)
Naye eri abo abakulu mu mwoyo, twogera eby’amagezi agatali ga mu mulembe guno, wadde ag’abafuzi ab’omu mulembe guno abaggwaawo. (aiōn g165)
1-Corinthians 2:7 (1 Abakkolinso 2:7)
(parallel missing)
Wabula twogera eby’amagezi ga Katonda, agatamanyiddwa era agakisibwa, Katonda bye yateekateeka edda n’edda olw’ekitiibwa kyaffe; (aiōn g165)
1-Corinthians 2:8 (1 Abakkolinso 2:8)
(parallel missing)
tewali n’omu ku bafuzi ab’omulembe guno abaagategeera, kubanga singa baamanya tebandikomeredde Mukama ow’ekitiibwa. (aiōn g165)
1-Corinthians 3:18 (1 Abakkolinso 3:18)
(parallel missing)
Omuntu yenna teyeerimbalimbanga; omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba omugezi mu mmwe mu mirembe gino afuukenga musirusiru alyoke abeere omugezi. (aiōn g165)
1-Corinthians 8:13 (1 Abakkolinso 8:13)
(parallel missing)
Kale obanga kye ndya kyesittaza muganda wange, siryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange. (aiōn g165)
1-Corinthians 10:11 (1 Abakkolinso 10:11)
(parallel missing)
Ebyo byonna byabatuukako ng’ekyokulabirako gye tuli, era byawandiikibwa olw’okutulabula ffe abaliwo abatuukiddwako enkomerero. (aiōn g165)
1-Corinthians 15:55 (1 Abakkolinso 15:55)
(parallel missing)
“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa? Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?” (Hadēs g86)
2-Corinthians 4:4 (2 Abakkolinso 4:4)
(parallel missing)
Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda. (aiōn g165)
2-Corinthians 4:17 (2 Abakkolinso 4:17)
(parallel missing)
Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe. (aiōnios g166)
2-Corinthians 4:18 (2 Abakkolinso 4:18)
(parallel missing)
Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe. (aiōnios g166)
2-Corinthians 5:1 (2 Abakkolinso 5:1)
(parallel missing)
Kubanga tumanyi ng’ennyumba yaffe ey’ensiisira ey’oku nsi bw’erisaanyizibwawo, tulina ennyumba okuva eri Katonda, ennyumba etaakolebwa na mikono, ey’olubeerera ey’omu ggulu. (aiōnios g166)
2-Corinthians 9:9 (2 Abakkolinso 9:9)
(parallel missing)
nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yasaasaanya, yagabira abaavu. Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.” (aiōn g165)
2-Corinthians 11:31 (2 Abakkolinso 11:31)
(parallel missing)
Katonda, era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, atenderezebwa emirembe n’emirembe, amanyi nga ssirimba. (aiōn g165)
Galatians 1:4 (Abaggalatiya 1:4)
(parallel missing)
Kristo oyo eyeewaayo ku lw’ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi ng’okwagala kwa Katonda, era Kitaffe bwe kuli, (aiōn g165)
Galatians 1:5 (Abaggalatiya 1:5)
(parallel missing)
aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
Galatians 6:8 (Abaggalatiya 6:8)
(parallel missing)
Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
Ephesians 1:21 (Abaefeso 1:21)
(parallel missing)
Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. (aiōn g165)
Ephesians 2:2 (Abaefeso 2:2)
(parallel missing)
Ebyo bye mwatambulirangamu ng’emirembe egy’ensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogw’omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna. (aiōn g165)
Ephesians 2:7 (Abaefeso 2:7)
(parallel missing)
Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu. (aiōn g165)
Ephesians 3:9 (Abaefeso 3:9)
(parallel missing)
Katonda eyatonda ebintu byonna yayagala nnyambe buli muntu okutegeera ebyekyama ebyali bikwekeddwa mu Katonda. (aiōn g165)
Ephesians 3:11 (Abaefeso 3:11)
(parallel missing)
Katonda yakola bw’atyo ng’enteekateeka ye ey’emirembe n’emirembe bw’eri, gye yatuukiriza mu ebyo byonna Kristo Yesu Mukama waffe bye yakola. (aiōn g165)
Ephesians 3:21 (Abaefeso 3:21)
(parallel missing)
agulumizibwenga mu Kkanisa ne mu Kristo Yesu, emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
Ephesians 6:12 (Abaefeso 6:12)
(parallel missing)
Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu. (aiōn g165)
Philippians 4:20 (Abafiripi 4:20)
(parallel missing)
Katonda Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
Colossians 1:26 (Abakkolosaayi 1:26)
(parallel missing)
Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be. (aiōn g165)
2-Thessalonians 1:9 (2 Basessaloniika 1:9)
(parallel missing)
Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe n’emirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, n’ekitiibwa ky’amaanyi ge. (aiōnios g166)
2-Thessalonians 2:16 (2 Basessaloniika 2:16)
(parallel missing)
Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe eyatwagala n’atuwa essanyu n’essuubi eddungi olw’ekisa kye, (aiōnios g166)
1-Timothy 1:16 (1 Timoseewo 1:16)
(parallel missing)
Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
1-Timothy 1:17 (1 Timoseewo 1:17)
(parallel missing)
Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
1-Timothy 6:12 (1 Timoseewo 6:12)
(parallel missing)
Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, n’oyatula okwatula okulungi mu maaso g’abajulirwa abangi. (aiōnios g166)
1-Timothy 6:16 (1 Timoseewo 6:16)
(parallel missing)
ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali n’omu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, n’obuyinza obutaggwaawo, Amiina. (aiōnios g166)
1-Timothy 6:17 (1 Timoseewo 6:17)
(parallel missing)
Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olw’okwesanyusanga, (aiōn g165)
2-Timothy 1:9 (2 Timoseewo 1:9)
(parallel missing)
eyatulokola n’atuyita tubeere babe. Ekyo yakikola nga tasinziira ku bikolwa byaffe, wabula ng’asinziira mu kuyitibwa okutukuvu, si ng’ebikolwa byaffe bwe biri, naye olw’ekigendererwa kye ye, n’ekisa kye, kye yatukwatirwa ng’ayita mu Kristo Yesu okuva edda n’edda Lyonna. (aiōnios g166)
2-Timothy 2:10 (2 Timoseewo 2:10)
(parallel missing)
Kyenva ngumira ebintu byonna olw’abalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, n’ekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu. (aiōnios g166)
2-Timothy 4:10 (2 Timoseewo 4:10)
(parallel missing)
Kubanga Dema yandekawo ng’ayagala omulembe gwa kaakano, n’agenda e Sessaloniika. Kulesuke yagenda Ggalatiya ne Tito n’agenda e Dalumatiya. (aiōn g165)
2-Timothy 4:18 (2 Timoseewo 4:18)
(parallel missing)
Era Mukama anamponyanga mu buli kabi, era alintuusa mirembe mu bwakabaka bwe. Mukama agulumizibwenga emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
Titus 1:2 (Tito 1:2)
(parallel missing)
ebyesigamye ku kusuubira okw’obulamu obutaggwaawo, Katonda ow’amazima kwe yasuubiza ng’ebiro eby’emirembe n’emirembe tebinnabaawo, (aiōnios g166)
Titus 2:12 (Tito 2:12)
(parallel missing)
era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano; (aiōn g165)
Titus 3:7 (Tito 3:7)
(parallel missing)
Bwe tulimala okutukuzibwa olw’ekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
Philemon 1:15 (Firemooni 1:15)
(parallel missing)
Kiyinzika okuba nga Onesimo yakwawukanako okumala akaseera, oluvannyuma alyoke abeere naawe ebbanga lyonna, (aiōnios g166)
Hebrews 1:2 (Abaebbulaniya 1:2)
(parallel missing)
naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu. (aiōn g165)
Hebrews 1:8 (Abaebbulaniya 1:8)
(parallel missing)
Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe; obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo. (aiōn g165)
Hebrews 5:6 (Abaebbulaniya 5:6)
(parallel missing)
Era n’awalala agamba nti, “Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.” (aiōn g165)
Hebrews 5:9 (Abaebbulaniya 5:9)
(parallel missing)
Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda. (aiōnios g166)
Hebrews 6:2 (Abaebbulaniya 6:2)
(parallel missing)
Tulekeraawo okuyigiriza obulombolombo obw’okubatizibwa, n’obw’okussibwako emikono, n’enjigiriza ey’okuzuukira kw’abafu, n’okusalirwa omusango ogw’olubeerera. (aiōnios g166)
Hebrews 6:5 (Abaebbulaniya 6:5)
(parallel missing)
ne bamanya obulungi bw’ekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi ag’emirembe egigenda okujja, (aiōn g165)
Hebrews 6:20 (Abaebbulaniya 6:20)
(parallel missing)
Yesu eyatusooka yo, eyo gye yayingira ku lwaffe, bwe yafuuka Kabona Asinga Obukulu ow’emirembe gyonna, ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli. (aiōn g165)
Hebrews 7:17 (Abaebbulaniya 7:17)
(parallel missing)
Kubanga Kristo ayogerwako nti, “Oli kabona okutuusa emirembe gyonna ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.” (aiōn g165)
Hebrews 7:21 (Abaebbulaniya 7:21)
(parallel missing)
naye ye yafuulibwa kabona mu kirayiro, ng’ayita mu oyo amwogerako nti, “Mukama yalayira era tagenda kwejjusa: ‘Oli kabona emirembe gyonna.’” (aiōn g165)
Hebrews 7:24 (Abaebbulaniya 7:24)
(parallel missing)
Naye olwokubanga Yesu abeerera emirembe gyonna, alina obwakabona obutakyukakyuka. (aiōn g165)
Hebrews 7:28 (Abaebbulaniya 7:28)
(parallel missing)
Amateeka gaalondanga abantu okuba Bakabona Abasinga Obukulu n’obunafu bwabwe, naye ekigambo eky’ekirayiro, ekyaddirira amateeka, kironda Omwana eyatuukirira okutuusa emirembe gyonna. (aiōn g165)
Hebrews 9:12 (Abaebbulaniya 9:12)
(parallel missing)
Teyayingira na musaayi gwa mbuzi wadde ogw’ente ennume, naye yayingira mu Watukuvu w’Awatukuvu omulundi gumu gwokka n’omusaayi gwe; bw’atyo ye yennyini n’atufunira obulokozi obutaggwaawo. (aiōnios g166)
Hebrews 9:14 (Abaebbulaniya 9:14)
(parallel missing)
omusaayi gwa Kristo ataliiko kamogo, eyeewaayo ye yennyini eri Katonda olw’Omwoyo ataggwaawo, tegulisinga nnyo okutukuza emyoyo gyaffe okuva mu bikolwa ebifu tulyoke tuweereze Katonda omulamu? (aiōnios g166)
Hebrews 9:15 (Abaebbulaniya 9:15)
(parallel missing)
Noolwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, okufa bwe kwabaawo olw’okununulibwa okuva mu byonoono eby’omu ndagaano eyasooka, abo abaayitibwa ab’obusika obutaggwaawo balyoke baweebwe ekisuubizo. (aiōnios g166)
Hebrews 9:26 (Abaebbulaniya 9:26)
(parallel missing)
kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw’ensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y’omulembe, ne yeewaayo yennyini ng’ekiweebwayo. (aiōn g165)
Hebrews 11:3 (Abaebbulaniya 11:3)
(parallel missing)
Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika. (aiōn g165)
Hebrews 13:8 (Abaebbulaniya 13:8)
(parallel missing)
Yesu Kristo nga bwe yali jjo, ne leero bw’ali era bw’aliba emirembe n’emirembe. (aiōn g165)
Hebrews 13:20 (Abaebbulaniya 13:20)
(parallel missing)
Kale, Katonda ow’emirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w’endiga omukulu ow’endagaano etaggwaawo gye yanyweza n’omusaayi gwe, (aiōnios g166)
Hebrews 13:21 (Abaebbulaniya 13:21)
(parallel missing)
abawe buli kirungi kyonna kye mwetaaga okubasobozesa okukola by’ayagala, era atukozese ebisiimibwa mu maaso ge ng’ayita mu Yesu Kristo. Aweebwenga ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
James 3:6 (Yakobo 3:6)
(parallel missing)
Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira. (Geenna g1067)
1-Peter 1:23 (1 Peetero 1:23)
(parallel missing)
Kubanga okusinziira mu kigambo kya Katonda ekiramu era eky’olubeerera, mwazaalibwa omulundi ogwokubiri. (aiōn g165)
1-Peter 1:25 (1 Peetero 1:25)
(parallel missing)
Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.” Era ekigambo ekyo y’Enjiri eyababuulirwa. (aiōn g165)
1-Peter 4:11 (1 Peetero 4:11)
(parallel missing)
Ayogera, ayogerenga ng’atumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga n’amaanyi gonna Katonda g’amuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
1-Peter 5:10 (1 Peetero 5:10)
(parallel missing)
Bwe mulibonaabonera akaseera, Katonda waffe atukwatirwa ekisa ng’ayita mu Kristo, alibawa ekitiibwa kye ekitaliggwaawo. Alibakomyawo, alibazzaamu amaanyi, alibawanirira era alibanyweza. (aiōnios g166)
1-Peter 5:11 (1 Peetero 5:11)
(parallel missing)
Ekitiibwa n’amaanyi bibeerenga gy’ali emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
2-Peter 1:11 (2 Peetero 1:11)
(parallel missing)
Era mulyanirizibwa n’essanyu lingi nnyo mu bwakabaka bwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. (aiōnios g166)
2-Peter 2:4 (2 Peetero 2:4)
(parallel missing)
Katonda teyasaasira bamalayika abaayonoona, wabula yabasuula mu lukonko oluwanvu olujjudde ekizikiza, gye bali, nga basibiddwa mu njegere nga balindirira olunaku olw’okusalirwako omusango. (Tartaroō g5020)
2-Peter 3:18 (2 Peetero 3:18)
(parallel missing)
Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina. (aiōn g165)
1-John 1:2 (1 Yokaana 1:2)
(parallel missing)
Obulamu bwalabisibwa, era tubulabye, tubuweerako obujulirwa, era tubategeeza obulamu obutaggwaawo obwali ne Kitaffe, era ne bulabisibwa gye tuli. (aiōnios g166)
1-John 2:17 (1 Yokaana 2:17)
(parallel missing)
Ensi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna. (aiōn g165)
1-John 2:25 (1 Yokaana 2:25)
(parallel missing)
Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza: obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
1-John 3:15 (1 Yokaana 3:15)
(parallel missing)
Buli akyawa muntu munne, oyo aba mussi, era mukimanyi nti tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo mu ye. (aiōnios g166)
1-John 5:11 (1 Yokaana 5:11)
(parallel missing)
Era buno bwe bujulirwa nti: “Katonda yatuwa obulamu obutaggwaawo, era obulamu buno buli mu Mwana we.” (aiōnios g166)
1-John 5:13 (1 Yokaana 5:13)
(parallel missing)
Ebyo mbiwandiikidde mmwe abakkiriza erinnya ly’Omwana wa Katonda, mulyoke mumanye nti mulina obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
1-John 5:20 (1 Yokaana 5:20)
(parallel missing)
Era tumanyi ng’Omwana wa Katonda yajja mu nsi, n’atuwa okutegeera tumanye Katonda ow’amazima, era tuli mu oyo Katonda ow’amazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda ow’amazima n’obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
2-John 1:2 (2 Yokaana 1:2)
(parallel missing)
Amazima ago gabeera mu ffe, era gajjanga kubeera mu ffe emirembe gyonna. (aiōn g165)
Jude 1:6 (Yuda 1:6)
(parallel missing)
ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira n’ebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere n’abassa mu kkomera ery’ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango. (aïdios g126)
Jude 1:7 (Yuda 1:7)
(parallel missing)
Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi n’obwenzi, nga n’abasajja bakolaganako eby’ensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa n’omuliro, era byabonerezebwa n’omuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli. (aiōnios g166)
Jude 1:13 (Yuda 1:13)
(parallel missing)
oba ng’amayengo ag’oku nnyanja agasiikuuse, ebikolwa byabwe ne bibaswaza; oba ng’emmunyeenye eziva mu kkubo lyazo, eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo eky’olubeerera. (aiōn g165)
Jude 1:21 (Yuda 1:21)
(parallel missing)
nga mwekuumira mu kwagala kwa Katonda, nga mwesunga okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
Jude 1:25 (Yuda 1:25)
(parallel missing)
Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olw’amaanyi ge n’obuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina. (aiōn g165)
Revelation 1:6 (Okubikkulirwa 1:6)
(parallel missing)
n’atufuula obwakabaka bw’obwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
Revelation 1:18 (Okubikkulirwa 1:18)
(parallel missing)
era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo eby’okufa n’amagombe. (aiōn g165, Hadēs g86)
Revelation 4:9 (Okubikkulirwa 4:9)
(parallel missing)
Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo n’okwebaza, Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, (aiōn g165)
Revelation 4:10 (Okubikkulirwa 4:10)
(parallel missing)
abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, omulamu emirembe n’emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g’entebe eyo, nga bwe bagamba nti, (aiōn g165)
Revelation 5:13 (Okubikkulirwa 5:13)
(parallel missing)
Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, n’ettendo, n’ekitiibwa, n’amaanyi by’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka awamu n’Omwana gw’Endiga, (aiōn g165)
Revelation 6:8 (Okubikkulirwa 6:8)
(parallel missing)
Ne ndaba, era laba, embalaasi ey’erangi ensiiwuukirivu n’eyali agyebagadde ng’ayitibwa Walumbe, ne Magombe n’agenda naye. Ne baweebwa okufuga ekitundu ekyokuna eky’ensi, okutta n’ekitala, n’enjala, n’olumbe, n’ensolo enkambwe ez’oku nsi. (Hadēs g86)
Revelation 7:12 (Okubikkulirwa 7:12)
(parallel missing)
Ne bayimba nti, “Amiina! Okutenderezebwa, n’ekitiibwa, n’amagezi, n’okwebazibwa, n’ettendo, n’obuyinza, n’amaanyi, bibe eri Katonda waffe emirembe n’emirembe. Amiina!” (aiōn g165)
Revelation 9:1 (Okubikkulirwa 9:1)
(parallel missing)
Awo malayika owookutaano n’afuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ng’eva mu ggulu ng’egwa ku nsi era n’eweebwa ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma. (Abyssos g12)
Revelation 9:2 (Okubikkulirwa 9:2)
(parallel missing)
Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ng’oguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olw’omukka ogw’omu bunnya. (Abyssos g12)
Revelation 9:11 (Okubikkulirwa 9:11)
(parallel missing)
Kabaka waazo ye malayika ow’obunnya obutakoma, erinnya lye mu Lwebbulaniya ye Abadoni ate mu Luyonaani ye Apolwoni. (Abyssos g12)
Revelation 10:6 (Okubikkulirwa 10:6)
(parallel missing)
n’alayira Oyo omulamu abeerera emirembe gyonna, eyatonda eggulu n’ebintu byonna ebirimu, n’atonda n’ensi n’ebintu byonna ebigirimu, n’atonda n’ennyanja ne byonna ebigirimu, ng’agamba nti, “Tewaliba kulwa nate. (aiōn g165)
Revelation 11:7 (Okubikkulirwa 11:7)
(parallel missing)
Bwe balimala okuwa obujulirwa bwabwe, ensolo enkambwe eva mu bunnya obutakoma erirangirira olutalo ebalwanyise, era ebatte n’okubawangula ebawangule. (Abyssos g12)
Revelation 11:15 (Okubikkulirwa 11:15)
(parallel missing)
Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti, “Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuuse bwa Mukama waffe ne Kristo we, era anaafuganga emirembe n’emirembe.” (aiōn g165)
Revelation 14:6 (Okubikkulirwa 14:6)
(parallel missing)
Awo ne ndaba malayika omulala ng’abuukira mu bbanga ng’alina Enjiri ey’emirembe n’emirembe ey’okubuulira abo abali mu nsi, na buli ggwanga, na buli kika, na buli lulimi n’abantu. (aiōnios g166)
Revelation 14:11 (Okubikkulirwa 14:11)
(parallel missing)
Omukka gw’okubonaabona kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana n’ekiro abo abaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza n’okuteekebwako akabonero ak’erinnya lyakyo. (aiōn g165)
Revelation 15:7 (Okubikkulirwa 15:7)
(parallel missing)
Ekimu ku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bijjudde ekiruyi kya Katonda omulamu era abeera omulamu emirembe n’emirembe. (aiōn g165)
Revelation 17:8 (Okubikkulirwa 17:8)
(parallel missing)
Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo. (Abyssos g12)
Revelation 19:3 (Okubikkulirwa 19:3)
(parallel missing)
Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Aleruuya! Omukka ogw’okwokebwa kwe n’omuliro, gunyooka emirembe n’emirembe!” (aiōn g165)
Revelation 19:20 (Okubikkulirwa 19:20)
(parallel missing)
Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba eyakolanga ebyamagero ng’ekisolo kiraba; bye yakola ng’alimbalimba abo abakkiriza akabonero k’ekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi ow’obulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa. (Limnē Pyr g3041 g4442)
Revelation 20:1 (Okubikkulirwa 20:1)
(parallel missing)
Awo ne ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu ng’alina ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma era ng’alina olujegere oluzito mu mukono gwe. (Abyssos g12)
Revelation 20:3 (Okubikkulirwa 20:3)
(parallel missing)
n’agusuula mu bunnya obutakoma era n’agusibiramu n’ateekako n’envumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ng’asumululwa okumala akaseera katono. (Abyssos g12)
Revelation 20:10 (Okubikkulirwa 20:10)
(parallel missing)
Awo Setaani eyabalimbalimba n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi ow’obulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana n’ekiro emirembe n’emirembe. (aiōn g165, Limnē Pyr g3041 g4442)
Revelation 20:13 (Okubikkulirwa 20:13)
(parallel missing)
Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, n’okufa n’Amagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu n’asalirwa omusango, ng’ebikolwa bye bwe byali. (Hadēs g86)
Revelation 20:14 (Okubikkulirwa 20:14)
(parallel missing)
Okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. (Hadēs g86, Limnē Pyr g3041 g4442)
Revelation 20:15 (Okubikkulirwa 20:15)
(parallel missing)
Era buli eyasangibwa ng’erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro. (Limnē Pyr g3041 g4442)
Revelation 21:8 (Okubikkulirwa 21:8)
(parallel missing)
Naye abo ababi n’abatakkiriza n’abagwagwa, n’abassi, n’abenzi, n’abalogo n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja ey’omuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.” (Limnē Pyr g3041 g4442)
Revelation 22:5 (Okubikkulirwa 22:5)
(parallel missing)
Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe. (aiōn g165)
Questioned verse translations do not contain Aionian Glossary words, but may wrongly imply eternal or Hell
And do the gates of death open to you for fear; and did the porters of hell quake when they saw you? (questioned)
There is a way which seems to be right with men, but the ends of it reach to the depths of hell. (questioned)
There are ways that seem to be right to a man, but the end of them looks to the depth of hell. (questioned)

EX2 > Aionian Verses: 64, Questioned: 3
LUB > Aionian Verses: 264