< Esther 7 >

1 So the king and Aman went in to drink with the queen.
Awo Kabaka ne Kamani ne bagenda ku mbaga ya Nnabagereka Eseza gye yateekateeka.
2 And the king said to Esther at the banquet on the second day, What is it, queen Esther? and what [is] your request, and what [is] your petition? and it shall be [done] for you, to the half of my kingdom.
Ku lunaku olwokubiri bwe baali banywa wayini Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Nnabagereka Eseza osaba ki? Onookiweebwa. Kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka, kinaakuweebwa.”
3 And she answered and said, If I have found favour in the sight of the king, let [my] life be granted to my petition, and my people to my request.
Awo Eseza n’addamu nti, “Obanga ŋŋanze mu maaso go, ayi Kabaka, era Oweekitiibwa bw’onoosiima, kino kye nsaba, mpeebwe obulamu bwange. Ate era n’abantu bange bawonye obulamu bwabwe. Kino kye nneegayirira.
4 For both I and my people are sold for destruction, and pillage, and slavery; [both] we and our children for bondmen and bondwomen: and I consented not to it, for the [is] not worthy of the king's palace.
Nze n’abantu bange tutuundiddwa eri okuzikirizibwa, okuttibwa n’okubula. Wakiri singa tutuundiddwa okuba abaddu n’abakazi abaweereza, nandisirise ne sikuteganya newaakubadde nga omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bwe yandifiiriddwa.”
5 And the king said, Who [is] this that has dared to do this thing?
Awo Kabaka Akaswero n’abuuza Nnabagereka Eseza nti, “Ani era ali ludda wa oyo ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw’atyo?”
6 And Esther said, the adversary [is] Aman, this wicked man. Then Aman was troubled before the king and the queen.
Awo Eseza n’addamu nti, “Omulabe waffe, atukyawa, ye Kamani ono omubi.” Kamani n’atya nnyo mu maaso ga Kabaka ne Nnabagereka.
7 And the king rose up from the banquet to go into the garden: and Aman began to entreat the queen; for he saw that he was in an evil case.
Awo Kabaka n’agolokoka ng’aliko ekiruyi, n’aleka wayini we, n’alaga ebweru mu nnimiro ey’omu lubiri. Kamani bwe yalaba nga Kabaka amaliridde okumubonereza, n’asigala emabega okusaba obulamu bwe eri Nnabagereka Eseza.
8 And the king returned from the garden; and Aman had fallen upon the bed, intreating the queen. And the king said, Will you even force [my] wife in my house? And when Aman heard it, he changed countenance.
Kabaka n’akomawo okuva mu nnimiro ey’omu lubiri n’ayingira mu kifo eky’embaga, n’asanga Kamani ng’agudde ku ntebe ey’olugalamiriro Eseza kwe yali. Kabaka ne yeekanga nnyo era n’akangula eddoboozi ng’agamba nti, “N’okukwata ayagala kukwatira Nnabagereka mu maaso gange wano mu nnyumba?” Kabaka bwe yali nga yakamala okwogera ekigambo ekyo, ne babikka ku maaso ga Kamani.
9 And Bugathan, one of the chamberlains, said to the king, Behold, Aman has also prepared a gallows for Mardochaeus, who spoke concerning the king, and a gallows of fifty cubits high has been set up in the premises of Aman. And the king said, Let him be hanged thereon.
Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali baweereza Kabaka n’ayogera nti, “Waliwo akalabba kumpi ne nnyumba ya Kamani obuwanvu bwako mita amakumi abiri mu ssatu ke yazimba okuttirako Moluddekaayi eyayogera n’awonya obulamu bwa Kabaka.” Kabaka n’agamba nti, “Mumuwanike okwo.”
10 So Aman was hanged on the gallows that had been prepared for Mardochaeus: and then the king's wrath was appeased.
Awo ne bawanika Kamani ku kalabba ke yali azimbidde Moluddekaayi, olwo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.

< Esther 7 >