< Zechariah 14 >
1 Behold, a day of the LORD is coming when your plunder will be divided in your presence.
Olunaku lwa Mukama lujja, lwe muligabana bye mwanyaga.
2 For I will gather all the nations for battle against Jerusalem, and the city will be captured, the houses looted, and the women ravished. Half of the city will go into exile, but the rest of the people will not be removed from the city.
Ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yerusaalemi mu lutalo okukirwanyisa; ekibuga kiritwalibwa, enju zinyagibwe n’abakazi bakwatibwe. Kimu kyakubiri eky’ekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; naye abalala abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga.
3 Then the LORD will go out to fight against those nations, as He fights in the day of battle.
Awo Mukama alivaayo n’alwanyisa amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo.
4 On that day His feet will stand on the Mount of Olives, east of Jerusalem, and the Mount of Olives will be split in two from east to west, forming a great valley, with half the mountain moving to the north and half to the south.
Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde obuvanjuba bwa Yerusaalemi, era olusozi lwa Zeyituuni lulyabuluzibwamu ebitundu bibiri okuva Ebuvanjuba okudda Ebugwanjuba era lujjemu oguwonvu oguwanvu ennyo. Ekitundu ekimu eky’olusozi kidde mu Bukiikakkono ekirala mu Bukiikaddyo.
5 You will flee by My mountain valley, for it will extend to Azal. You will flee as you fled from the earthquake in the days of Uzziah king of Judah. Then the LORD my God will come, and all the holy ones with Him.
Nammwe muliddukira mu kkubo ery’omu kiwonvu eky’olusozi lwange kubanga ekiwonvu kirisitulirwa waggulu era muddukanga nga bwe mwadduka musisi eyayita mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda. Awo Mukama Katonda wange alijja n’abatukuvu be bonna.
6 On that day there will be no light, no cold or frost.
Ku lunaku olwo teriba kitangaala, newaakubadde obunnyogovu wadde obutiti.
7 It will be a day known only to the LORD, without day or night; but when evening comes, there will be light.
Naye luliba lunaku lwa njawulo, awataliba misana wadde kiro: olunaku olumanyiddwa Mukama. Obudde bwe buliwungeera walibaawo ekitangaala.
8 And on that day living water will flow out from Jerusalem, half of it toward the Eastern Sea and the other half toward the Western Sea, in summer and winter alike.
Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja ey’Ebuvanjuba n’amalala mu nnyanja ey’Ebugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo.
9 On that day the LORD will become King over all the earth—the LORD alone, and His name alone.
Mukama alibeera kabaka ow’ensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka n’erinnya lye liribeera erinnya lyokka.
10 All the land from Geba to Rimmon south of Jerusalem will be turned into a plain, but Jerusalem will be raised up and will remain in her place, from the Benjamin Gate to the site of the First Gate to the Corner Gate, and from the Tower of Hananel to the royal winepresses.
Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.
11 People will live there, and never again will there be an utter destruction. So Jerusalem will dwell securely.
Abantu balikibeeramu, tekigenda kuddayo kuzikirizibwa. Yerusaalemi kiriba kinywevu.
12 And this will be the plague with which the LORD strikes all the peoples who have warred against Jerusalem: Their flesh will rot while they stand on their feet, their eyes will rot in their sockets, and their tongues will rot in their mouths.
Ono ye kawumpuli Mukama gw’alikubisa amawanga gonna agaalwanyisa Yerusaalemi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyali balamu. Amaaso gabavundire mu biwanga, n’ennimi zibavundire mu kamwa.
13 On that day a great panic from the LORD will come upon them, so that each will seize the hand of another, and the hand of one will rise against the other.
Ku lunaku olwo Mukama alireetera abantu ekyekango eky’amaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana.
14 Judah will also fight at Jerusalem, and the wealth of all the surrounding nations will be collected—gold, silver, and apparel in great abundance.
Ne Yuda alirwanira mu Yerusaalemi era obugagga bw’ensi zonna eziriraanyeewo bukuŋŋaanyizibwe, zaabu n’effeeza n’ebyambalo bingi nnyo nga nabyo bikuŋŋaanyizibbwa.
15 And a similar plague will strike the horses and mules, camels and donkeys, and all the animals in those camps.
Era kawumpuli ng’oli aligwa ku mbalaasi, ne ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira, n’endogoyi, ne ku nsolo zonna eziriba mu bisulo ebyo.
16 Then all the survivors from the nations that came against Jerusalem will go up year after year to worship the King, the LORD of Hosts, and to celebrate the Feast of Tabernacles.
Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka ow’Eggye era n’okukwatanga embaga ey’ensiisira.
17 And should any of the families of the earth not go up to Jerusalem to worship the King, the LORD of Hosts, then the rain will not fall on them.
Omuntu yenna mu nsi bw’ataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka ow’Eggye, taafunenga nkuba.
18 And if the people of Egypt will not go up and enter in, then the rain will not fall on them; this will be the plague with which the LORD strikes the nations who do not go up to celebrate the Feast of Tabernacles.
Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. Mukama anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga ey’ensiisira.
19 This will be the punishment of Egypt and of all the nations that do not go up to celebrate the Feast of Tabernacles.
Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri n’amawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira.
20 On that day, HOLY TO THE LORD will be inscribed on the bells of the horses, and the cooking pots in the house of the LORD will be like the sprinkling bowls before the altar.
Ku lunaku olwo ekigambo kino, “kitukuvu eri Mukama Katonda,” kinaawandikibwa ku bide by’embalaasi era n’entamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ng’ebibya ebitukuvu mu maaso g’ekyoto.
21 Indeed, every pot in Jerusalem and Judah will be holy to the LORD of Hosts, and all who sacrifice will come and take some pots and cook in them. And on that day there will no longer be a Canaanite in the house of the LORD of Hosts.
Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama ow’Eggye; n’abo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama ow’Eggye.