< Numbers 27 >

1 Now the daughters of Zelophehad son of Hepher, the son of Gilead, the son of Machir, the son of Manasseh, belonged to the clans of Manasseh son of Joseph. These were the names of his daughters: Mahlah, Noah, Hoglah, Milcah, and Tirzah. They approached
Abawala ba Zerofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, baali ba mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. Amannya g’abawala abo nga ge gano: Maala, ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza.
2 the entrance to the Tent of Meeting, stood before Moses, Eleazar the priest, the leaders, and the whole congregation, and said,
Lwali lumu, ne bajja okumpi n’omulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’abakulembeze n’ag’ekibiina kyonna, ne bagamba nti,
3 “Our father died in the wilderness, but he was not among the followers of Korah who gathered together against the LORD. Instead, he died because of his own sin, and he had no sons.
“Kitaffe yafiira mu ddungu. Teyali omu ku bajeemu abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama; naye ye yafa bufi lwa bibi bye, naye teyalekawo baana babulenzi.
4 Why should the name of our father disappear from his clan because he had no sons? Give us property among our father’s brothers.”
Lwaki erinnya lya kitaffe mu kika linaabulamu olw’obutazaala mwana wabulenzi? Mutuwe omugabo mu baganda ba kitaffe.”
5 So Moses brought their case before the LORD,
Musa n’aleeta ensonga zaabwe awali Mukama Katonda.
6 and the LORD answered him,
Mukama n’agamba Musa nti,
7 “The daughters of Zelophehad speak correctly. You certainly must give them property as an inheritance among their father’s brothers, and transfer their father’s inheritance to them.
“Abawala ba Zerofekadi kye bagamba kituufu; bafunire omugabo ogw’obutaka awamu ne baganda ba kitaabwe, era n’omugabo gwa kitaabwe gubaweebwe.
8 Furthermore, you shall say to the Israelites, ‘If a man dies and leaves no son, you are to transfer his inheritance to his daughter.
“Era gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Omusajja bw’anaafanga nga taleseewo mwana wabulenzi, kale omugabo gwe ogw’obusika bwe gunaaweebwanga omwana we omuwala.
9 If he has no daughter, give his inheritance to his brothers.
Bw’ataabenga na mwana wabuwala, omugabo gwe onooguwanga baganda be.
10 If he has no brothers, give his inheritance to his father’s brothers.
Bw’anaabanga talina baganda be, omugabo gwe onooguwanga baganda ba kitaawe.
11 And if his father has no brothers, give his inheritance to the next of kin from his clan, that he may take possession of it. This is to be a statutory ordinance for the Israelites, as the LORD has commanded Moses.’”
Kitaawe bw’aba nga teyalina baganda be, omugabo gwe onooguwanga owooluganda asinga okuba ow’okumpi mu kika kye, oyo y’anaagutwalanga. Eryo linaabanga tteeka erinaakwatibwanga abaana ba Isirayiri, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.’”
12 Then the LORD said to Moses, “Go up this mountain of the Abarim range and see the land that I have given the Israelites.
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Yambuka waggulu ku lusozi luno Abalimu olengere ensi gye mpadde abaana ba Isirayiri.
13 After you have seen it, you too will be gathered to your people, as your brother Aaron was;
Bw’onoomala okugiraba, naawe ojja kugenda abantu bo bonna gye baalaga, nga bwe kyali ne ku muganda wo Alooni,
14 for when the congregation contended in the Wilderness of Zin, both of you rebelled against My command to show My holiness in their sight regarding the waters.” Those were the waters of Meribah in Kadesh, in the Wilderness of Zin.
kubanga mwembi mwajeemera ekigambo kyange, abantu bwe baajagalala mu ddungu lya Zini ne mutampeesa kitiibwa ng’omutukuvu mu maaso gaabwe.” Ago ge gaali amazzi ag’e Meriba mu Kadesi mu ddungu ly’e Zini.
15 So Moses appealed to the LORD,
Awo Musa n’agamba Mukama Katonda nti,
16 “May the LORD, the God of the spirits of all flesh, appoint a man over the congregation
“Mukama Katonda w’emyoyo gy’abantu bonna, alonde omusajja okulabirira ekibiina kino,
17 who will go out and come in before them, and who will lead them out and bring them in, so that the congregation of the LORD will not be like sheep without a shepherd.”
afulumenga era ayingirenga mu maaso gaabwe, omuntu anaabafulumyanga era anaabayingizanga, abantu ba Mukama baleme okuba ng’endiga ezitaliiko musumba.”
18 And the LORD replied to Moses, “Take Joshua son of Nun, a man with the Spirit in him, and lay your hands on him.
Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alimu omwoyo, omusseeko omukono gwo.
19 Have him stand before Eleazar the priest and the whole congregation, and commission him in their sight.
Muyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, omukuutirire mu maaso gaabwe.
20 Confer on him some of your authority, so that the whole congregation of Israel will obey him.
Mukwase ekitundu ky’obuyinza bwo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri batandike okumugondera.
21 He shall stand before Eleazar the priest, who will seek counsel for him before the LORD by the judgment of the Urim. At his command, he and all the Israelites with him—the entire congregation—will go out and come in.”
Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga Mukama Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.”
22 Moses did as the LORD had commanded him. He took Joshua, had him stand before Eleazar the priest and the whole congregation,
Awo Musa n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna.
23 and laid his hands on him and commissioned him, as the LORD had instructed through Moses.
Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

< Numbers 27 >