< Numbers 12 >

1 Then Miriam and Aaron criticized Moses because of the Cushite woman he had married, for he had taken a Cushite wife.
Awo Miryamu ne Alooni ne boogera nga bawakanya Musa olw’omukazi Omukuusi gwe yali awasizza, kubanga yali awasizza Mukuusi.
2 “Does the LORD speak only through Moses?” they said. “Does He not also speak through us?” And the LORD heard this.
Ne bagamba nti, “Naye ddala Mukama bwe yayogeranga yayitanga mu Musa yekka? Mu ffe namwo teyayogereramu?” Mukama Katonda n’abiwulira.
3 Now Moses was a very humble man, more so than any man on the face of the earth.
Naye nno, Musa yali musajja muwombeefu nnyo, nga muteefu okusinga abantu bonna abaali ku nsi.
4 And suddenly the LORD said to Moses, Aaron, and Miriam, “You three, come out to the Tent of Meeting.” So the three went out,
Amangwago Mukama n’ayogera ne Musa, ne Alooni ne Miryamu n’abagamba nti, “Mujje, mwensatule, mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu.” Bonsatule ne bagenda.
5 and the LORD came down in a pillar of cloud, stood at the entrance to the Tent, and summoned Aaron and Miriam. When both of them had stepped forward,
Mukama Katonda n’akkira mu mpagi ey’ekire, n’ayimirira ku mulyango gwa Weema n’ayita Alooni ne Miryamu. Bombi bwe baasembera
6 He said, “Hear now My words: If there is a prophet among you, I, the LORD, will reveal Myself to him in a vision; I will speak to him in a dream.
n’abagamba nti, “Muwulirize ebigambo byange: “Mu mmwe bwe mubaamu nnabbi wa Mukama Katonda, nneeraga gy’ali mu kulabikirwa, oba njogera naye mu birooto.
7 But this is not so with My servant Moses; he is faithful in all My house.
Naye ekyo si bwe kiri ku muddu wange Musa; mu nju yange yonna, muntu mwesigwa.
8 I speak with him face to face, clearly and not in riddles; he sees the form of the LORD. Why then were you unafraid to speak against My servant Moses?”
Bwe mba njogera naye tutunulagana maaso na maaso, njogera butereevu so si mu ngero; alaba ekifaananyi kya Mukama Katonda. Kale, lwaki temwatidde okuwakanya omuddu wange Musa?”
9 So the anger of the LORD burned against them, and He departed.
Obusungu bwa Mukama Katonda ne bubabuubuukira, n’abaviira.
10 As the cloud lifted from above the Tent, suddenly Miriam became leprous, white as snow. Aaron turned toward her, saw that she was leprous,
Ekire bwe kyasituka okuva ku Weema, era laba, Miryamu n’agengewala, n’atukula ng’omuzira. Alooni n’amukyukira n’alaba ng’agengewadde;
11 and said to Moses, “My lord, please do not hold against us this sin we have so foolishly committed.
n’agamba Musa nti, “Nkwegayirira, mukama wange, oleme kututeekako kibi kino kye tukoze mu busirusiru bwaffe.
12 Please do not let her be like a stillborn infant whose flesh is half consumed when he comes out of his mother’s womb.”
Tomuleka omubiri gwe okufaanana ng’ogw’omwana omuwere azaalibwa ng’ali ng’afudde, ng’omubiri gwe guweddemu ensa.”
13 So Moses cried out to the LORD, “O God, please heal her!”
Musa n’akaabirira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Katonda, nkwegayirira omuwonye.”
14 But the LORD answered Moses, “If her father had but spit in her face, would she not have been in disgrace for seven days? Let her be confined outside the camp for seven days; after that she may be brought back in.”
Mukama Katonda n’addamu Musa nti, “Singa kitaawe amuwandidde amalusu mu maaso, teyandibadde muswavu okumala ennaku musanvu? Kale mumusibire ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; bwe zinaggwaako ayinza okukomezebwawo.”
15 So Miriam was confined outside the camp for seven days, and the people did not move on until she was brought in again.
Bw’atyo Miryamu n’asibirwa ebweru w’olusiisira okumala ennaku musanvu; abantu ne batasitula kutambula okutuusa Miryamu lwe yakomezebwawo.
16 After that, the people set out from Hazeroth and camped in the Wilderness of Paran.
Ebyo bwe byaggwa abantu ne basitula okuva e Kazerosi ne batambula okutuusa lwe baasiisira mu ddungu lya Palani.

< Numbers 12 >