< Nehemiah 7 >
1 When the wall had been rebuilt and I had set the doors in place, the gatekeepers, singers, and Levites were appointed.
Bbugwe bwe yaggwa okuzimba nga n’enzigi ziwangiddwamu, abakuumi ba wankaaki, n’abayimbi, n’Abaleevi nga bamaze okulondebwa,
2 Then I put my brother Hanani in charge of Jerusalem, along with Hananiah the commander of the fortress, because he was a faithful man who feared God more than most.
ne ndyoka nonda muganda wange Kanani awamu ne Kananiya omuduumizi w’ekigo okuvunaanyizibwanga Yerusaalemi, kubanga Kananiya yali yeesigika, ate ng’atya Katonda okusinga abantu abalala bangi.
3 And I told them, “Do not open the gates of Jerusalem until the sun is hot. While the guards are on duty, keep the doors shut and securely fastened. And appoint the residents of Jerusalem as guards, some at their posts and some at their own homes.”
Ne mbagamba nti, “Emiryango gya Yerusaalemi tegiteekwa kuggulwawo okutuusa ng’omusana tegunnakaalama nnyo. Abakuumi nga bakyali ku miryango, muggaleewo muginywereze ddala. Mu batuuze ba Yerusaalemi, mulondemu abanaakuumanga, abamu ku bo bakuumenga mu mpalo n’abalala bakuumenga ebifo ebiriraanye ennyumba zaabwe.”
4 Now the city was large and spacious, but there were few people in it, and the houses had not yet been rebuilt.
Ekibuga kyali kinene era nga kigazi naye abantu abaakibeerangamu nga batono, nga n’ennyumba tezinnaddaabirizibwa.
5 Then my God put it into my heart to assemble the nobles, the officials, and the people to be enrolled by genealogy. I found the genealogical register of those who had first returned, and I found the following written in it:
Awo Katonda wange nannumiriza, okuyita abakungu n’abakulembeze, n’abantu abaabulijjo okujja okwewandiisa ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali. Ne ndaba ekitabo ekyalimu ennyiriri zaabo abaasooka okudda, ne nsangamu amannya gano:
6 These are the people of the province who came up from the captivity of the exiles carried away to Babylon by Nebuchadnezzar its king. They returned to Jerusalem and Judah, each to his own town,
Bano be bantu ab’omu ssaza abaava mu buwaŋŋanguse abaali banyagiddwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni; ne baddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
7 accompanied by Zerubbabel, Jeshua, Nehemiah, Azariah, Raamiah, Nahamani, Mordecai, Bilshan, Mispereth, Bigvai, Nehum, and Baanah. This is the count of the men of Israel:
Bajja ne Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya, ne Azaliya, ne Laamiya, ne Nakamani, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misuperesi, ne Biguvaayi, ne Nekumu ne Baana. Gano ge mannya g’Abasajja ba Isirayiri:
8 the descendants of Parosh, 2,172;
bazzukulu ba Palosi baali enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri,
9 the descendants of Shephatiah, 372;
bazzukulu ba Sefatiya baali bisatu mu nsavu mu babiri,
10 the descendants of Arah, 652;
bazzukulu ba Ala baali lukaaga mu ataano mu babiri,
11 the descendants of Pahath-moab (through the line of Jeshua and Joab), 2,818;
bazzukulu ba Pakasumowaabu abaali ab’olunnyiriri lwa Yesuwa ne Yowaabu baali enkumi bbiri mu lunaana mu kumi na munaana,
12 the descendants of Elam, 1,254;
bazzukulu ba Eramu baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana,
13 the descendants of Zattu, 845;
bazzukulu ba Zattu baali lunaana mu ana mu bataano,
14 the descendants of Zaccai, 760;
bazzukulu ba Zakkayi baali lusanvu mu nkaaga,
15 the descendants of Binnui, 648;
bazzukulu ba Binnuyi baali lukaaga mu ana mu munaana,
16 the descendants of Bebai, 628;
bazzukulu ba Bebayi baali lukaaga mu abiri mu munaana,
17 the descendants of Azgad, 2,322;
bazzukulu ba Azugaadi baali enkumi bbiri mu bisatu mu abiri mu babiri,
18 the descendants of Adonikam, 667;
bazzukulu ba Adonikamu baali lukaaga mu nkaaga mu musanvu,
19 the descendants of Bigvai, 2,067;
bazzukulu ba Biguvaayi baali enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu,
20 the descendants of Adin, 655;
bazzukulu ba Adini baali lukaaga mu ataano mu bataano,
21 the descendants of Ater (through Hezekiah), 98;
bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya baali kyenda mu munaana,
22 the descendants of Hashum, 328;
bazzukulu ba Kasumu baali bisatu mu abiri mu munaana,
23 the descendants of Bezai, 324;
bazzukulu ba Bezayi baali bisatu mu abiri mu bana,
24 the descendants of Hariph, 112;
bazzukulu ba Kalifu baali kikumi mu kumi na babiri,
25 the descendants of Gibeon, 95;
bazzukulu ba Gibyoni baali kyenda mu bataano.
26 the men of Bethlehem and Netophah, 188;
Abaava e Besirekemu n’e Netofa baali kikumi mu kinaana mu munaana,
27 the men of Anathoth, 128;
ab’e Anasosi baali kikumi mu abiri mu munaana,
28 the men of Beth-azmaveth, 42;
ab’e Besuwazumavesi baali amakumi ana mu babiri,
29 the men of Kiriath-jearim, Chephirah, and Beeroth, 743;
ab’e Kiriyasuyalimu, n’e Kefira n’e Beerosi baali lusanvu mu ana mu basatu,
30 the men of Ramah and Geba, 621;
ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu,
31 the men of Michmash, 122;
ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri,
32 the men of Bethel and Ai, 123;
ab’e Beseri n’e Ayi baali kikumi mu abiri mu basatu,
33 the men of the other Nebo, 52;
ab’e Nebo ekyokubiri baali amakumi ataano mu babiri,
34 the descendants of the other Elam, 1,254;
ab’e Eramu ekyokubiri baali lukumi mu bibiri mu ataano mu bana,
35 the descendants of Harim, 320;
ab’e Kalimu baali bisatu mu abiri,
36 the men of Jericho, 345;
ab’e Yeriko baali bisatu mu ana mu bataano,
37 the men of Lod, Hadid, and Ono, 721;
ab’e Loodi, n’e Kadidi ne Ono baali lusanvu mu abiri mu omu,
38 and the descendants of Senaah, 3,930.
n’ab’e Sena baali enkumi ssatu mu lwenda mu asatu.
39 The priests: the descendants of Jedaiah (through the house of Jeshua), 973;
Bano be bakabona: bazzukulu ba Yedaya ow’olunnyiriri lwa Yesuwa baali lwenda mu nsavu mu basatu,
40 the descendants of Immer, 1,052;
bazzukulu ba Immeri baali lukumi mu amakumi ataano mu babiri,
41 the descendants of Pashhur, 1,247;
bazzukulu ba Pasukuli baali lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu,
42 and the descendants of Harim, 1,017.
ne bazzukulu ba Kalimu baali lukumi mu kumi na musanvu.
43 The Levites: the descendants of Jeshua (through Kadmiel, through the line of Hodevah ), 74.
Ne bano be Baleevi: bazzukulu ba Yesuwa ow’olunnyiriri lwa Kadumyeri mu nda ya Kodeva baali nsavu mu bana.
44 The singers: the descendants of Asaph, 148.
Abayimbi: bazzukulu ba Asafu baali kikumi mu amakumi ana mu munaana.
45 The gatekeepers: the descendants of Shallum, the descendants of Ater, the descendants of Talmon, the descendants of Akkub, the descendants of Hatita, and the descendants of Shobai, 138 in all.
Abaakuumanga wankaaki baali: bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi nga bali kikumi mu amakumi asatu mu munaana.
46 The temple servants: the descendants of Ziha, the descendants of Hasupha, the descendants of Tabbaoth,
Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano: bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,
47 the descendants of Keros, the descendants of Sia, the descendants of Padon,
bazzukulu ba Keriso, bazzukulu ba Siya, bazzukulu ba Padoni,
48 the descendants of Lebanah, the descendants of Hagabah, the descendants of Shalmai,
bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Samulaayi,
49 the descendants of Hanan, the descendants of Giddel, the descendants of Gahar,
bazzukulu ba Kanani, bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali,
50 the descendants of Reaiah, the descendants of Rezin, the descendants of Nekoda,
bazzukulu ba Leyaya, bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda,
51 the descendants of Gazzam, the descendants of Uzza, the descendants of Paseah,
bazzukulu ba Gazzamu, bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya,
52 the descendants of Besai, the descendants of Meunim, the descendants of Nephushesim,
bazzukulu ba Besayi, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,
53 the descendants of Bakbuk, the descendants of Hakupha, the descendants of Harhur,
bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,
54 the descendants of Bazlith, the descendants of Mehida, the descendants of Harsha,
bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,
55 the descendants of Barkos, the descendants of Sisera, the descendants of Temah,
bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,
56 the descendants of Neziah, and the descendants of Hatipha.
bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.
57 The descendants of the servants of Solomon: the descendants of Sotai, the descendants of Sophereth, the descendants of Perida,
Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani be bano: bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Soferesi, bazzukulu ba Perida,
58 the descendants of Jaala, the descendants of Darkon, the descendants of Giddel,
bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,
59 the descendants of Shephatiah, the descendants of Hattil, the descendants of Pochereth-hazzebaim, and the descendants of Amon.
bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri, bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Amoni.
60 The temple servants and descendants of the servants of Solomon numbered 392 in all.
Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali bisatu mu kyenda mu babiri.
61 The following came up from Tel-melah, Tel-harsha, Cherub, Addon, and Immer, but could not prove that their families were descended from Israel:
Bano wammanga be baava mu bibuga eby’e Temmeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddoni, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga lulyo lwabwe newaakubadde ensibuko gye baava, nti Bayisirayiri:
62 the descendants of Delaiah, the descendants of Tobiah, and the descendants of Nekoda, 642 in all.
bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda baali lukaaga mu amakumi ana mu babiri.
63 And from among the priests: the descendants of Hobaiah, the descendants of Hakkoz, and the descendants of Barzillai (who had married a daughter of Barzillai the Gileadite and was called by their name).
Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya, bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi, eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, era n’atuumibwa erinnya eryo.
64 These men searched for their family records, but they could not find them and so were excluded from the priesthood as unclean.
Abo waggulu ne banoonya amannya gaabwe mu biwandiiko naye nga tegaliimu, kyebaava baziyizibwa okubeera bakabona nga bayitibwa abatali balongoofu.
65 The governor ordered them not to eat the most holy things until there was a priest to consult the Urim and Thummim.
Era owessaza n’abagaana okulya ku bintu ebitukuvu, okutuusa nga kabona alina Ulimu ne Sumimu azze.
66 The whole assembly numbered 42,360,
Ekibiina kyonna awamu kyali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga,
67 in addition to their 7,337 menservants and maidservants, as well as their 245 male and female singers.
obutassaako baweereza baabwe abasajja n’abaweereza baabwe abakazi abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu; ate nga baalina n’abayimbi abasajja n’abakazi bibiri mu ana mu bataano.
68 They had 736 horses, 245 mules,
Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga, ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano,
69 435 camels, and 6,720 donkeys.
n’eŋŋamira ebikumi bina mu asatu mu ttaano, n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri.
70 Some of the heads of the families contributed to the project. The governor gave to the treasury 1,000 darics of gold, 50 bowls, and 530 priestly garments.
Abamu ku bakulu b’obusolya baawaayo ensimbi okukola omulimu. Gavana n’awaayo, kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebbensani amakumi ataano, n’ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu mu ggwanika.
71 And some of the heads of the families gave to the treasury for the project 20,000 darics of gold and 2,200 minas of silver.
Abamu ku bakulu b’obusolya ne baawaayo kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’obutundu bubiri obwa ffeeza mu ggwanika, olw’omulimu ogwali gukolebwa.
72 The rest of the people gave a total of 20,000 darics of gold, 2,000 minas of silver, and 67 priestly garments.
Omuwendo gwonna awamu ogwawebwayo abantu abalala gwali kilo kikumi mu nsanvu eza zaabu, ne ttani emu n’akatundu kamu aka ffeeza, n’ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu.
73 So the priests, Levites, gatekeepers, singers, and temple servants, along with some of the people and the rest of the Israelites, settled in their own towns. And by the seventh month the Israelites had settled in their towns.
Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abamu ku bantu, abaaweerezanga mu yeekaalu, ne Isirayiri yenna, ne batereera mu bibuga byabwe. Awo mu mwezi ogw’omusanvu,