< Isaiah 18 >
1 Woe to the land of whirring wings, along the rivers of Cush,
Zikusanze, ggwe ensi ey’ebiwaawaatiro ebikwakwaya, eri emitala w’emigga gya Kuusi,
2 which sends couriers by sea, in papyrus vessels on the waters. Go, swift messengers, to a people tall and smooth-skinned, to a people widely feared, to a powerful nation of strange speech, whose land is divided by rivers.
etuma ababaka ne bagendera mu maato ag’ebitoogo ku nnyanja. Mugende mmwe ababaka abangu, eri abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, eri abantu abatiibwa abeewala n’ab’okumpi, eggwanga ery’amaanyi eryogera olulimi olutamanyiddwa, ensi eyawulwamu emigga.
3 All you people of the world and dwellers of the earth, when a banner is raised on the mountains, you will see it; when a ram’s horn sounds, you will hear it.
Mmwe mwenna abantu abali mu nsi, mmwe ababeera ku nsi, bendera lweriwanikibwa ku nsozi, muligiraba, era ekkondeere bwe lirifuuyibwa, muliriwulira.
4 For this is what the LORD has told me: “I will quietly look on from My dwelling place, like shimmering heat in the sunshine, like a cloud of dew in the heat of harvest.”
Kubanga bw’atyo Mukama bw’aŋŋambye nti, “Ndyesirikira ntunule nga nsinziira ewange, ng’olubugumu olutemagana mu musana, ng’ekire ky’omusulo mu lubugumu olw’omu biro eby’amakungula.”
5 For before the harvest, when the blossom is gone and the flower becomes a ripening grape, He will cut off the shoots with a pruning knife and remove and discard the branches.
Kubanga okukungula kuliba tekunatuuka, okumulisa nga kuwedde, n’ekimuli nga kifuuka zabbibu eyengedde, aliwawaagula obutabi n’ebiwabyo, n’amatabi agalanda aligasalira.
6 They will all be left to the mountain birds of prey, and to the beasts of the land. The birds will feed on them in summer, and all the wild animals in winter.
Gonna galirekerwa ennyonyi ez’oku nsozi ezirya ebiramu n’ensolo ez’ensi. Era ennyonyi ezirya ebiramu zirye okwo mu biseera by’ekyeya, n’ensolo zonna ez’omu nsiko zirye okwo mu biseera by’obunnyogovu.
7 At that time gifts will be brought to the LORD of Hosts— from a people tall and smooth-skinned, from a people widely feared, from a powerful nation of strange speech, whose land is divided by rivers— to Mount Zion, the place of the Name of the LORD of Hosts.
Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo, ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu, abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi, ensi ey’eryanyi, eyawulwamu emigga, ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.