< Hosea 13 >

1 When Ephraim spoke, there was trembling; he was exalted in Israel. But he incurred guilt through Baal, and he died.
Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga. Yagulumizibwanga mu Isirayiri. Naye bwe yayonoona olw’okusinza Baali, n’afa.
2 Now they sin more and more and make for themselves cast images, idols skillfully made from their silver, all of them the work of craftsmen. People say of them, “They offer human sacrifice and kiss the calves!”
Ne kaakano bongera okwonoona; ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe, ng’okutegeera kwabwe bwe kuli, nga byonna mulimu gw’abaweesi. Kigambibwa nti, “Bawaayo ssaddaaka ez’abantu, ne banywegera ebifaananyi eby’ennyana.”
3 Therefore they will be like the morning mist, like the early dew that vanishes, like chaff blown from a threshing floor, like smoke through an open window.
Kyebaliva babeera ng’olufu olw’oku makya, oba ng’omusulo oguvaawo amangu, ng’ebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro, oba ng’omukka ogufulumira mu ddirisa.
4 Yet I am the LORD your God ever since the land of Egypt; you know no God but Me, for there is no Savior besides Me.
“Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri; so tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wabula nze.
5 I knew you in the wilderness, in the land of drought.
Nakulabirira mu ddungu, mu nsi ey’ekyeya ekingi.
6 When they had pasture, they became satisfied; when they were satisfied, their hearts became proud, and as a result they forgot Me.
Bwe nabaliisa, bakkuta; bwe bakkuta ne beegulumiza, bwe batyo ne banneerabira.
7 So like a lion I will pounce on them; like a leopard I will lurk by the path.
Kyendiva mbalumba ng’empologoma, era ndibateegera ku kkubo ng’engo.
8 Like a bear robbed of her cubs I will attack them, and I will tear open their chests. There I will devour them like a lion, like a wild beast would tear them apart.
Ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo, ndibalumba ne mbataagulataagula. Era okufaananako ng’empologoma bw’ekola ndibaliira eyo, ensolo ey’omu nsiko eribataagulataagula.
9 You are destroyed, O Israel, because you are against Me— against your helper.
Ndibazikiriza mmwe Isirayiri, kubanga munnwanyisa.
10 Where is your king now to save you in all your cities, and the rulers to whom you said, “Give me a king and princes”?
Kabaka wammwe ali wa, abalokole? Abafuzi ab’omu bibuga byo byonna bali ludda wa, be wayogerako nti, ‘Tuwe kabaka n’abafuzi?’
11 So in My anger I gave you a king, and in My wrath I took him away.
Nabawa kabaka nga nsunguwadde, ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12 The iniquity of Ephraim is bound up; his sin is stored up.
Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa, era n’ekibi kye kimanyiddwa.
13 Labor pains come upon him, but he is an unwise son. When the time arrives, he fails to present himself at the opening of the womb.
Obubalagaze ng’obw’omukyala alumwa okuzaala bumujjira, naye omwana olw’obutaba n’amagezi, ekiseera bwe kituuka, tavaayo mu lubuto.
14 I will ransom them from the power of Sheol; I will redeem them from Death. Where, O Death, are your plagues? Where, O Sheol, is your sting? Compassion is hidden from My eyes. (Sheol h7585)
“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe, era ndibalokola mu kufa. Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa? Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? “Sirimusaasira, (Sheol h7585)
15 Although he flourishes among his brothers, an east wind will come— a wind from the LORD rising up from the desert. His fountain will fail, and his spring will run dry. The wind will plunder his treasury of every precious article.
ne bw’anaakulaakulana mu baganda be. Empewo ey’ebuvanjuba erijja okuva eri Mukama, ng’eva mu ddungu, n’ensulo ze ne zikalira, n’oluzzi lwe ne lukalira. Eggwanika lye lirinyagibwa, eby’omuwendo byonna ne bitwalibwa.
16 Samaria will bear her guilt because she has rebelled against her God. They will fall by the sword; their little ones will be dashed to pieces, and their pregnant women ripped open.
Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe kubanga bajeemedde Katonda waabwe. Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa, n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”

< Hosea 13 >