< Ezekiel 32 >

1 In the twelfth year, on the first day of the twelfth month, the word of the LORD came to me, saying,
Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku lunaku olw’olubereberye, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
2 “Son of man, take up a lament for Pharaoh king of Egypt and say to him: ‘You are like a lion among the nations; you are like a monster in the seas. You thrash about in your rivers, churning up the waters with your feet and muddying the streams.’
“Omwana w’omuntu, tandika okukungubagira Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, omutegeeze nti: “‘Oli ng’empologoma mu mawanga, ng’ogusota wakati mu nnyanja, ng’owaguza mu migga gyo, era ng’otabangula amazzi, n’osiikuula n’emigga.
3 This is what the Lord GOD says: ‘I will spread My net over you with a company of many peoples, and they will draw you up in My net.
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Ndikusuulako akatimba kange, ne nkusindikira ekibiina ky’abantu ekinene, era balikuvuba n’akatimba kange.
4 I will abandon you on the land and hurl you into the open field. I will cause all the birds of the air to settle upon you, and all the beasts of the earth to eat their fill of you.
Ndikusuula ku lukalu, ne nkuleka ku ttale, era ebinyonyi byonna eby’omu bbanga birikukkako, n’ensolo enkambwe zonna ez’omu nsi zirikulya ne zikkusibwa.
5 I will put your flesh on the mountains and fill the valleys with your remains.
Ndisaasaanya ennyama ey’omubiri gwo ku nsozi, era ndijjuza ebiwonvu amagumba go.
6 I will drench the land with the flow of your blood, all the way to the mountains— the ravines will be filled.
Nditotobaza ensi n’omusaayi gwo okutuukira ddala ku nsozi, era ndijjuza zonna ennyama ey’omubiri gwo.
7 When I extinguish you, I will cover the heavens and darken their stars. I will cover the sun with a cloud, and the moon will not give its light.
Bwe ndikusaanyaawo, ndibikka eggulu ne nfuula emmunyeenye zaakwo okubaako ekizikiza;
8 All the shining lights in the heavens I will darken over you, and I will bring darkness upon your land,’
Ndibikka omusana n’ekire, era n’omwezi tegulireeta kitangaala kyagwo. Ebitangaala byonna eby’omu ggulu, ndibifuula enzikiza; era n’ensi yo yonna ndigireetako enzikiza, bw’ayogera Mukama Katonda.
9 ‘I will trouble the hearts of many peoples, when I bring about your destruction among the nations, in countries you do not know.
Ndyeraliikiriza emitima gy’amawanga amangi, bwe ndikuzikiriza mu mawanga, ne mu nsi z’otomanyangako.
10 I will cause many peoples to be appalled over you, and their kings will shudder in horror because of you when I brandish My sword before them. On the day of your downfall each of them will tremble every moment for his life.’
Amawanga mangi galijjula entiisa era bakabaka baabwe balisasamala, ng’obagalulira ekitala mu maaso gaabwe. Ku lunaku olw’okugwa kwo, buli omu ku bo alikankana, era buli muntu aligezaako okuwonya obulamu bwe.
11 For this is what the Lord GOD says: ‘The sword of the king of Babylon will come against you!
“‘Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Ekitala kya kabaka w’e Babulooni kirikutabaala.
12 I will make your hordes fall by the swords of the mighty, the most ruthless of all nations. They will ravage the pride of Egypt and all her multitudes will be destroyed.
Nditta enkuyanja y’abantu bo n’ekitala eky’abasajja abalwanyi abazira, abasingirayo ddala obukambwe mu mawanga gonna. Balimalawo amalala ga Misiri, n’enkuyanja y’abantu be bonna balizikirizibwa.
13 I will slaughter all her cattle beside the abundant waters. No human foot will muddy them again, and no cattle hooves will disturb them.
Ndizikiriza amagana ge gonna ag’ente okuva awali amazzi amangi, era tewaliba n’omu alirinnyayo okubatabangula newaakubadde ente okulinnyirirayo.
14 Then I will let her waters settle and will make her rivers flow like oil,’
N’oluvannyuma nditeesa amazzi ge, n’enzizi ze ne nzifuula ng’amafuta, bw’ayogera Mukama Katonda.
15 ‘When I make the land of Egypt a desolation and empty it of all that filled it, when I strike down all who live there, then they will know that I am the LORD.’
Bwe ndizisa ensi ey’e Misiri, ne ngiggyamu buli kantu akalimu, ne nzita bonna ababeeramu, balimanya nga nze Mukama.’
16 This is the lament they will chant for her; the daughters of the nations will chant it. Over Egypt and all her multitudes they will chant it, declares the Lord GOD.”
“Weewaawo kuno kwe kukungubaga kwe balikungubaga. Abawala bannaggwanga balikungubagira Misiri n’enkuyanja y’abantu be bonna,” bw’ayogera Mukama Katonda.
17 In the twelfth year, on the fifteenth day of the month, the word of the LORD came to me, saying,
Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri, ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwo, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
18 “Son of man, wail for the multitudes of Egypt, and consign her and the daughters of the mighty nations to the depths of the earth with those who descend to the Pit:
“Omwana w’omuntu, kaabirako ku nkuyanja y’abantu b’e Misiri, obasindike emagombe ye n’abawala bannaggwanga abaayatiikirira, n’abo abakka mu bunnya.
19 Whom do you surpass in beauty? Go down and be placed with the uncircumcised!
Babuuze nti, ‘Olowooza gw’osinga okwagalibwa? Ggenda oteekebwe n’abatali bakomole.’
20 They will fall among those slain by the sword. The sword is appointed! Let them drag her away along with all her multitudes.
Baligwa mu abo abattiddwa ekitala, era n’ekitala kisowoddwa, leka atwalibwe n’enkuyanja y’abantu be.
21 Mighty chiefs will speak from the midst of Sheol about Egypt and her allies: ‘They have come down and lie with the uncircumcised, with those slain by the sword.’ (Sheol h7585)
Okuva emagombe abakulembeze ab’amaanyi balyogera ku Misiri ne be yeekobaana nabo nti, ‘baserengese, era bagalamidde awali abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.’ (Sheol h7585)
22 Assyria is there with her whole company; her graves are all around her. All of them are slain, fallen by the sword.
“Asuli ali eyo n’eggye lye lyonna; yeetooloddwa amalaalo ag’abattibwa n’ekitala.
23 Her graves are set in the depths of the Pit, and her company is all around her grave. All of them are slain, fallen by the sword— those who once spread terror in the land of the living.
Amalaalo ge gali wansi mu bunnya, n’emirambo gy’eggye lye gyetoolodde amalaalo ge. Abo bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu battiddwa, bagudde n’ekitala.
24 Elam is there with all her multitudes around her grave. All of them are slain, fallen by the sword— those who went down uncircumcised to the earth below, who once spread their terror in the land of the living. They bear their disgrace with those who descend to the Pit.
“Eramu naye ali eyo, n’enkuyanja y’abantu be bonna beetoolodde amalaalo ge. Bonna baafa, battibwa n’ekitala. Bonna abaaleeta entiisa mu nsi ey’abalamu bakka emagombe nga si bakomole, be bagenda wansi mu bunnya nga balina n’ensonyi.
25 Among the slain they prepare a resting place for Elam with all her hordes, with her graves all around her. All of them are uncircumcised, slain by the sword, although their terror was once spread in the land of the living. They bear their disgrace with those who descend to the Pit. They are placed among the slain.
Bamwalidde ekitanda wakati mu battibwa n’enkuyanja y’abantu be bonna okwetooloola amalaalo ge. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu. Bajudde ensonyi wamu n’abo abakka emagombe, era bagalamidde wakati mu abo abattiddwa.
26 Meshech and Tubal are there with all their multitudes, with their graves all around them. All of them are uncircumcised, slain by the sword, because they spread their terror in the land of the living.
“Meseki ne Tubali nabo gye bali n’enkuyanja y’abantu baabwe era beetoolodde amalaalo gaabwe. Bonna tebaali bakomole, era battibwa n’ekitala kubanga baatiisatiisanga ensi ey’abalamu.
27 They do not lie down with the fallen warriors of old, who went down to Sheol with their weapons of war, whose swords were placed under their heads, whose shields rested on their bones, although the terror of the mighty was once in the land of the living. (Sheol h7585)
Tebaliziikibwa ng’abakungu, naye baliziikibwa ng’abasajja abalwanyi abazira abatali bakomole, abaaserengeta emagombe n’ebyokulwanyisa byabwe, abaatikkibwa ebitala byabwe ku mitwe gyabwe. Obutali butuukirivu bwabwe bwali ku magumba gaabwe kubanga baaleeta entiisa eri abasajja ab’amaanyi mu nsi ey’abalamu. (Sheol h7585)
28 But you too will be shattered and lie down among the uncircumcised, with those slain by the sword.
“Naawe ggwe Falaawo, olimenyebwa era olifiira wamu n’abatali bakomole, abattibwa n’ekitala.
29 Edom is there, and all her kings and princes, who despite their might are laid among those slain by the sword. They lie down with the uncircumcised, with those who descend to the Pit.
“Edomu naye ali eyo, bakabaka be n’abalangira be, newaakubadde nga baamaanyi, emirambo gyabwe gigalamidde n’egya bali abattibwa n’ekitala. Bagalamidde n’abatali bakomole mu bunnya.
30 All the leaders of the north and all the Sidonians are there; they went down in disgrace with the slain, despite the terror of their might. They lie uncircumcised with those slain by the sword and bear their shame with those who descend to the Pit.
“Abalangira bonna ab’omu bukiikakkono n’Abasidoni bonna nabo bali eyo; baaziikibwa mu nsonyi n’abattibwa newaakubadde nga baakola eby’entiisa nga be balina obuyinza. Bagalamidde nga si bakomole wamu n’abattibwa n’ekitala, nga balina ensonyi n’abo abakka emagombe.
31 Pharaoh will see them and be comforted over all his multitude— Pharaoh and all his army, slain by the sword,
“Era Falaawo, bw’alibalaba, alyekubagiza olw’eggye lye eryattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.
32 For I will spread My terror in the land of the living, so that Pharaoh and all his multitude will be laid to rest among the uncircumcised, with those slain by the sword,
Newaakubadde nga namukozesa okutiisatiisa ensi ey’abalamu Falaawo n’enkuyanja y’abantu be baligalamira mu batali bakomole, n’abattibwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.”

< Ezekiel 32 >