< Ezekiel 30 >

1 Again the word of the LORD came to me, saying,
Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
2 “Son of man, prophesy and declare that this is what the Lord GOD says: Wail, ‘Alas for that day!’
“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Mwekaabireko mwogere nti, “Zibasanze ku lunaku olwo”
3 For the day is near, the Day of the LORD is near. It will be a day of clouds, a time of doom for the nations.
kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama luli kumpi, olunaku olw’ebire eri bannaggwanga.
4 A sword will come against Egypt, and there will be anguish in Cush when the slain fall in Egypt, its wealth is taken away, and its foundations are torn down.
Ekitala kirirumba Misiri, n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya. Bwe balifiira mu Misiri, obugagga bwe bulitwalibwa n’emisingi gyayo girimenyebwa.’
5 Cush, Put, and Lud, and all the various peoples, as well as Libya and the men of the covenant land, will fall with Egypt by the sword.
Obuwesiyopya, ne Puuti, ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.
6 For this is what the LORD says: The allies of Egypt will fall, and her proud strength will collapse. From Migdol to Syene they will fall by the sword within her,
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “‘Abawagira Misiri baligwa, n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa. Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene baligwa n’ekitala, bw’ayogera Mukama Katonda.
7 They will be desolate among desolate lands, and their cities will lie among ruined cities.
Balirekebwawo wakati mu nsi endala ezalekebwawo, n’ebibuga byabwe biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.
8 Then they will know that I am the LORD when I set fire to Egypt and all her helpers are shattered.
Olwo balimanya nga nze Mukama bwe ndikuma ku Misiri omuliro, n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.
9 On that day messengers will go out from Me in ships to frighten Cush out of complacency. Anguish will come upon them on the day of Egypt’s doom. For it is indeed coming.
“‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.
10 This is what the Lord GOD says: I will put an end to the hordes of Egypt by the hand of Nebuchadnezzar king of Babylon.
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.
11 He and his people with him, the most ruthless of the nations, will be brought in to destroy the land. They will draw their swords against Egypt and fill the land with the slain.
Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga, balireetebwa okuzikiriza ensi. Baligyayo ebitala byabwe ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.
12 I will make the streams dry up and sell the land to the wicked. By the hands of foreigners I will bring desolation upon the land and everything in it.
Ndikaza emigga gya Kiyira, ne ntunda ensi eri abantu ababi; nga nkozesa bannaggwanga, ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu. Nze Mukama nkyogedde.
13 This is what the Lord GOD says: I will destroy the idols and put an end to the images in Memphis. There will no longer be a prince in Egypt, and I will instill fear in that land.
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Ndizikiriza bakatonda baabwe ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu. Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate, era ensi yonna ndigireetako entiisa.
14 I will lay waste Pathros, set fire to Zoan, and execute judgment on Thebes.
Ndifuula Pasulo okuba amatongo, ne Zowani ndikikumako omuliro ne mbonereza n’ab’omu No.
15 I will pour out My wrath on Pelusium, the stronghold of Egypt, and cut off the crowds of Thebes.
Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kya Misiri eky’amaanyi, era ndimalawo n’ebibinja bya No.
16 I will set fire to Egypt, Pelusium will writhe in anguish, Thebes will be split open, and Memphis will face daily distress.
Ndikuma omuliro ku Misiri, ne Sini baliba mu bubalagaze bungi, ne No balitwalibwa omuyaga, ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera.
17 The young men of On and Pi-beseth will fall by the sword, and those cities will go into captivity.
Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi baligwa n’ekitala, n’ebibuga biriwambibwa.
18 The day will be darkened in Tahpanhes when I break the yoke of Egypt and her proud strength comes to an end. A cloud will cover her, and her daughters will go into captivity.
Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana, bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri, era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu. Alibikkibwa n’ebire era n’ebyalo bye biriwambibwa.
19 So I will execute judgment on Egypt, and they will know that I am the LORD.”
Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri, bategeere nga nze Mukama.’”
20 In the eleventh year, on the seventh day of the first month, the word of the LORD came to me, saying,
Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
21 “Son of man, I have broken the arm of Pharaoh king of Egypt. See, it has not been bound up for healing, or splinted for strength to hold the sword.
“Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala.
22 Therefore this is what the Lord GOD says: Behold, I am against Pharaoh king of Egypt. I will break his arms, both the strong one and the one already broken, and will make the sword fall from his hand.
Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe.
23 I will disperse the Egyptians among the nations and scatter them throughout the lands.
Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi.
24 I will strengthen the arms of Babylon’s king and place My sword in his hand, but I will break the arms of Pharaoh, who will groan before him like a mortally wounded man.
Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa.
25 I will strengthen the arms of Babylon’s king, but Pharaoh’s arms will fall limp. Then they will know that I am the LORD, when I place My sword in the hand of Babylon’s king, and he wields it against the land of Egypt.
Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri.
26 I will disperse the Egyptians among the nations and scatter them throughout the lands. Then they will know that I am the LORD.”
Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”

< Ezekiel 30 >