< Psalms 76 >
1 For the Chief Musician; on stringed instruments. A Psalm of Asaph, a Song. In Judah is God known: His name is great in Israel.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu. Katonda amanyiddwa mu Yuda; erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
2 In Salem also is his tabernacle, And his dwelling-place in Zion.
Eweema ye eri mu Yerusaalemi; era abeera mu Sayuuni.
3 There he brake the arrows of the bow; The shield, and the sword, and the battle. (Selah)
Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza; n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.
4 Glorious art thou [and] excellent, From the mountains of prey.
Owa ekitangaala, oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
5 The stouthearted are made a spoil, They have slept their sleep; And none of the men of might have found their hands.
Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa, beebaka ne batasobola kugolokoka, ne watabaawo n’omu asobola okuyimusa omukono gwe.
6 At thy rebuke, O God of Jacob, Both chariot and horse are cast into a dead sleep.
Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo, abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.
7 Thou, even thou, art to be feared; And who may stand in thy sight when once thou art angry?
Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga. Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
8 Thou didst cause sentence to be heard from heaven; The earth feared, and was still,
Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu, ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
9 When God arose to judgment, To save all the meek of the earth. (Selah)
bw’ogolokoka okusala omusango, okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 Surely the wrath of man shall praise thee: The residue of wrath shalt thou gird upon thee.
Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa, n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 Vow, and pay unto Jehovah your God: Let all that are round about him bring presents unto him that ought to be feared.
Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga; bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo, kubanga asaanidde okutiibwa.
12 He will cut off the spirit of princes: He is terrible to the kings of the earth.
Mukama akkakkanya abalangira, ne bakabaka b’ensi bamutya.